TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi bakoze olukalala okuli abaserikale be baagala okutta

Ababbi bakoze olukalala okuli abaserikale be baagala okutta

Added 30th July 2014

OMUDUUMIZI wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi azudde olukalaala lwa boofiisa 15 aba poliisi, ababbi be baagala okutta olw’okubeekiikamu.Bya JOSEPH MUTEBI


OMUDUUMIZI wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi azudde olukalaala lwa boofiisa 15 aba poliisi, ababbi be baagala okutta olw’okubeekiikamu.

Kaweesi agamba nti babiri ku baserikale abali ku lukalala luno bamaze okuttibwa okuli; Haji Abdul Ssebaggala, eyakubwa amasasi e Lungujja ng’adda awaka mu May w’omwaka guno. Abaamutta baali ku bodaboda era olwamala okumukuba amasasi ne babulawo.

Owookubiri y’e Ssaalongo David Kyambadde abadde aduumira Flying Squad e Kawempe ng’ono yattiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bwe baabadde bagoba ababbi mu bitundu by’e Matugga.
Kaweesi yannyonnyodde nti okumanya ababbi balina olukalala lw’abaserikale be baagala okutta, y’engeri omubbi gye yakubyemu Kyambadde amasasi mu bwangu ng’amaze okumwetegereza.

ABALI KU LUKALALA
Okusinziira ku nsonda, boofiisa ba poliisi abali ku lukalala kuliko; Andrew Kaweesi yennyini (aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano), Faizal Katende (aduumira ebikwekweto bya Flying Squad mu Kampala), Herman Owomugisha (aduumira Flying Squad mu ggwanga lyonna), Mohammed Kirumira (eyali akulira poliisi y’e Nansana), Sam Omara (aduumira ebikwekweto mu Kampala), Grace Turyagumanawe (aduumira ebikwekweto mu ggwanga) n’abalala abagezezzaako ennyo okufufuggaza ababbi.

Kaweesi yalagidde abaserikale be bonna abeenyigira mu bikwekweto by’okuyigga ababbi okukuba ku nnyama omubbi yenna gwebanasanga ng’alina emmundu kuba kizuuse nti n’ababbi bajjirira kutta baserikale ababalemesa okubba.

Yakiraze nti ababbi abamu basinga ne poliisi obutendeke kuba abamu baludde mu bitongole ebikuumaddembe.

Yatangaazizza ku byogerwa nti okuttibwa kw’abaserikale ennaku zino kiva ku bukuubagano obuli mu bo bennyini n’agamba nti kino si kituufu, wabula ababbi be beekozeemu omulimu gw’okutta.

KIRUMIRA ADDAYO KUSOMA
Kaweesi yayogedde ku Mohammad Kirumira eyali aduumira poliisi y’e Nansana n’agamba nti basazeewo addeyo asome oluvannyuma azzibwe ku mirimu gye.

Yayongeddeko nti omuduumizi wa poliisi mu Uganda, Gen. Kale Kayihura yalagidde ab’ekitongole ky’amateeka n’ekikwasisa empisa mu poliisi baleete lipooti ekwata ku Kurumira ne ku Majwega (eyattiddwa mu bubbi) ekolebweko olwo Kirumira eddemu akole.

Kaweesi yagambye nti okusinziira ku Kirumira by’ayogera, akyalowooza nga kopolo ng’ate kati mukulu alina ejjinja ddamba n’olwekyo ekimubulamu kwongera kutendekebwa.

Ofiisa  omu  bamusse  ne  bamulesa  famire  ya   baana  8


Omugenzi Ssaalongo David Kyambadde yaziikiddwa eggulo ku biggya ba bajjajja be e Mubende ku kyalo Lubimbiri-Keesongedde mu kuziika okwetabyeko aduumira ekitongole kya poliisi ekikola ku babbisa emmundu, Herman Owomugisha.

Abaana Kyambadde (mu katono ku ddyo)b’alese nga batudde ne bannyaabwe mu kuziika.

Ab’oluganda baasabye Owomugisha annyonnyole engeri Kyambadde gye yattibwamu awo naye kwe kutegeeza abakungubazi nti yayogera ne Kyambadde ku Lwokuna n’amutegeeza nga bwe yali akutte ow’amagye ng’atunda emmundu e Bwaise mu Kimombasa kyokka enkeera ku Lwokutaano n’attibwa ng’alwanirira eggwanga lye! 

Omugenzi alese bannamwandu babiri ne bamulekwa munaana.
 

Ababbi bakoze olukalala okuli abaserikale be baagala okutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...