TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mzee Mayanja atandikiddewo okumaliriza ennyumba ya AK47

Mzee Mayanja atandikiddewo okumaliriza ennyumba ya AK47

Added 23rd March 2015

ENNYUMBA AK 47 gye yalese azimba, batandise okugimaliriza. Kaweefube akulembeddwaamu kitaabwe, Gerald Mayanja ng’atandikira ku nsimbi obukadde 10 Pulezidenti Museveni ze yawaddeyo okukola omulimu guno.

ENNYUMBA AK 47 gye yalese azimba, batandise okugimaliriza. Kaweefube akulembeddwaamu kitaabwe, Gerald Mayanja ng’atandikira ku nsimbi obukadde 10 Pulezidenti Museveni ze yawaddeyo okukola omulimu guno.

Twatuuseewo akawungeezi k’Olwomukaaga e Sseguku-Katale ng’omulimu gw’okugikuba pulasita munda n’ebweru gutandise.

Ennyumba eno ey’ebisenge ebisatu omuli ebinaabiro bibiri, ekiyungu ne sitoowa; Muzeeyi Mayanja yalangiridde nti ya Nnamwandu Nnaalongo Maggie Kiweesi.

Muzeeyi Mayanja yabadde ne mukulu munne, Paul Kiwesi kitaawe wa Nnaalongo Maggie era obwedda bawang’ana amagezi ku ngeri ennyumba gy’eyinza okuyooyootebwamu.

Yazimbibwa kumpi n’amaka ga Muzeeyi Mayanja. Abayimbi abawerako beeyamye okuyambako okumaliriza ennyumba ne baliraanwa ba Mayanja ne bamudduukirira okuli eyeeyise Amooti eyatutteyo ensawo za sseminti 10.

Mu ngeri y’emu, akulira ekitongole kya Uganda Martyrs Tours and Pilgrimage Services, ekivunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu Klezia, Florence Nakiwala Kiyingi ategeezezza nti Pulezidenti Museveni yayongedde okukubagiza bazadde ba AK 47, okuli Mw. Mayanja ne Prossy Mayanja bwe yasazeewo okubasasulira bagende balamage e Roma ne Vatican.

Nakiwala yategeezezza nti abalamazi bagenda May 11 bakomewo nga May 19 omwaka guno nga bakulembeddwa Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga ow’essaza ekkulu ery’e Kampala.

EBIRALA.................

.................................................................................................................................................................

Ab'e Busaato- Kalangaalo bakyevuma bayaaye abeetabye mu kuziika AK47

Abantu balondodde Chameleon ne bamulesa okuziika mutoowe AK47

Effujjo lisusse mu kuziika omuyimbi AK47

Luuluno oluyimba 'Ndi Mulokole' AK47 lwe yalese afulumizza

We baaziise AK47 wali mu mbeera mbi!!

AK47 aziikiddwa: Kitaawe alaajanidde Gavt.'Muntaase enjaga emmalirawo abaana'

Abooluganda boogedde ku mugenzi AK47

Bad Black akungubaze AK47

 Omuvubuka eyabaddewo nga AK47 attibwa abuze

Basabidde omwoyo gw’omugenzi AK47 mu Klezia ya St. Joseph e Lweza

Ebyabadde mu kusabira omugenzi AK47 ku Klezia e Lweza

‘AK47 yafudde njala nga n’oluyimba lwe tebalukubye mu bbaala’ 

Lwaki Emmanuel Hummertone Mayanja abadde yeetuuma AK47 

Ebibuuzo 4 ebikyebuuzibwa ku nfa ya AK47

AK47 afudde alokose

Omuyimbi AK47 baasoose kumukuba nga tannafa - Poliisi

..................................................................................................................................................................

Mzee Mayanja atandikiddewo okumaliriza ennyumba ya AK47

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...