TOP

Bbanka ebanja omugenzi Mabiriizi obuwumbi 28

Added 3rd August 2014

FAMIRE y’omugenzi Godfrey Mabiriizi, eyali nnannyini Mabiriizi Complex ku Kampala Road esazeewo okutunda ebimu ku byobugagga bye yaleka oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde bwa ddoola 11 lye yaleka.



Bya MEDDIE MUSISI

FAMIRE y’omugenzi Godfrey Mabiriizi, eyali nnannyini Mabiriizi Complex ku Kampala Road esazeewo okutunda ebimu ku byobugagga bye yaleka oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde bwa ddoola 11 lye yaleka.

Mabiriizi nga tannafa yali yeewoze ssente mu bbanka ez’enjawulo ezaamuyamba okumaliriza ebimu ku bizimbe n’okutandika pulojekiti y’okutunda omuceere.

Wabula ssente zino zaagenda zirinnya era zonna awamu zisukka obukadde bwa ddoola 11 (mu za Uganda obuwumbi 28).

Mu kwewola ssente zino, yasinga ebimu ku byapa by’ebyobugagga bwe ekyaleetedde Bannamwandu ababiri, abaana n’abooluganda abalala okutandika okusala entotto nga batya nti bbanka zandibibowa byonna ne batasigaza kantu.

Wakati mu butakkaanya obuli mu bakazi baggya n’abaana, abagagga batuuzizza enkiiko za famire eziwerako nga zikubirizibwa omusuubuzi Okware ng’ayambibwako omugagga Mukiibi Muzzanganda okusalira awamu amagezi ku ky’okuvvuunuka ebbanja lino, ebintu bireme kutundibwa.

Wabula kumpi enkiiko zonna zibadde zaabuka tebakkaanyizza ng’oludda lwa mukyala muto Madinah Mabiriizi luwaanyisiganya ebisongovu n’olwa mukyala mukulu Ruth Nakyejwe Mabiriizi.

Agamu ku maka g’omugenzi Mabiriizi agasangibwa e Naggulu.

BEERUMIRIZA OKUKOZESA SSENTE OBUBI
Ab’oludda lwa mukyalamuto balumiriza mukyalamukulu Ruth n’abaana be okwejalabya ekiremesezza okusasula ku bbanja lya bbanka.

Bagamba nti omusika Stuart Mabiriizi azaalibwa Ruth olwaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ebizimbe bya bizinensi, kye yatandikirako kwe kukyusa emmotoka, n’atuusa ey’ekika kya Vogue ey’akabi.

Nti kuno kwe baagatta eky’okugulira mukyala mukulu emmotoka ey’obukadde 80 n’ava mu Harrier gye yali avuga nga bba akyaliwo.

Kyokka mu nkiiko zino ab’oludda lwa mukyala mukulu nabo babadde bakidding’ana nti mukyala muto yeekomya ssente zonna ezaali ziteekeddwa mu bizinensi y’omuceere ate nga ze zaali zikola ettundutundu eddene erya ssente Mabiriizi ze yali yeewoze.

Ekyazzeeko kwe kutiisibwatiisibwa okuva ku buli ludda era mukyalamuto yagenze ne ku poliisi ya CPS ng’agamba nti obulamu bwe buli mu matigga olw’abamu ku ba famire ya Mabiriizi okumutiisatiisa enkya n’eggulo.

Mukyalamuto alina amaka ag’ebbeeyi e Naggulu bba mwe yamuleka ate mukyala mukulu Ruth asula mu nnyumba ensaamusaamu bba gye yamuzimbira e Bugoloobi nga tebannafuna butakkaanya.

EBINTU BY’OMUGENZI ebirinze okutundibwa Mabiriizi nga tannafa yaleka akuutidde ab’ekibiina ky’abagagga ekiyitibwa “TULI BUMU” okuyambako aba famire okuddukanya bizinensi ze zireme kugootaana bw’aba afudde.

Kyokka embeera yabasusseeko era ku nkomerero ne basalawo okutunda ebimu ku byobugagga bya Mabiriizi nga batandikira kw’ebyo ebitaliiko kikolerwawo bataase ebizimbe n’amaka ga bannamwandu agayinza okuboyebwa bbanka singa ensasula egaanira ddala.

Nga bali wamu n’aba famire, baasazeewo batandikire ku ttaka lya yiika 30 eziri e Nnammanve n’eddala erya yiika 2 e Nsambya okuliraana ekitebe kya Amerika, bakkakkanye ku bbanja kyokka n’ebyobugagga ebirala biyinza okulugenda, nga muno mulimu ekizimbe kya Mabiriizi Complex ku Kampala road, Nalubega Building ku Bombo road, ffaamu e Kammengo ku lw’e Masaka, ettaka e Bwebaja, ggoloofa y’e Naggulu, amayumba agapangisibwa abakungu agasukka mu 30 ku luguudo Martin mu Kampala, kkalina endala ku Martin Road n’ennyumba ya mukyalamukulu.

Kyokka mu butakkaanya bwabwe, oludda lwa mukyala muto lwagala bagatteko ‘akeedi’ bbiri okuli Mabiriizi Complex ne Nalubega kyokka ab’oludda lwa mukyalamukulu bakiwakanya nga bagamba nti Madinah akyagala lwakuba ng’ebizimbe bino byombi tabifunamu bulungi biyamba ba ludda lwa mukyala mukulu.

Ab’oludda lwa mukyala mukulu baawadde ekirowoozo nti ennyumba ya Mukyala muto ey’e Naggulu evaamu ssente nyingi era baagala y’eba etundwa.

Twaha Ssentamu omu ku mikwano gy’omugenzi yagambye nti okusalawo okutunda ebimu ku bintu by’omugenzi tebalina tteeka lye baamenye kubanga ekiraamo nakyo kirambika bulungi nti okusasula ebbanja bwe kuba kugaanye batunde erimu ku ttaka ly’alese basasule bbanka.

Okutya okukyaliwo kwe kw’okuba nga ssente ezibanjibwa nyingi nnyo bw’ogeraageranya n’eziyinza okuva mu zinaatundwa mu ttaka er’emirundi ebiri gyokka.

Yagambye nti waliwo abamu ku ba famire abagenda bazunza olugambo nti Omusika n’abaakwasibwa okuddukanya ebintu by’omugenzi babisudde, ekitali kituufu.

Ssentamu yagambye nti buli kintu kyonna Omusika n’akakiiko akamuyambako bakitambuza bulungi era n’ebbanja babadde balisasulako.

Yayongeddeko nti: Omusika akyali mwana muto naye talina buzibu bwonna era akyatambulira ddala bulungi ku nkola kitaawe gye yalekawo, ate n’abantu abalala abalina omutima omulungi bagezezzaako nnyo okumulaga eky’okukola.

Muzzanganda yagambye nti ekijja okuyamba ennyo kwe kulaba nga wabaawo okutabagana
mu famire.

Mabiriizi yafa February 25, omwaka guno olumbe lwe ne lwabizibwa mu March ne bassaako omusika Stuart Mabiriizi.

EBY’OBUGAGGA BYA MABIRIIZI

1. Ekizimbe kya Mabiriizi Complex ku Kampala Road.
2. Ekizimbe kya Nalubega ku Bombo Road.
3. Faamu e Kamengo ku lw’e Masaka.
4. Yiika 30 e Namanve.
5. Yiika 2 e Nsambya.
6. Ettaka e Bwebaja.
7. Ggoloofa e Naguru.
8. Enju eziri mu Estate eziwera 30 e Naguru.
9. Ekizimbe kye yasooka okuzimba ku Martin Road.
10. Ggoloofa e Bugoloobi nga wano we yaleka Mukyala mukulu.

Bbanka ebanja omugenzi Mabiriizi obuwumbi 28

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...