TOP

Akawanga ka AK47 kaasangiddwa kaatise - musawo

Added 18th March 2015

OMUSAWO eyakebedde omulambo gw’omuyimbi AK 47, muto wa Jose Chameleone azudde nga yakubiddwa ekintu n’agwa wansi n’ayatika akawanga, omusaayi ne gwegatta mu bwongo.

Bya JOSEPH MUTEBI, JOSEPHAT  SSEGUYA , ERIA LUYIMBAZI  MOSES NSUBUGA  NE VALLEY MUGWANYA

OMUSAWO eyakebedde omulambo gw’omuyimbi AK 47, muto wa Jose Chameleone azudde nga yakubiddwa ekintu n’agwa wansi n’ayatika akawanga, omusaayi ne gwegatta mu bwongo.

Dr. Moses Byaruhanga, akulira abasawo ba poliisi yafulumizza lipoota n’agamba nti ekyasse AK47, musaayi kwetabika mu bwongo.

Kyokka kwe kyavudde kiyinzika okuba nga yakubiddwa n’ekintu ekyamwasizza omutwe oba ng’ekyamukubye kyabadde ky’amaanyi nnyo n’agwa n’amaanyi ku ttaka mu kinaabiro n’alyoka ayatika omutwe olw’ekigwo.

Ekirala ayinza okuba nga yasindikiddwa n’amaanyi n’agwa wansi we yayatikidde omutwe. Oba ng’aliko bye yabadde anywedde okugeza omwenge n’aba nga bwe yagudde omusaayi gwabadde gutambula ku sipiidi ne gwanguwa okwetabika mu bwongo.

AK47 yafudde ku Mmande ekiro mu kiyigo ky’ebbaala ya Dejavu e Kansanga. Omukozi eyalabye ebyabaddewo alumiriza nti AK47 bwe yayingidde mu kiyigo yagobereddwa omuvubuka ow’ekiwago (kanyama), ekyaddiridde kuwulira ekibwatuka ng’omuntu agudde. 

Olwo Kanyama n’afubutuka mu kinaabiro n’afuluma n’agenda. Kigambibwa nti Kanyama ono ye yakubye AK47 (Laba ku P6 ne 7 ng’anyumya ebyabaddewo).               

Kyokka  Prossy Kayanja, maama wa AK47 yagambye nti okusinziira ku Dr. Byaruhanga bye yababuulidde talina kyayinza kuwakanya kubanga omuntu buli wamu afiirawo.

“Abaana baffe, oluusi balina bye banywa. Sirina kyempakanya. Sirina kye nkyazza afudde. Ekituufu Katonda y’akimanyi”, bwe yagambye.

Bino baabyogeredde ku ggwanika e Mulago nga bakwasibwa omulambo ogwassiddwa mu mmotoka ya kkampuni  ya A – Plus ekola ku bafu ne bagutwala mu ddwaaliro e Namirembe okwongera okugukolako gye baaguggye okugutwala ku National Theatre gye gwasuze.

OKUZIIKA

Omulambo gwa AK47 guggyiddwa ku National Theatre leero ku Lwokusatu ku makya ne gutwalibwe ku Klezia ya Lweza Parish gye gunaggyibwa okutwalibwa mu maka ga kitaawe e Katale-Seguku gye gunaasiiba n’okusula. Enkya ku Lwokuna gutwalibwe e Kasato- Kalangalo mu Ssingo gy’anaaziikibwa.

Poliisi ekutte Maneja wa Dejavu, Steven Kisenyi abeeko by’annyonnyola. Ebbaala ya eno ya Jeff ne Paul Lusiba. Jeff y’akulira abayimbi ba Team  No Sleep omuli Sheeba Karungi, Pallaso, AK47, Diamond Oscar.                                                    

Poliisi eyabadde eduumirwa RPC wa Kampala East Siraje Bakaleke ne bambega bwe baavudde mu kifo awaafiiridde AK47 yagguddewo fayiro No/ SD /101/16/03/2015. Ebbaala yaggaddwa ate maneja n’atwalibwa ku poliisi y’e Kabalagala.

EBIRALA.................

.................................................................................................................................................................

‘AK47 yafudde njala nga n’oluyimba lwe tebalukubye mu bbaala’

Lwaki Emmanuel Hummertone Mayanja abadde yeetuuma AK47

Ebibuuzo 4 ebikyebuuzibwa ku nfa ya AK47

AK47 afudde alokose

Omuyimbi AK47 baasoose kumukuba nga tannafa - Poliisi

..................................................................................................................................................................

BAGANDA BA AK47 BYE BAGAMBA:

Jose Chameleone;

Okufa kwa muto wange kwansanze ku bbaala ya Cyclone e Kabalagala nga nina ddiiru ne maneja waayo. Mu kusooka nnabadde ndowooza bigambo bya ba Team No Sleep. 

Oluvannyuma, Fred Kinene, maneja wange yang’ambye nti, ‘Chamilli omanyi tugende e Nsambya mu ddwaaliro tumanye ekituufu kubanga Mickie Wine yabadde amaze okunkubira essimu. Nnavuze emmotoka okutuuka e Nsambya. Baasoose kunziyiza kuyingira wabula nnabasalidde amagezi ne mbagamba nti, ‘nze muzeeyi antumye mmanye ekituufu. Olwayingidde munda, amaaso gaatuukidde ku magulu ne ndaba nga ga muto wange kwe kusaba omusawo ntunuleko mu ffeesi ndabe oba ye Emma. Olwamutunuddeko nga ye Emma...Mukama amuwummuze mirembe.

Pius Mayanja (Pallaso);

Ndowooza nze nnasembye okwogera ne muto wange kubanga AK yankubidde essimu emisana n’angamba nti alina ky’ayagala okungamba. Nnamusanze mu bbaala ya Dejavu e Kansanga ku ssaawa 5:00 ez’ekiro naye nga si musanyufu ng’ali mu birowoozo bingi.

Nnamubuuzizza, “kiki blood wange, oli ok?” Era yangambye nti mwana bamakanika bancankalanyizza nga bansaba ssente okujampinga emmotoka. Twanyumizza bingi ku mmotoka kwe kumubuuza kye yabadde ayagala okung’amba n’anziramu nti, ‘nja kukugamba nga nkomyewo...’ Ekinneewuunyisa nti AK yafudde omumwa guzimbye ng’ate yasangiddwa nga yeebase bugazi.

Douglas Mayanja(Weasel);

Nze ebigambo ebyange bitono nnyo ku muto wange. Nsuubira waliwo ekyatuuse ku AK naye nga njagala amazima gaveeyo wadde nga tetukyasobola kumuzza.

Gerald Mayanja (Taata wa AK)

Nze nnawunze ne ng’aana okukkiriza okutuusa Chameleone bwe yazze n’ankakasa nti muto we afudde ng’alina n’ebifaananyi ku ssimu ye. AK afudde mwana muto nnyo. Sijja kuwakanya bivudde mu kukeberebwa mu ddwaaliro naye nga nnina ebibuuzo.

Akawanga ka AK47 kaasangiddwa kaatise - musawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...