TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eklezia eyongedde nnatti ku 'Bulaaza' Mukaajanga

Eklezia eyongedde nnatti ku 'Bulaaza' Mukaajanga

Added 9th October 2014

ENSONGA za Mukajanga “Bulaaza” w’e Bukalango asabira abantu zongedde okulanda ne bamulagira ayimirize enkung’aana z’ategeka ku akeedi z’omu Kampala, addeyo e Bukalango akolere wansi wa Faaza Experito Magembe.

 Bya MARGARET ZIRIBAGGWA, JOSEPH MAKUMBI  ne ANTHONY SSEMPEREZA

ENSONGA za Mukajanga “Bulaaza” w’e Bukalango asabira abantu zongedde okulanda ne bamulagira ayimirize enkung’aana z’ategeka ku akeedi z’omu Kampala, addeyo e Bukalango akolere wansi wa Faaza Experito Magembe.

Eklezia era eragidde John Baptist Mukaajanga, Abakristu naddala ab’Eggye lya Maria gwe bayita “Bulaaza” okukomya enkung’aana z’ategeka ku Jjemba Plaza ne Gaggawala Shauriyako mu Kampala wakati kubanga azikola tagoberedde nkola na nsengeka ya Klezia.

Mukajanga 40, yasomako obwa Faaza wabula n’atabumalaako era kwe kugendanga e Bukalango mu 1990 n’atandika okuyambako Faaza Magembe (kati Munsenyori), era oluvannyuma n’atandika okukulemberangamu essaala; ekyaddirira kwe kutandika okusabira abalwadde era n’atandika puloogulamu z’asasulira ku Ttivvi n’enkung’aana ku bizimbe bya Kampala. 

Wadde Mukaajanga yategeezezza nti by’akola byonna abikolera wansi wa Faaza Magembe; eky’okutegeka enkuŋŋaana mu bifo ebiri ebweru wa Bukalango nga takolaganye na Klezia zitwala bitundu ebyo, kikontana n’enkola egobererwa era baamulagidde akiyimirize mbagirawo.

Msgr. Charles Kimbowa omuwi w’amagezi omukulu owa Ssaabasumba yagambye nti  abaweereza ba Kristu bonna balina okutambulira mu kkubo eggolokofu eritaliimu kukolera bintu bbali wa mateeka.

Yagambye nti Mukaajanga okutandika okuguza abantu amafuta ku 30,000/- buli ccupa yakitandikira mu Kampala mw’akuba enkuŋŋaana kubanga tewabeerawo amulondoola kwe kugattako nti okumuzza e Bukalango kye kyokka ekijja okumuzza mu kkubo ettuufu kubanga ne Msgr. Magembe gw’ajuliza tatunda mafuta; ekiraga nti Mukaajanga alina okuyambibwa okudda ku mulamwa.

Msgr. Kimbowa yatangaazizza nti wadde abantu bangi Mukaajanga bamuyita Bulaaza naye tabusomangako era n’abakimuyita bakiggya ku nkola y’Ab’eggye lya Bikira Maria eya buli muntu okubeera mugandawo mu by’omwoyo nga bw’aba musajja omuyita “Bulaaza” ate omukazi “Siisita”.

Mukajanga yagambye nti Yezu Kristu yamulabikira n’amuwa amaanyi agasabira abantu abalina ebizibu era n’amulagira okugenda e Bukalango okukolera wansi wa Faaza Magembe kubanga y’amutegeera mu by’omwoyo; nti era ensonga zino zonna gwe yazirekedde amulung’aamye.

Fr. Magembe mu kiseera kino ali mu lusirika wabula mu kusooka yabadde ategeezezza Bukedde nti akyalinze ekiwandiiko ekitongole okuva e Lubaga ku nsonga za Mukajanga.

 

Ebirala......

Ssaabasumba alabudde Abakristu ku Mukaajanga: 'Enkola ye ekontana ne Eklezia'

Eklezia eyongedde nnatti ku ‘Bulaaza’ Mukaajanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...