TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namanda gwe baayiira asidi olukutuse abasuubuzi ne balumba bba naye bamutte

Namanda gwe baayiira asidi olukutuse abasuubuzi ne balumba bba naye bamutte

Added 25th February 2015

OMUSUUBUZI Justine Namanda eyafudde asidi, yasoose kuyita balooya be n’abalagira okukola ekiwandiiko ekirung’amya engaba y’ebintu bye. Baabadde baakasiibula n’akutuka

Bya MEDDIE MUSISI, DEBORAH NANFUKA NE ROGERS KIBIRIGE

OMUSUUBUZI Justine Namanda eyafudde asidi, yasoose kuyita balooya be n’abalagira okukola ekiwandiiko ekirung’amya engaba y’ebintu bye. Baabadde baakasiibula n’akutuka!

Embeera ya Namanda yatabuse mu kiro ekyakeesezza Mmande n’atandika okuvaamu omusaayi, nga buli lw’akolola, musaayi gwe gujja.

Yategedde nti embeera egaanye kwe kulagira abamujjanjaba ne bamuyitira balooya be aba Luzige and Company Advocates be yawadde ebiragiro ebisembayo ku ‘mmaali’ ye gy’alese ku Container Village w’abadde asuubulira engatto n’amayumba ge okuli ey’e Namavundu – Gayaaza n’emidaala gy’engatto ebiri mu Owino n’emmotoka ey’ekika kya Starlet.

Namanda olwakutuse, abasuubuzi okuva mu katale ka St. Balikuddembe (Owino) ne Container Village gy’abadde akolera ne bazinda Mulago okusikayo bba Kassim Kakaire naye bamutte.

Poliisi y’e Mulago erwanye bwezizingirire okutangira abasuubuzi bano abaabadde abakambwe era ebalabuukiridde mangu n’emuteeka mu Ambulance n’emuddusa okuva mu ddwaliro lino, yogaayoga Luzira.

Henry Serwadda, bba wa Namanda eyasooka n’abaana bamulekwa; Carol Nassiwa ne Job Serwadda.

Abasuubuzi bakiteeka ku Kakaire nti y’eyakola olukwe okwokya mukaziwe asidi asobole okweddiza emmaali y’omukyala yonna.

Abaakwatibwa ku by’okwokya Namanda asidi, balumiriza Kakaire nti y’eyabapangisa kyokka omusango guli mu maaso g’Omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa alindiriddwa okuwa ensala ye, kuba Kakaire emisango agyegaana.

Abaayokya Namanda asidi, ne Kakaire baamutwaliramu kubanga baali mu mmotoka emu nga bava e Nyenga mu kyalo gye baali batutte omwana waabwe omuwere bamulage bazadde ba Kakaire.

Abatemu baabalondoola batuuse ku Northern Bypass nga badda mu maka gaabwe ge babadde baakamaliriza e Namavundu – Gayaza era abatemu baali ku bodaboda.

Muganda wa Namanda (ku ddyo) ng’alwana ne kojja wa Kassim Kakaire agambibwa okuyiira Namanda asidi. Namanda (mu kifaananyi ekinene) yafiiridde Mulago ku Mmande.

BBA WA NAMANDA EYASOOKA AWANDA MULIRO

Eyali bba wa Namanda naye olufunye amawulire g’okufa kwa maama w’abaana n’atabuka.

Henry Sserwadda omutuuze w’e Kasubi-Nabulagala y’omu ku baalumbye eddwaaliro e Mulago nga bw’awera nti; “Olumbe olumusse nnaffe tulina okuluggyawo. Nze omukazi bwe yankyawa nga ssaamutemula!”

Poliisi yamulemesezza okutuuka ku Kakaire gwe yabadde ayagala okugajambula. Yagambye nti Namanda yali yaggulawo akawunti gye yassa mu mannya ga muwalawe omukulu, kyokka ku lunaku olwakulembera lwe bamuyiira asidi, yagenda ku ssomero n’akimayo muwalawe basobole okuggyayo obukadde 20 obwali ku akawunti eyo.

Sserwadda ateebereza nti Kakaire ye yali amatizizza Namanda okuggyayo ssente ezo era zeezimu ku zaamuviirako obuzibu.

Namanda gwe baayiira asidi olukutuse abasuubuzi ne balumba bba naye bamutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...