TOP

Ettemu ly'amajambiya lyeyongedde

Added 24th August 2014

ETTEMU ly’ebijambiya lyongedde okutaama! Mu bbanga lwa wiiki bbiri zokka batemye abantu 28, babiri ne bafa, abalala bapooca n’ebisago eby’amaanyi ebyabatuusiddwaako.

 Bya Joseph Makumbi ne Deborah Nanfuka

ETTEMU ly’ebijambiya lyongedde okutaama!  Mu bbanga lwa wiiki bbiri zokka  batemye abantu 28, babiri ne bafa, abalala bapooca n’ebisago eby’amaanyi ebyabatuusiddwaako.

Obulumbaganyi buno bwatandikidde ku byalo bibiri okuli Bwebajja-Jjanyi ne K.K. Zooni ku luguudo lw’e Ntebe mu Wakiso, ku kyalo Bakka nga nakyo kiri mu Wakiso nga kati bali Mukono gye baalumbidde famire ne batemaatema abaana bana.

Ekitiisizza abantu abatemu bano abasinga baana bato n’abavubuka  abalina amaanyi nga bwe bayingira mu maka ne batandika okusanjaga  be basangamu  tebataliza, abasala mu maaso gwe batema mu bukambwe obw’ekitalo.

FAMIRE EYALUMBIDDWA:

Abatemu  baalumbye  amaka g’omukozi wa Pulezidenti e Nantabuulirirwa mu ggombolola y’e Goma mu Mukono ku ssaawa 2.00 ez’ekiro ne batemaatema abaana b’awaka.

Abavubuka abaabadde basoba mu 20 baayingidde mu maka  ga Yakub Kirumira nga babagalidde ebiso n’ebijambiya era baatuukidde ku baana abaabadde wabweru ne batandika okubasanjaga. Hajati Aisha Kirumira  yategeezezza nti abatemu abaabalumbye baabadde 20 nga bakulembeddwamu Andrew Kaggwa Muyimba gwe baakazaako erya Ande gwe baali baawa omuzigo ku nnyumba zaabwe. Muyimba, yapangisizza abavubuka bano okuva ku kyalo Kiwanga ekiriraanye Nantabuulirirwa ne bagenda mu kazigo ke baali baamuwa ne basiba ebintu ne babitikka ku mmotoka kika kya Isuzu Elf nnamba UAA 004N. Oluvannyuma ne beegattibwako bannaabwe abaabadde beekweese mu lusuku oluliraanye awaka  ne balumba abaana abaabadde bakola ebitengi ne babakuba emiggo nga kwebatadde n’okubatema ebiso. 

Abaatemeddwa  ye  Musa Kibirige, Martin Lubega, William Kizito, Mubarak Kirumira nga nnyaabwe Hajati Aisha Kirumira baamukubye emiggo  nga n’okumusambasamba. Baakubye enduulu olwo abatemu ne batya ne badduka.

Ekirungi baabadde babalabye ne bategeeza poliisi eyakoze omuyiggo n’ekwata Muyinda nga kati akuumirwa ku poliisi y’e Seeta.

ABATEMU BAALUmBYE  BAKKA

James Mukalazi 24, mutabani wa Joseph Sebuufu  ow’e Bakka yattiddwa mu bukambwe  oluvannyuma lw’okufumitibwa ekiso mu lubuto ate mikwano gye okuli Francis Tebusweke 16 yafumitiddwa  enkwawa ne kikwata mu mbiriizi ne Charles Mukiibi 27, n’afumitibwa mu bulago okutuuka mu kifuba nga bano bapooca e Mulago.            

Bino byabadde Bakka mu ggombolola y’e Wakiso ku ssaawa 5.00 ez’ekiro wiiki ewedde, Tebusweke agamba nti okufumitibwa baabadde bagenze kutaasa mukwano gwabwe Bunzi Serunjogi  ng’alwana n’abavubuka  abaabadde bamulumbye. Baguddewo omusango ku poliisi y’e Bakka mu Wakiso oguli ku SD Ref. 02/17/08/2014 ogw’okutta n’okulumya abalala. Poliisi y’e Bakka eri mu kuyiga abatemu.

ETTEMU LY’E BWEBAJJA

Lawrence Ssekitto omu ku bantu 20 abaatemeddwab mu bulumbaganyi obwabadde e Bwebajja yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago, eggulo ng’abalala bakyali mu mbeera mbi.

Abatemu  abaabadde baduumirwa omukazi nga kuliko n’abaana abato baalumbye ebyalo bibiri  e Bwebajja ne batemaatema abantu ne babatuusaako ebisago eby’amaanyi ng’abasinga embeera yaabwe tennalongooka. 

POLIISI EYOGEDDE:

Poliisi y’e Seeta g’ekulembeddwaamu Gustone Twinamasiko, baakoze omuyiggo ne bakwata Muyimba eyaguze abatemu ne munne bwe babadde basula ku nnyumba za  Kirumira eyamuyambyeko mu ttemu lino ne baggulwako omusango ku fayiro nnamba SD 49/21/08/2014. Twinamasiko yategeezezza nti, okunoonyereza kugenda mu maaso okukwata abantu abalala abeenyigidde mu ttemu lino ne nnannyini mmotoka eyakozeseddwa.

Abafumbo abaatemeddwa

ABAFUMBO ababbi be baatemye ebiso e Bwebajja balojja ababbi  bwe baabatuuseeko mu kisenge. Joshua Mutatuula ne mukyalawe, Ruth Ayoleka abaasangiddwa e Mulago nga batemeddwa emitwe, emikono battottola bwe bati: 

“Ababbi baasaze kkufulu y’oluggi olusooka ne bayingira nga tetuwulidde, twagenze okuwulira nga basamba oluggi lw’ekisenge ne tugezaako okwekweka nga tetulaba gye tudda, abaana ne bawanuka mu butanda ne beewogoma mu nsonda z’ekisenge olwo ababbi ne badda ku ffe ne batukuba nga boogera bibiri; ‘mpa ssente’ ‘mpa essimu.’ Bakira basaba ssente bwe batutema era zonna ze twabadde nazo twazikukunuddeyo ne tuzibawa n’essimu zaakwo. Olwabibawadde ne bagenda. 

Harriet Nakku yatemeddwa omutwe ne baganda be babiri okuli; Jimmy Sebaggala, 19 ng’ali mu mbeera mbi ne Immaculate Nanteza nga bombi baana ba Safina Nagujja ow’e Kasozi. Nakku agamba nti baasambye oluggi ne babatuukako nga basaba ssente n’essimu nga bw’ogamba ‘sizirina’ bakutema n’okukukuba emiggo okutuusa ng’ozibawadde.   Omwogezi w’eddwaaliro ly’e Mulago, Enock Kusasira yategeezezza nti abamu bajjanjabiddwa ne basiibulwa wabula abalala bakyali mu mbeera mbi.

Ettemu ly’amajambiya lyeyongedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...