TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiyingi omuwandiisi w'ebitabo n'emizannyo aziikibwa leero

Kiyingi omuwandiisi w'ebitabo n'emizannyo aziikibwa leero

Added 17th November 2014

KAKENSA w’okuwandiika emizannyo n’ebitabo mu ggwanga Wycliffe Kiyingi aziikibwa leero ku kyalo Sonde mu Ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono.

Bya ALI KIZZA


KAKENSA w’okuwandiika emizannyo n’ebitabo mu ggwanga Wycliffe Kiyingi aziikibwa leero ku kyalo Sonde mu Ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono.

Kiyingi 85, yafiiridde mu ddwaaliro e Mengo ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okumalayo ennaku ssatu ng’ajanjabibwa, obulwadde obumaze ebbanga nga bumugonzezza wabula ng’ajjanjabibwa mu maka ge e Mutundwe era nga w’afiiridde nga bamusindikira mu kagaali.

Mwannyina w’omugenzi Christine Nakaggwa 76 abadde ajjanjaba mukulu we yategeezezza nti;

“bankubira essimu ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga bamututte mu ddwaaliro e Mengo gye yaweebwa ekitanda mu woodi ya Albert Cook kyokka obulwadde ne bweyongera n’assibwa ku byuma kw’abadde assiza n’atatereera okutuusa ku Lwomukaaga lwe yeeyongedde okuba obubi era ku ssaawa 2:00 ez’oku makya n’afa,” Nakaggwa bwe yannyonnyodde.

Omwoyo gw’omugenzi gwasabiddwa mu kkanisa ya Mutundwe mu kusaba okwetabiddwaako abantu abangi wadde bannakatemba abasinga obungi tebaakwetabyemu.

Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu maka ge e Mutundwe Kirinyabigo mu gombolola y’e Wakiso.

Leero omulambo gutwalibwa ku National Theatre ku ssaawa 3:00 ez’oku makya okusobozesa ne Bannayuganda abalala okumukubako eriiso evvannyuma oluvannyuma atwalibwe ku biggya bya bajjajjaabe e Sonde gy’agenda okuziikibwa ku ssaawa 8:00.

Alese nnamwandu, Joan Kiyingi bwe bamaze emyaka 56 mu bufumbo obutukuvu ne bamulekwa.

Emizannyo gy’awandiise

  • Lozio bba Sesiriya
  • Olugendo lwe Gologoosa
  • Gw’osussa emmwaanyi
  • Muto nnyo okufa
  • Sempala bba mukyala Sempala
  • Mwami Kyeswa
  • Obwavu musolo n’emirala mingi.

Ebirala ku Kiyingi

Wycliff Kiyingi omuwandiisi w'obutabo bw'emizannyo gy'Oluganda afudde

Kiyingi omuwandiisi w’ebitabo n’emizannyo aziikibwa leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...