TOP

Kaliisoliiso ayingidde mu mivuyo gya Lubiri SS

Added 15th July 2014

KALIISOLIISO wa gavumenti ayingidde mu mivuyo egyetobese mu ntambuza y’emirimu ku ssomero lya Lubiri Senior Secondary School oluvannyuma lw’abamu ku bazadde n’abakwatibwako okwekubira enduulu nti omukulu w’essomero Haji Ali Mugagga alina by’abakaka okukola n’okusasulira ebitali mu mateeka.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne HASIFAH NAAVA


KALIISOLIISO wa gavumenti ayingidde mu mivuyo egyetobese mu ntambuza y’emirimu ku ssomero lya Lubiri Senior Secondary School oluvannyuma lw’abamu ku bazadde n’abakwatibwako okwekubira enduulu nti omukulu w’essomero Haji Ali Mugagga alina by’abakaka okukola n’okusasulira ebitali mu mateeka.

Haji Mugagga wabula yayanukudde ku bimwogerwako n’ategeeza nti ensonga abamu bazitutte wala era ku nkomerero y’omwezi oguwedde abakungu okuva mu ofiisi ya Kaliisiliiso wa gavumenti baasituse ne bagenda ku ssomero nga banoonyereza ku nsonga ez’enjawulo.

Haji Mugagga ayogerwako ng'adibaze essomero

Obugulumbo mu ssomero lino buvudde mabega okuva Haji Mugagga lwe yakyusibwa okuva mu Gombe SS okudda e Lubiri n’aleetawo enkyukakyuka okwali n’okuwa abayizi Abasiraamu enkizo ne babafunira ekifo we basaalira abamu kye bawakanya nga bagamba nti essomero lino ligatta eddiini zonna okuva emabega libadde terisukkulumya ddiini emu ku ndala.

Mu 2010 waaliwo okusika omuguwa mu bazadde n’abakulira essomero ng’abazadde bawakanya okusasula 40,000/- abakulira essomero ze baali bataddewo nti bazisasule basobole okufuna alubaamu omuli ebifaananyi by’abaasomera mu Lubiri SS.

Abazadde baaziwakanya nga bagamba nti ssente zaali nnyingi nnyo.

ENSONGA KALIISOLIISO Z’ANOONYEREZAAKO

1 Okuwaliriza abayizi n’abazadde okugula ensawo z’abayizi ku ssomero ku 35,000/-.

2 Essomero ly'abayizi abava ebweru kyokka okuva emabega nga waliwo ebisulo ebipangisibwa abava ewala ne basobola okuva awo nga basoma naye bagamba nti Haji Mugagga yabissaako amateeka amakakali naye nga gattira abamu ku liiso.

3 Bagamba nti yakyusa yunifoomu y’essomero nga tayise mu mitendera kubanga okuva edda ng’abawala okuva ku S1-S4 bambala kiteteeyi ate haaya ne bambala sikaati ne bbulawuzi n’enviiri ento.

Abalenzi S1 – S4 nga bambala mpale nnyimpi haaya mpale mpanvu naye kati abawala Abasiraamu babikka ku mitwe obukaaya.

4 Buli ssaawa 7:00 abayizi Abasiraamu babakkiriza okugenda mu muzikiti gwe baazimba munda mu ssomero ne basaala kyokka ab’enzikiriza endala ng’Abalokole baabagaana okugenda ku “Lunch hour” ne Scripture Union ne bagiwera.

5 Kigambibwa nti buli muyizi omupya ayingira mu ssomero bamusasuza 42,000/- ezitateekebwa ku fiizi, beebuuza zikola mulimu ki?

6 Bagamba nti yaggyewo Bbaasa n’abakozi abalina obukugu mu byensimbi n’aleeta abawala abakyasoma be bakola ku byensimbi abamu ku bakozi kye bawakanya.

AKULIRA ESSOMERO ANNYONNYODDE

Haji Mugagga yakakasizza nti abakulu okuva mu ofiisi ya Kaliisoliiso bazze ku ssomero ne bamubuuza ku nsonga ez’enjawulo naddala enkwata y’ebyensimbi.

“Twabalaze ebiwandiiko bye baabadde baagala byonna era ne bagenda,” Mugagga bwe yategeezezza Bukedde Online.

Agamba nti okuleeta abawala abakyasoma bakole ku byensimbi kituufu yava nabo e Gombe ne bamalira Haaya ku Lubiri SS nga kati bali ku Yunivasite e Makerere era okujja okukolera e Lubiri bali mu kugezesebwa (Internship).

Yannyonnyodde nti Bbaasa w’essomero waali bano bamuyambako kukung’anya ‘bank slip’ z’abayizi.

Yawakanyizza abakimussaako nti alina enkolagana ey’enjawulo n’abayizi abawala n’ategeeza nti buli muyizi obutayawula mu kikula abayisa bulungi.

“Abo baana bakuze, era basasulwa akasiimo ka mitwaalo 20 buli mwezi.

Sirina nkolagana yanjawulo nabo alina obukakafu abuleete,” Mugagga bwe yaggumizza.

Yategeezezza nti obuzibu buno buvudde mu basomesa abamu abeekobaana n’abayizi okugezaako okutondawo embeera ey’okukontana mu ssomero.


ENSONGA MINISITA MUYINGO AZIYINGIDDEMU

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu, JC Muyingo agambye nti ensonga zino zibadde tezinnaba kutuuka mu ofiisi ye n’ategeeza nti yabadde aziwulira mulundi gusooka.

“Essomero lirina olukiiko oluliddukanya naye tewali yali azze mu minisitule kwemulugunya.

Ngenda kuyita abakulira essomero mu bwangu ddala bannyinyinnyole ebigenda mu maaso. Bwe bibeera nga bituufu, ensonga tujja kuzigonjoola,” minisita Muyingo bwe yalung’amizza.

KALIISOLIISO WA  GAVUMENTI W’ATUUSE

Ali Munira omwogezi wa ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti yategeezezza nti okunoonyereza ku nsonga zino kukyagenda mu maaso era etteeka likugira okukubaganya ebirowoozo oba okunnyonnyola akawonvu n’akagga nga tebannaba kumaliriza kunoonyereza kukola lipoota.

 

Kaliisoliiso ayingidde mu mivuyo gya Lubiri SS

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...