TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egobye omusango gwa Wambuzi: Gabula atuuzibwa nkya ku Bwakyabazinga

Kkooti egobye omusango gwa Wambuzi: Gabula atuuzibwa nkya ku Bwakyabazinga

Added 12th September 2014

KKOOTI e Jinja etemye Wambuzi enkizi, Omulamuzi Godfrey Namudi bw’agobye omusango gwe yawaaba ng’awakanya okulondebwa kwa William Gabula Nadiope 1V ku Bwakyabazinga bwa Busoga ng’agamba nti ye yawaaba ng’omuntu okuwakanya abangi abaalonda era n’emikolo gy’olwenkya ku Lwomukaaga gigenda kutambula bu

Bya DONALD KIIRYA 12/09/2014

KKOOTI e Jinja etemye Wambuzi enkizi, Omulamuzi Godfrey Namudi bw’agobye omusango gwe yawaaba ng’awakanya okulondebwa kwa William Gabula Nadiope 1V ku Bwakyabazinga bwa Busoga ng’agamba nti ye yawaaba ng’omuntu okuwakanya abangi abaalonda era n’emikolo gy’olwenkya ku Lwomukaaga gigenda kutambula bulungin awatali kutataaganyizibwa.

Ensala eno yayongedde okukakasa nti enkya (Lwamukaaga) William Gabula Nadiope 1V atuuzibwa ku Bwakyabazinga bw’atyo Omulamuzi n’awa Wambuzi amagezi ajulire mu kkooti eddako bw’abeera tamatidde na nsala eno.

Omulamuzi abadde tannaba kumaliriza kusoma nsala ye ng’Abasoga ababadde bagumbye ku kkooti baatandise dda okukuba enduulu n’okuyisa ebivvulu ebyasasaanidde mu bitundu eby’enjawulo okuli; Bugembe, Mpumudde, Kamuli, mu kibuga Jinja n’ebitundu bya Busoga ebirala.

Wambuzi yawaaba ng’ayita mu Bannamateeka ba Matovu & Matovu Co. Advocates ate aba Gabula baakulembeddwa Muwema & Co. Advocates.

Pulezidenti Museveni ye mugenyi omukulu ku mikolo nga batuuza Nadiope ku Bwakyabazinga. Ababaka ba Palamenti abava e Busoga basonze ssente ne bagula ente 10 ezigenda okusalibwa okugabula abantu ku mukolo.

Abagenyi ab’enjawulo baakwetaba ku mukolo okuli ne Kabaka Mswati owa Swaziland.

 

 

Kkooti egobye omusango gwa Wabula: Gabula atuuzibwa nkya ku Bwakyabazinga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu