TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkkoti esazeewo ku musango gw'ababaka ba "kyewaggula"

Kkkoti esazeewo ku musango gw'ababaka ba "kyewaggula"

Added 10th July 2014

ABABAKA abeewagula ku kibiina kya NRM ne bagobwa bagyaganya kkooti bwe bakirizza okusigala mu bifo byabwe nga bateesa okutuusa ng’omusango gwe bawaaba gusaliddwa.




Bya Hannington Nkalubo
 

ABABAKA abeewagula ku kibiina kya NRM ne bagobwa bagyaganya kkooti bwe bakirizza okusigala mu bifo byabwe nga bateesa okutuusa ng’omusango gwe bawaaba gusaliddwa.

Abalamuzi ba kkooti ensukulumu bataano beebawadde ababaka okuli Mohammed Nsereko ,

Theodore Ssekikubo, Barnabus Tinkasiimire ne Wilfred Nuwagaba ekiragiro okusigala nga bateeseza ebitundu byabwe.

Omulamuzi Wilson Tsekoko abadde ne Justus Kisaakye beebasomye ensalawo ya kkooti ku lw’abalamuzi banne.

Abalamuzi bonna basizza kimu ne bategeeza nti sipiika wa palamenti tageza kugoba babaka bano mu palamenti.

Abalamuzi abali mu musango gw’ababaka bano bagwanguye okugusala ekisembayo kimanyibwe.
Akakiiko akakola ku by’okulonda tekageza ne kaddamu okutegeka kubanga bakyali babaka omusango tegunaba kusalibwa.

Abalamuzi balagidde buli ludda lwesasulire ssente zerukozesezza. Ensalawo ya kkooti esanyusizza ababaka ne bategeeza nti NRM egenderera kubanyigiriza era bagivuddemu.

 

Kkkoti esazeewo ku musango gw''ababaka ba "kyewaggula"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...