TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okutta omugagga Kasiwukira babiyingizzaamu owa famire

Eby'okutta omugagga Kasiwukira babiyingizzaamu owa famire

Added 29th October 2014

ENNAKU ezaakulembera okutemula Kasiwukira waliwo abantu babiri awaka we e Muyenga abaayogerera ku ssimu n’okuweereza ku ssimu obubaka (SMS) nga boogera n’abagambibwa okuba abatemu abaamusse.

Bya BASASI BAFFE

ENNAKU ezaakulembera okutemula Kasiwukira waliwo abantu babiri awaka we e Muyenga abaayogerera ku ssimu n’okuweereza ku ssimu obubaka (SMS) nga boogera n’abagambibwa okuba abatemu abaamusse.

Era kigambibwa nti omu ku bantu bano yawulirwa ng’ayogera n’omu ku bagagga b’omu Kampala abateeberezebwa okubaako ne kye bamanyi ku kutemulwa kwa Kasiwukira.

Kyategeezeddwa nti poliisi yatandise okubuuliriza ku bantu bano nga kigambibwa nti baamunda nnyo mu famire era omu asulira ddala waka ewa Kasiwukira ate omulala yavaawo kyokka ng’atera okujja awaka e Muyenga.

Kasiwukira yatomerwa emmotoka e Muyenga ku Lwokutaano nga October 18, bwe yali akedde okukola dduyiro.

Ensonda zaategeezezza nti poliisi yafunye olukusa okuva mu kkooti olugikkiriza okutuukirira kkampuni z’amasimu gagiwe ebikwata ku masimu ga bantu bano okunoonyereza okuzuula abantu be baayogera nabo ku lunaku omugenzi lwe yattibwa n’obubaka bwe beewereza.

Ensonda zigattako nti waliwo n’abamu ku basuubuzi mu Kampala, poliisi be yaggyeko sitatimenti naddala ababadde babanjibwa omugenzi era bennyonnyoddeko ku nkolagana gye babadde nayo ne Kasiwukira.

Omu ku bagagga bano agambibwa nti Kasiwukira yamuwola ebikozesebwa mu kuzimba, wiiki ewedde yatuukiridde famire ng’ayagala okusasula ebbanja kyokka abafamire ne bazigaana nga bagamba nti baabadde baagala ssente zisasulirwe mu lukiiko olw’awamu olulimu bammemba ba Kwagalana ne famire.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Muky. Polly Namaye yategeezezza Bukedde nti baafunye olukusa okuva mu kkooti olubakkiriza okukebera essimu y’omugenzi okuzuula abantu be yasembayo okwogera nabo era yayogera nabo biki.

Naye yayongeddeko nti oluvannyuma lw’okufuna abantu abaasemba okwogera naye era bwe banaabafuna olwo bagende nga beetegereza omu ku omu.

Poliisi era ekyakuuma abantu babiri be yakwatira mu kuziika Kasiwukira be yasanga nga bagabana ssente mu kaabuyonjo nga poliisi eyagala okumanya gye baaziggya kubanga zaali nnyingi.

Poliisi egattako nti abantu bano bayinza okuba nti beekweka mu ku bbira mu kuziika kyokka nga baalina pulaani endala ey’okuwuliriza ebyali byogerwa mu kuziika okusobola okuyambako ku bantu abeenyigira mu ttemu okuwona okukwatibwa.

Ensonda zaategeezezza nti ennaku ezaddiridde Kasiwukira okutemulwa, yabadde yeeyisa ng’amanyi nti agenda kufa.

Alina ebintu bye yakola ebitaasanyusa abamu ku bafamire ye okugeza okulaga ebyobugagga by’ategekedde abaana be abazaalibwa mukyala muto e Najjanankumbi. Kino kyawakanyizibwa abamu ku bafamire.

Ate waliwo omu ku bamaze ekiseera nga bamuli ku lusegere gwe yayatuukiriza nti ayagala nnyo ebyokufuna era n’amuggya mu bizinensi ze.

Wiiki eno aba famile bategese okusisinkana abantu bonna omugenzi be yali abanja boogere omuwendo omutuufu ogubabanjibwa , era bategeeze enteekateeka y’okusasula ssente zino nga bino byonna bijja kutuukibwako nga waliwo ne poliisi ekola ku kunoonyereza ku kuttibwa kw’omugenzi.

Wiiki ewedde ab’ekibiina kya Kwagalana baataddewo ekirabo kya bukadde 15 eri imuntu yenna anaayamba okukwata abatta Kasiwukira.

Enfa ya Kasiwukira

 

 

 

Eby’okutta omugagga Kasiwukira babiyingizzaam

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu