TOP

Engeri kkooti gye yakutuddemu Lukwago ppata

Added 22nd August 2014

LOODI Meeya wa Kampala Erias Lukwago n’abawagizi be, baafulumye kkooti ey’oku ntikko nga bawotose omusango gwe yatwalayo ng’asaba okuzzibwa mu ofiisi ku KCCA bwe gwagobeddwa ne bakwata ku mitwe.


Bya Ahmed Mukiibi ne Alice Namutebi

LOODI Meeya wa Kampala Erias Lukwago n’abawagizi be, baafulumye kkooti ey’oku ntikko nga bawotose omusango gwe yatwalayo ng’asaba okuzzibwa mu ofiisi ku KCCA bwe gwagobeddwa ne bakwata ku mitwe.

Kaabadde kaseera kazibu nnyo eri Lukwago, Bannamateeka be n’abawagizi be omwabadde n’ababaka ba Palamenti abaakung’aanidde ku kkooti ey’oku ntikko e Kololo ng’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti eno, Opefeni Auguandia asoma ensala y’abalamuzi abataano, bonna abakkiriziganya okugoba okusaba kwa Lukwago.

Mu nsala yaabwe, abalamuzi bano; eyali Ssaabalamuzi Benjamin Odoki, eyaliko IGG Jotham Tumwesigye, Willson Tseseko, Galdino Okello, Esther Kisaakye, ne Christine Kitumba bakkiriziganyizza nti kkooti yaabwe (ey’oku ntikko) terina buyinza kuwulira kujulira kubanga Lukwago yabuuka emitendera gya kkooti.

Kyokka abalamuzi bano bakkiriziganyizza ne Lukwago nti kyali kikyamu Omulamuzi Steven Kavuma okutuula yekka n’asazaamu ensala ya y’omulamuzi wa kkooti enkulu, Lydia Mugambe wabula Lukwago naye yali mukyamu okugenda obutereevu mu kkooti ey’oku ntikko.

Bannyonnyodde nti amateeka ga kkooti galagira omuntu yenna atamatidde n’asalawo ey’omulamuzi omu, okusooka okutwala okwemulugunya kwe mu maaso g’Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu, n’oluvannyuma ng’abadde tamatidde ne nsala yaabwe olwo n’alyokka agenda mu kkooti ey’oku ntikko.

Lukwago amaze emyezi mwenda nga tali mu ofiisi okuva November 25, 2013 Minisita wa Kampala, Frank Tumwebaze lwe yatuuza Kanso ya KCCA wakati mu kwerinda okw’amaanyi ku KCCA Bakansala ne bamuggyamu obwesige nga bassa mu nkola lipooota y’akakiiko ak’Omulamuzi Catherine Bamugemererirwe
akaamusingiza emisango egy’okukozesa obubi ofiisi n’okulemwa emirimu egy’obwa Loodi Meeya.

Kkooti ey’oku ntikko emaze myezi etaano ng’erindiriddwa okuwa ensala yaayo okuva April, 11, 2014 Lukwago lwe yaddukirayo ng’awakanya ekiragiro ky’Omulamuzi Steven B.

Kavuma owa kkooti ejulirwamu eyamufumuula mu ofiisi ey’obwa Loodi Meeya nga 31 March 2014.

Kavuma yasazaamu ensala y’ Omulamuzi Lydia Mugambe owa kkooti enkulu eyali asazeewo nga March 28, 2014 nti Lukwago addeyo mu ofiisi akakkalabye emirimu egy’obwa loodimeeya ng’emisango gye bwe giwulirwa kyokka balooya ba KCCA n’aba gavumenti ne baddukira mu kkooti ejulirwa ew’Omulamuzi Kavuma, akola nga Ssaabalamuzi wa Uganda era ng’omumyuka wa
Ssaabalamuzi wa Uganda n’amufulumya nga tannabugumya na ntebe.

Kavuma yalagira Lukwago afulume ofiisi mbagirawo n’obuteenyigira mu mulimu gwonna ogw’obwa loodimeeya okutuusa ng’okujulira kwa gavumenti kwesuubira okuteekayo kuwedde okuwulira.

Mu kugenda mu kkooti ey’oku ntikko, Lukwago yali asaba abalamuzi bamukkirize addeyo mu ofiisi akole emirimu nga Loodi Meeya, n’akakiiko k’Ebyokulonda kayimirizibwe mu nteekateeka ez’okujjuza ekifo ekyo.

Wabula mu nsala ya kkooti, Abalamuzi baagambye nti tekibeetaagisa kuwulira musango ogwo kubanga Lukwago teyagoberera mitendera n’olwekyo addeyo mu kkooti ejulirwamu.

Kyokka Abalamuzi, baalagidde nti ebintu bisagale nga bwe biri mu kiseera kino ne bagaana n’okulagira Lukwago okusasulira balooya ba gavumenti n’aba KCCA mu musango guno.

Abalamuzi era baalagidde kkooti ejulirwamu okulonda mu bwangu abalamuzi basatu okuwulira okujulira kwa Lukwago mu bwangu ddala.

NZIKIRIZA KKOOTI KY’ESAZEEWO KYOKKA SIMATIDDE - Lukwago
Lukwago, yategeezezza bannamawulire ku kkooti eggulo nti assa ekitiibwa mu balamuzi n’ensala yaabwe kyokka si mumativu kubanga kkooti emaze emyaka ena miramba okuwa ensala yaabwe n’agamba nti mu mateeka, omusango gwonna bwe gukandaalirira kitegeeza nti eyaguwaaba abeera tafunye kulamulwa.

Yagambye nti n’ensala y’Abalamuzi ebuzaabuza kubanga ku ludda olumu bakkiriza nti Omulamuzi Kavuma yamenya amateeka ga kkooti bwe yeetulinkiriza n’asazaamu ensala ya kkooti ng’atudde yekka ate ku ludda olulala ne bategeeza nti kyali kikyamu okujulira mu kkooti ey’oku ntikko.

Wabula, Lukwago yagambye nti agenda kukola nga bw’alagiddwa, okuddayo mu kkooti ejulirwa n’awera nti tajja kukoowa kulwanirira enfuga ey’amateeka ne bwe kinaamutwalira emyaka.

Engeri kkooti gye yakutuddemu Lukwago ppata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...