TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bw'oba onoogaggawala weewale okwejalabya - Ssekalaala

Bw'oba onoogaggawala weewale okwejalabya - Ssekalaala

Added 13th September 2014

Nnaggagga Aga Ssekalaala alabudde ab’e Rakai okwewala ebintu by’okwejalabya, nti kino kye kijja okubakuumira ensimbi n’okubagobako obwaavu.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

Nnaggagga Aga Ssekalaala alabudde ab’e Rakai okwewala ebintu by’okwejalabya, nti kino kye kijja okubakuumira ensimbi n’okubagobako obwaavu.

Aga Ssekalaala yabadde ku kyalo Kisuula mu muluka gw’e Kisuula mu ggombolola ye Kasasa e Kakuuto mu Rakai bwe yabadde ayogerako eri abalimi ba Vanilla okuva mu kitundu kino  abasobye mu 200 beyagabidde nensiimbo za Vanilla okwongera okutumbula ekirime kino mu kitundu kino.

Aga Ssekalaala eyabadde ne RDC w’e Rakai, Charles Mubiru yategeezezza nti ebyobulimi n’okulunda obutale bwabyo bukyukakyuka nga tebasaanye kusuulawo birime ate ne bakwatagana n’ebirala.

‘’Amagezi ge mbawa, ekirime bwe kigwa ebbeeyi ate ggwe osaanye okirime nnyo. Bw’olima ekirime olwa bbeeyi yaakyo okulinnya kiba kijja kukusala,” bwe yagambye.

Yategezeza nti ekirime kya Vanila kirina omulimo muungi naddala okumutundula nga guno mulimo gusobolwa nnyo naddala abakyala naategeeza nti tebasaanye kusuulirira bakyala  mu byokukola ebyenfuna mu maka kuba baamugaso nnyo mu kino.

Yabawadde amagezi okutateeka ssente mu byakwejalabya ng’okukola obubaga n’okunywa omwenge oba  abakyala okulowooza okukola enviiri n’ategeeza nti yadde ebyo nabyo byetaagisa wabula basaanye basooke eby’omugaso naddala ng’okuweerera abaana.

RDC Charles Mubiru yasiimye Ssekalaala olw’okufaayo okugenda e Rakai okuzzaamu abalimi ba Vanilla amaanyi n’asaba abalimi bamuyigireko kuba musajja mukozi.

Oluvannyuma Ssekalaala yagabidde abalimi endokwa za Vanilla, emiti n’obutiimba bw’ensiri. Kayungirizi w’abalimi ba Vanilla mu maserengeta ga Buddu, Mw Peter Musisi yategezeza nti abantu b’e Kisuula babadde balima Vanilla naye nga beetaagamu omusomo kwe kusaba Mw. Ssekalaala  okugubawa.

 

Bw’oba onoogaggawala weewale okwejalabya - Ssekalaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu