TOP

Gavt. ejulidde ku tteeka ly'ebisiyaga

Added 11th August 2014

GAVUMENTI ewakkanyizza eby’okusazaamu etteka ly’ebisiyaga n'ejulira mu kkooti y'oku ntikko.



BYA ALICE NAMUTEBI

GAVUMENTI ewakkanyizza eby’okusazaamu etteka ly’ebisiyaga n'ejulira mu kkooti y'oku ntikko.

Munnamateeka okuva mu ofiisi ya ssabawolereza wa Gavumenti,  Elisha Bafirawala y'ataddeyo empapula eziraga nga Gavumenti bw'etali nsanyufu n'ensala yabalamuzi ba kkooti ya ssemateeka nga kati balinda kisembayo okuva mu kkooti esukkulumu.

Abalamuzi ba kkooti ya ssemateeka nga bakulembeddwaamu  Steven Kavuma, Augustine Nshimye, Remmy Kasule, Solome Bbosa ne Lillian Tibatemwa baasazaamu etteka ly’ebisiyaga nga bagamba tekimanyikiddwa oba nga omuwendo gw’ababaka abalina okulonda nga etteeka liyisibwa gwawera.

Abalamuzi baanenya sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga obutafaayo Kattikiro wa Uganda Amama Mbabazi bwe yamusaba asooke yeekenneenye oba omuwendo gw'ababaka guwera kimu kyakusatu kyokka n'akibuusa amaaso n'asalawo kugenda mu maaso okuyisa etteeka lino.

Bafirawala agamba nti etteeka lyayisibwa mu butuufu era Gavumenti eyagala kkooti ensukkulumu esazeemu n’ekiragiro eky’okusasula bannamateeka 10 abaaleeta omusango guno mu kkooti.

Pulezidenti Museveni nga 24 February 2014 yayolesa obuvumu obw'ekitalo mu kulwanyisa obuseegu obukulaakulanyizibwa agamu ku mawanga g'Abazungu mu nsi ezikyakula n'assa omukono ku tteeka erirwanyisa obuli bw'ebisiyaga mu Uganda.

......................................................................................................................................

Ebirala....

......................................................................................................................................

 Etteeka liirino mu bujjuvu:

The Anti Homosexuality Bill 2009 in full

Gavt. ejulidde ku ky''okusazaamu etteeka ly''ebisiyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...