TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja agambibwa okutta Kasiwukira atolose ku poliising'abaserikale

Omusajja agambibwa okutta Kasiwukira atolose ku poliising'abaserikale

Added 20th November 2014

POLIISI yalondodde omusajja ayitibwa Opio agambibwa okuba nti ye yatomera omugenzi Kasiwukira n’amutta, nemukwatira mu disitulikiti y’e Alebtong eyasalwa ku y’e Lira gye yabadde yeekukumye.


Bya MUSASI WAFFE
POLIISI yalondodde omusajja ayitibwa Opio agambibwa okuba nti ye yatomera omugenzi Kasiwukira n’amutta, nemukwatira mu disitulikiti y’e Alebtong eyasalwa ku y’e Lira gye yabadde yeekukumye.

Ensonda mu poliisi zaategeezez¬za nti Opio yasangiddwa mu maka agamu ewa mukwano gwe ng’ali n’abantu abamu bali ku nsaka yamalwa banywa era bwe yalabye abaserikale n’agezaako okufubutuka okudduka kyokka abaserikale ne bamutaayiza ne bamukwata.

Oluvannyuma Opio yabatutte ewa munne ayitibwa Awuyo naye ateeberezebwa nti alina ky’amanyi ku kuttibwa kw’omugenzi naye ne bamukwata.

Abakwate bombi baatwaliddwa ku poliisi y’e Alebtong gye baasoose okukuumirwa nga bwe bakola entegeka ey’okubaleeta mu kibuga.

Wabula ekyewuunyisa, abaserikale baagenze mu kisenge ekimu ku poliisi okwabadde kuteereddwa abasibe okubaako bye beegeyaamu nga tebannasimbula kudda Kampala kyokka baagenze okufuluma olukiiko nga Opio abombye ku baserikale abaabadde bamukuuma!

Ekimu ku bizimbe bya Kasiwukira ebisangibwa e Muyenga.

Kino kyaleeseewo akasattiro mu baserikale abaatumiddwa okukwata omuntu ono ne bagezaako kyonna ekisoboka okumunoonya kyokka ne bamubulwa.

Ekibinja ekyasindikiddwa okukwata Opio kyakulembeddwaamu Mark Odong, mbega wa poliisi okuva ku kitebe e Kibuli ng’ali wamu n’abamu ku ba LC y’e Muyenga omugenzi gye yali abeera.

Ensonda zaategeezezza nti okutoloka kwa Opio kwatabudde abaserikale nga kiteeberezebwa nti waliwo omuntu ayiwa ssente mu musango guno okulemesa poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu nti era okutoloka kw’omusajja ono kwabadde kupange.

Oluvannyuma lwa bino, omu¬myuka w’akulira bambega ba poliisi mu Uganda, Geoffrey Musana, yayise abakulira bambega bonna mu Kampala n’emiriraano n’abakunya ku buli bw’enguzi obuyitiridde mu kunoonyereza emisango naddala egirimu ettemu.

Yagambye nti emisango mingi gyandyanguyidde poliisi okunoonyerezaako naye enguzi esusse eremesa okuzuula ebintu ebyandibadde bizuulibwa.

Omu ku baserikale abeetabye mu kikwekweto ky’okukwata Opio yategeezezza nti kyandiba
ng’abaserikale be baavudde nabo e Kampala kwe kwabadde eyabadde mu lukwe.

Yajjukidde nti bwe baabadde bagenda yeekengedde ezimu ku mmotoka bakira ezibavaako emabega nga n’ezimu zibayisa nti kyokka gye byaggweeredde ye musibe, omu ku basinga okwetaagibwa, okutoloka mu ngeri etategeerekeka.

Laba na bino

Agambibwa okutta Kasiwukira akwatiddwa

Abaakakwatibwa kuliko, Sandra mulamu w’omugenzi Kasiwukira nga kigambibwa nti alina ky’amanyi ku by’ettemu lino, olw’obusungu bwe yalina olw’omugenzi okumuganza n’amulekawo.

Omulala eyakwatiddwa ye Ashraf Jaden omuserikale wa poliisi y’e Muyenga era muganzi wa Sandra gwe balumiriza nti yamanya ku lukwe luno kyokka n’atatemya ku bakama be kukwata baalulimu.

Ojok, ono yaggyibwa Luzira ku musango omulala ogwamusibya, n’alonkoma abantu abo aboogeddwaako waggulu nti be baakola olukwe era ono yannyonnyola poliisi engeri abantu bano bonna gye bateesangamu nga bakolagana n’omuntu omu mu famire atannakwatibwa.

Omusajja agambibwa okutta Kasiwukira atolose ku poliising’abaserikale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.