
BYA ALICE NAMUTEBI
KKOOTI etaputa ssemateeka esazizzaamu etteeka ly'ebisiyaga Palamenti lye yayisa mu December w'omwaka oguwedde.
Abalamuzi bataano (5) aba kkooti eno nga bakulembeddwaamu omulamuzi Steven Kavuma, Augustine Nshimye, Eldard Mwangusha, Rabby Were ne Solome Bbosa baagambye nti amateeka agafuga Palamenti galagira sipiika okusooka okubala omuwendo gw’ababaka nga etteeka lyonna terinnayisibwa, singa wabaawo aleeta okwemulugunya ku muwendo gwababaka obutawera.
Abalamuzi baagambye nti etteeka lino bwe lyali liyisibwa mu Palamenti Kattikiro wa Uganda, Amama Mbabazi yategeeza sipiika asooke yeetegereze ensonga y’omuwendo gw’ababaka abakkirizibwa okulonda oba bamala kyokka n’atakifaako n’agenda mu maaso n’okulagira ababaka bakube akalulu.
Kuno bagasseeko nti mu mateeka, Palamenti okuyisa etteeka lyonna ababaka bateekeddwa okuba ekitundu kimu kyakusatu wabula sipiika Kadaga bino byonna yabibuusa amaaso.
Wano abalamuzi we basinzidde okusalawo nti olw’okuba sipiika teyafa ku mateeka gafuga Palamenti wadde nga omuwendo gw’ababaka abaayisa etteeka nga December 20 2013 tegumanyiddwa, ekikolwa ky’obutabala muwendo gwabwe kyali kimenya mateeka bwe batyo etteeka eryayisibwa ne balisazaamu.
Abalamuzi era balagidde Gavumenti okusasula abantu 10 abaaleeta omusango guno mu kkooti nga bakulembeddwamu Polof. Oloka Onyango ssente ezitannaba kubalirirwa.
Etteeka erisaziddwaamu kkooti lyassibwako omukono Pulezidenti Museveni nga 24, February 2014.
......................................................................................................................................
Ebirala....
......................................................................................................................................
Etteeka liirino mu bujjuvu:
The Anti Homosexuality Bill 2009 in full
Kkooti ya ssemateeka esazizzaamu etteeka ly''ebisiyaga