TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala eyesse baamuliddeko ssente ze ez'ekyeyo ky'e Dubai

Omuwala eyesse baamuliddeko ssente ze ez'ekyeyo ky'e Dubai

Added 28th October 2014

EBIPYA bizuuse ku muwala eyabuuse okuva mu kizimbe kya Worker’s House mu Kampala ne yetta, olw’ebizibu bye yayitamu ng’ali e Dubai ku kyeyo kw’ogatta ne bye yasanze awaka ng’akomyewo.

Bya Joseph Makumbi

EBIPYA bizuuse ku muwala eyabuuse okuva mu kizimbe kya Worker’s House mu Kampala ne yetta, olw’ebizibu bye yayitamu ng’ali e Dubai ku kyeyo kw’ogatta ne bye yasanze awaka ng’akomyewo.

Annet Ashaba 26, yasitula mu November w’omwaka oguwedde n’agenda e Dubai okukuba ekyeyo , kyokka bwe yatuukayo tebyatambula bulungi olw’okutulugunyizibwa okw’amaanyi kwe yatuusibwako abantu ababadde bamukozesa.

Mwannyina w’omugenzi ayitibwa Ezra Isingoma annyonnyola bwati:

Ashaba bwe yatuuka e Dubai n’afuna omulimi ogwasooka n’ayisibwa bubi nnyo era abaasooka okumukozesa baamuyisanga nga musibe, ng’akubibwa emiggo buli lunaku era nga kino kyakakasiddwa omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango eyategeezezza nti omulambo gw’omugenzi gwasangiddwaako  enkovu nnyingi eziraga nti abadde atulugunyizibwa.

Paasipooti ya Ashaba eyesse.

Oluvannyuima lw’okulemererwa omulimu guno ogwasooka, Ashaba yafuna omulimu omulala ogw’okutunda mu supamaketi emu era omulimu guno yagufunamu ssente ekyamusobozesa okutandika okuweereza ssente abamu ku booluganda okubaako bye bamukolera.

E Dubai baamutuntuza

Ashaba era ne ku mulimu guno yatandika okufuna obuzibu n’atandika okutulugunyizibwa, kwe kusala amagezi n’alaba Bannayuganda abaamuyamba n’adda awaka mu makkati g’omwezi guno era mwannyina yamwekangira awo ng’atuuse ekiro mu kazigo ke e Nnyanama gye babadde babeera.

Poliisi ng’etwala omulambo gwa Ashaba eyesse.

Isingoma agamba nti mwannyina bukya akomawo, abadde ali mu birowoozo bingi era yamubuulidde obulamu obubi bwonna bw’abadde ayitamu nga n’oluusi bw’aba ayogera atulika n’akaaba nga byonna by’ayogera biraga obulumi bw’alina ku mutima.

Isingoma agamba nti ekyasinze okumutabula n’asalawo n’okwetta, kwe kugenda okulambula poloti gye baamugulira n’agisanga nga ntono nnyo ate ng’ezimbiddwaamu akayumba akatono akatannaba na kumalirizibwa, okusinziira ku ssente ennyingi  z’abadde aweereza buli kiseera.

Omugenzi abadde ategeezebwa buli lw’aweereza ssente nti buli kimu kitambula bulungi kyokka ebisinga babadde bamulimba.

Ku lunaku lwe yesse, Isingoma agamba nti omugenzi yamusabye ssente z’entambula agendeko mu kibuga mu bbanka aggyeyo ssente era bwe yavudde awaka, Isingoma ky eyazzeemu okuwulira nti mwannyina  abuuse ku kizimbe n’afa!

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Mw. Onyango yategeezezza nti omugenzi alabika abadde aweereza ssente nnyingi naye bye yasanze  ebikoleddwa nga tebigya mu ssente zino nga kiteeberezebwa nti kiyinza okuba nti kye kimu ku byavuddeko okwetta.

Mu ngalo z’omugenzi mwasangiddwaamu akapapula akaabadde kalaga nti yali yatumya emmotoka ey’ekika lya Raum ebadde eneetera okutuuka mu Uganda. Omugenzi azaalibwa Ssembabule era nga gy’agenda okuziikibwa.

Omuwala eyesse baamuliddeko ssente ze ez’ekyeyo ky’e Dubai

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...