TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettemu lizzeemu okusattiza ab'e Luweero: Abantu 10 battiddwa mu wiiki 2

Ettemu lizzeemu okusattiza ab'e Luweero: Abantu 10 battiddwa mu wiiki 2

Added 14th June 2014

POLIISI enoonyereza ku ttemu, obubbi bw’ente, okumenya amayumba, okukuba aba bodaboda obutayimbwa ne babanyagako pikipiki ssaako okukwata abakazi ebicaase mu disitulikiti okuli; Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.



 Bya SAMUEL KANYIKE

POLIISI enoonyereza ku ttemu, obubbi bw’ente, okumenya amayumba, okukuba aba bodaboda obutayimbwa ne babanyagako pikipiki ssaako okukwata abakazi ebicaase mu disitulikiti okuli; Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.

Abantu abasukka mu 10 batemuddwa omwezi guno mu kitundu kino, ekireetedde poliisi n’abatuuze okubeera ku bunkenke naddala mu disitulikiti y’e Nakaseke.

  • Mu ttemu erizze likolebwa mulimu; omuvubuka eyalumbye muganzi we gye yanobera e Wobulenzi n’amusanjaga ebiso ng’amulanga kugaana kumuddira. Grace Bukenya, 30, yasse Hope Ninsiima gw’alinamu abaana babiri. Abadde akolera mu saluuni ya Firidaus e Wobulenzi nga muganzi we yamulumbye mu muzigo gye yanobera n’amusanjaga ebiso mu bulago kyokka poliisi yamuyizze n’emukwata era n’akkiriza nti yakikozesezza busungu.
  • Gye buvuddeko, nnannyini dduuka ly’essimu e Wobulenzi, John Bikwalira yatemulwa ne bamunyagako ensimbi n’emmotoka ye.
  • Mu ngeri y’emu, poliisi yalwanaganye n’aba bodaboda e Kalule mu ggombolola y’e Nyimbwa ng’egezaako okutaasa agambibwa okutta owa bodaboda, Moses Wasswa, ng’omulambo gwe gwasangiddwa ku kyalo Nkondo. Amasasi n’omukka ogubalagala byasaanikidde Kalule nga poliisi etaasa omubbi ku ba bodaboda, eyafudde ng’atwalibwa mu ddwaaliro ly’amagye e Bombo.
  • Mu Nakasongola ku kyalo Kyannaka mu ggombolola y’e Kakooge, abazigu abaasoose okutta omulaalo w’awaka baayingiridde nnamukadde Roda Kenkwanzi ne bamusiba emiguwa nga bwe bamusaba ensimbi ne basobya ku bawala be era omu eyategeerekeseeko erya Saamanya yafiiridde Mulago.

Juliet Namugenyi, eyasimattuse abazigu abaateekedde enju ye omuliro ne bookeramu abaana be bana ne bafa. Ku ddyo, Hope Ninsiima eyatemuddwa muganzi we e Wobulenzi.

Abantu 10 battiddwa mu wiiki 2

  • Ebbiina ly’abatuuze abaabadde babagalidde emiggo, amajambiya n’amafumu baakoze ekikwekweto ne bayoola abantu 14 abagambibwa okwetaba mu kikolwa kino kyokka poliisi yabatadde!
  • E Nakaseke, abantu abawerako battiddwa nga mulimu James Semugga ku kyalo Butiikwa e Kiwoko abatemu bwe baakubye oguyinja ku luggi lw’enju ye ne bamukuba akatayimbwa. Poliisi yakutte omutuuze bwe babadde bakaayanira ekibanja abayambe okubuuliriza.
  • Mungeri y’emu, omutemu yayokezza enju ku kyalo Kyaluweesimu ggombolola y’e Wakyato n’attiramu abaana bana ate nnyaabwe Harriet Namugera n’abalala basatu ne bafumitibwa ebiso nga kati bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Kiwoko. Poliisi yakutte eyali bba w’omukazi ono.
  • Owa bodaboda Sam Kakooza, 26, ku kyalo Kagango mu ggombolola y’e Kikamulo yatemuddwa ne bamubbako pikipiki ye nnamba UDR 797H.
  • Owa bodaboda omulala, Alex Kaniini, 20, abadde avugira e Ngoma yatemuddwa ku kyalo Nabisojo n’abbibwako pikipiki ye nnamba UEA 221H.
  • Omuvubuka ku kyalo Mabaale e Kiwoko yatemudde muganzi we ng’amuteebereza okwagala omusajja omulala sso nga waliwo ne nnamukadde eyakubiddwa akakumbi akaamusse e Kapeke. Obubbi bw’ente n’embuzi, okukwata abakazi, okumenya ennyumba n’ebivve ebirala bicaase era poliisi bw’etebaako ky’ekolawo, embeera yaakwongera kusajjuka.

Kigozi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah.

POLIISI KY’EGAMBA

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanah, ekitwala disitulikiti zino, Lameka Kigozi n’omuduumizi wa poliisi mu kitundu kye kimu, Musa Nabende, bagamba nti ettemu liri mu ggwanga wonna kyokka nti poliisi efubye okulirwanyisa naddala ng’abantu bakolaganye nayo.

Ettemu balisiba ku ddogo, nkaayana za ttaka ate nti ery’e Nakaseke livudde ku bantu abeeyiwa mu kitundu kino okukola mu ffaamu omuli okwokya amanda, okulunda ente, okugula ente, okusaawa n’emirimu emirala.

“Tukizudde nti abasinga okwenyigira mu bikolwa bino babeera banywi ba njaga n’abaaliko abamenyi b’amateeka ne baddukira eno ne babeera mu kukuba matatu n’omwenge. Ssente olubaggwaako nga beenyigira mu kumenya mateeka,” Kigozi bwe yagambye.

Poliisi egamba ng’eri wamu n’abakulembeze baagaanyi abantu abajja okukola mu ffaamu nga tebalina bbaluwa zibanjula ate n’abatuuze mu bitundu bya Nakaseke eby’enjawulo beekozeemu obubinja obulawuna ekiro okukuuma obutebenkevu ku byalo.

‘Aba LC bakolaga na n’aba zzi b’emisango ’

Abatuuze balumiriza nti bannannyini ffaamu ba maanyi mu ggwanga ng’abantu be bayiwa mu kitundu naddala e Nakaseke babeera bazibu nga tebagambwako era nti bwe bazza emisango ne badduka tolina gy’oyinza kubanoonyeza. Kuno bw’ogattako LC ezitakola, emberenge n’egaga nga kigambibwa ntu waliwo n’abeekobaana n’ababbi ssaako okutunda ettaka ly’abantu, kwe kusaba poliisi ebayambe.

Ettemu lizzeemu okusattiza ab’e Luweero: Abantu 10 battiddwa mu wiiki 2

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...