
Bya ALI WASSWA
OMWANA yacamudde abantu bwe yeseebuludde ku muzadde we n’agenda butereevu ewa Pulezidenti Museveni n’atandika okwekola obusolo.
Omwana nga yeerippye ku kugulu kwa Pulezidenti.
Omwana ono ow’emyaka ng’ena yeerippye ku kugulu kwa pulezidenti nga bw’ayogerera waggulu nti ‘nkutegedde ggwe Muceveni”. Bino yabyogedde nga bw’atunuulira ne nnyina era Pulezidenti yamukutte ku mukono n’alagira atuuzibwe mu ntebe ye.
Ng’atuula mu ntebe ya Museveni.
Wakati mu nduulu okuva mu bantu abaabadde ku mukolo, Museveni yatumizza eccupa ya sooda n’agiwa omwana ekyayongedde okumusanyusa ennyo oluvannyuma n’atumya ebbaasa n’agikakwanga.
Pulezidenti Museveni ng'amukwasa ebbaasa ne sooda
Amangu ago omwana yayiyeeyo emimiro nga giigyo n’atambula ng’adda ewa nnyina.
Bino byabadde mu kabuga k’e Muhanga, Pulezidenti Museveni gye yatandikidde okulambula kwe ekitundu ky’e Kigezi ng’agenda ayogera eri abatuuze n’okumanya ebizibu byabwe n’okubannyonnyola enteekateeka za Gavumenti ku bintu eby’enjawulo.
Ng’adda ewa nnyina n’ebbaasa emabega.
Museveni yalabudde nti tajja kukkiriza bannabyabufuzi beetegese kutabangula ggwanga nga banoonya obukulembeze.
Wano ng’ali ne nnyina.
Yagambye nti awulira waliwo abantu abamu abawoza ‘agende’ naye bateekeddwa okukimanya nti wadde ebyo babyogera naye tebateekeddwa kutabangula mirembe.
Ono yasanyuse nnyo okulaba ku Museveni n’azina nga bw’abuuka mu bbanga.
Oluvannyuma yatongozza amazzi g’emidumu mu kitundu.
''Nkutegedde ggwe ‘Mucevenii’