TOP

Kayihura yeezoobye n'abagagga ku bya Kasiwukira

Added 23rd October 2014

Godfrey Kirumira ye yasoose mu ddiiro n’agamba Kayihura: poliisi ekoze bulungi okukwata abanywi b’omwenge ng’ekozesa “kawunyemu.”

 

Bya Joseph Mutebi

Godfrey Kirumira ye yasoose mu ddiiro n’agamba Kayihura: poliisi ekoze bulungi okukwata abanywi b’omwenge ng’ekozesa “kawunyemu.”

Kyokka Ebyokwerinda bibalemye. Abantu battibwa tewali kikolebwa. Mubuuliriza, mulikomya ddi okubuuliriza? Ffe twagala kumanya nfa ya Kasiwukira.

N’agattako: Leero basse Kasiwukira, enkya ayinza okuba nze oba omu ku bannaffe. Otusalidde magezi ki? Olaba Kasiwukira bamuttira e Muyenga olwo abasula ebbali eyo?

Kayihura n’ayanukula: Muleme kulowooza ku batemu bokka. N’aba Al Shabaab babatunuulidde. Ggwe Kirumira oba BMK nga aakuwambye tebalumya eggwanga lyonna?

N’ayongerako: Mulina ssente naye kiki ekibatwala okudduka mu nguudo nga temulina bukuumi? Lwaki emmotoka zammwe tezibawerekerako?

Nange nnali nziruka okwetoloola Muyenga kyokka aba bodaboda baali baagala kunzite enfunda bbiri mu biseera bya “walk to work”, ebyo ne mbivaako.

Kati ng’enda mu jjiimu oba bwe nziruka mperekerwako emmotoka bbiri.

Ate Kirumira kwe kwanukula: Ssebo ffe tetulinga ggwe alina emmotoka za poliisi n’obukuumi. Ky’ogamba tulekere awo okudduka mu nguudo kubanga mu Uganda temukyali bukuumi. Ebintu
bibalemye?

Ko Kayihura: Ekyo si kye ntegeeza. Wadde obukuumi weebuli naye nammwe mulina okwekuuma n’okulongoosa enkolagana yammwe ne baliraanwa. Muva mu bikomera ne mugenda e Kampala
nga temukolagana na baliraanwa.

Ebikomera tebibagasa kubanga ne bwe kiba kiwanvu kitya olina okuvaamu n’ofuluma. Baliraanwa be bayinza okukubuulira ebiri ebweru w’ekikomera.

Bino byabadde mu lukiiko olw’ebbugumu e Kansanga eggulo, Kayihura mwe yasisinkanidde aba Kwagalana okwogera ku bya Kasiwukira eyatomeddwa emmotoka ku Lwokutaano ku maliiri e Muyenga.

Ebifaananyi by'akanyolagano kano

KAYIHURA YEETONZE
Kayihura yasoose kwetonda olw’engeri omulambo gwa Kasiwukira gye gwatwalibwa mu ggwanika e Mulago ku kabangali ya poliisi ng’alinga omubbi attiddwa ku kkubo n’agamba “nnalagira akulira poliisi y’e Muyenga aleete ambyulensi okuva ku ddwaaliro lya IHK e Muyenga.

Nange nnewuunya okulaba ng’omulambo gutwaliddwa ku kabangali.” Kwe kulagira akulira poliisi y’e Muyenga, Arnold Arinaitwe annyonnyole.

Ntakke (ku kkono), Youma, Francis Kakumba, Dick Kizito, Kirumura ne Haji Nseera (ku ddyo).

Arinaitwe n’agamba: mukama wange nnaleeta ambyulensi kyokka yagenda okutuuka ng’omulambo gutwaliddwa.

Abalala abaayogedde kuliko Sarah Nkonge eyagambye: Nze ndowooza nti Kasiwukira yali akyali mulamu poliisi we yajjira. Naye tewaaliwo musawo kusooka kukakasa nti yali afudde. Kiyinzika okuba nga bwe baamukasuka ku kabangali ng’amabidde kye kyavaako okufiira mu kkubo nga bamutwala e Mulago.

N’agamba: Ssebo Kayihura otukakasa otya nti Kasiwukira baamuggya emmotoka we yamutomerera ng’amaze okufa? Olina bukakafu ki nti teyafiira ku kabangali ya poliisi?

Kayihura: Nange ndi we Muyenga. Ku bya Kasiwukira ndi siriyaasi (soma serious). Ntaddewo akakiiko nze nkakulira nga kuliko Geoffrey Musana amyuka akulira okubuuliriza ku misango.

Tujja kukolagana nammwe, mbakakasa mu bbanga ttono tugenda kukwata eyasse Kasiwukira.

N’agattako: ntaddewo n’akakiiko akalala akakulirwa Felix Kaweesi okunyweza ebyokwerinda e Muyenga, Kansanga, Kabalagala ne Makindye.

Hajji Swaibu Nseera owa Ssisa Arcade ku Nabugabo: poliisi teyinza kubeera buli wantu. Muzzeewo eggye lya LDU okukuuma ebyalo, ffe tujja kuliteekamu ssente.

Haji Kibirige (ku kkono), Nabbale ne Babirye (ku ddyo) mu lukiiko.

Kayihura: Nnataddewo abalwanyisa obumenyi bw’amateeka (Crime Preventers). Mukolagane naabo ne poliisi.

Kirumira: Ku lwa Kwagalana tutaddewo obukadde 15 okuziwa anaayamba okuzuula omutemu.

Kayihura: Oba muteekawo ssente oba temuziteekawo njagala kubakakasa tugenda kuzuula eyasse Kasiwukira.

Hajji Bulayimu Kibirige BMK: Ku luno twagala mutulage omutemu nga yooyo yennyini ne lipoota ekwata ku kukubuuliriza eweebwe abantu.

Omubaka wa Makindye East John Simbwa: wadde ekisanja kya LC kyaggwako mu mateeka naye bakyaliwo era Gavumenti ebamanyi. Bagende mu maaso bakole ku butebenkevu nga bamanya
buli ajja mu kitundu.

Abalala abaabaddewo ye Teopisita Nabbaale owa Makenzie Hotel ku Namirembe Road; Agnes Babirye owa HB Towers ku Luwum; John Bagambe asuubula amafuta; Gaster Lule Ntakke, Dick Kizito owa Kizito Towers ku Luwum, Ssaalongo Bukenya VIVA mu Ndeeba; James Bakaluba; Fred Kayiira ne Moses Bagalya.

Kirumira (ku kkono), Kaweesi, Ian Clerk ne Kayihura.

Ebirala ku Kasiwukira

Omugagga Kasiwuukira afudde

KASIWUKIRA: Yasooka mu butembeeyi, afudde omu ku bagagga abasinga mu Kampala

Kasiwukira alese alonze abakuza basatu

Poliisi eriko by’ezudde ku nfa ya Kasiwukira

Kasiwukira yalese ayooyoose w’anaazikwa

Kayihura yeezoobye n’abagagga ku bya Kasiwukira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...