
Oluvannyuma lw’abakabiina ka ‘Illuminati’ okwewaana okubeera emabega w’okufa kw’omuyimbi AK47 twogedde n’abamu ku basereebu (omuli n’abayimbi) ne batuwa endowooza zaabwe ku kibiina kino.
Abamu bakkiriza nti kituufu gye kiri ate abalala babiyise bya bulimba.
Roger Mugisha
Wadde sikkiriza nti be bali emabega w’okufa kwa AK47, enzikiriza ya ‘Illuminati’ kituufu gy’eri era erimu ebika eby’enjawulo okugeza abafuusa, ab’ebibiina nga bw’olaba ‘lotale’ n’ebirala wabula okufaananako abasawo b’ekinnansi bwe balimu abatuufu n’abafere ne mu nzikiriza eno mulimu abafere bangi abagyerimbiseemu okubba abalala era beebo be muwuulira nga beesoma n’okwewana nti bammemba, abatuufu tebeesoma.
Ng’omuntu eyaliko mu nzikiriza eno (yagivaamu mu 2003) okugyegattako bakuwa obukwakkulizo obukakali omuli n’okukikuuma nga kyama ((secret society) ate si kyangu kubivaamu y’ensonga lwaki nze nnaddukira mu kkanisa. Ne mu Uganda mulimu bammemba naye kizibu okubamanya.
Mun G. (Emmanuel Matovu)
Ebya ‘Illuminati’ mbiwulira naddala mu nsi z’Abazungu naye sibikkiririzaamu era ndowooza tebiriiyo. Ekyo kibooziboozi kya bantu kye bateeka ku bantu abalina obuwanguzi obwenjawulo bwe batuuseeko era wano mu Afrika abasinga batera kuliyita ddogo, abalala nti kugenda mu nnyanja.
Ndi musajja Mukatoliki akkiririza mu Katonda n’okukola ennyo ne mu ‘Karma’ ekitegezza nti akola ebirungi afuna birungi ate akola ebibi afuna bibi.
Vampino (Elvis Kirya)
Hahaha….! Ebyo ebya ‘Illuminati’ kuzannyira bantu ku bwongo naye si bituufu. Ng’omuntu sisobola kukkiririza mw’ebyo. Mbiwulira mu Amerika eri abagagga ababikkiririzaamu n’okubigoberera era bano beeyambisa ssente ennyingi ze balina okusendasenda abantu okubeegattako naye ebyo temuli!
Navio
‘Illuminati’ tebiriiyo, kiringa bw’owuulira abantu aboogera ku ddogo. Bw’okola ennyo n’obaako obuwanguzi bw’otuuseeko nga baliyita ddogo ne beerabira nti maanyi go na Mukama Katonda bye bikusobozesezza okutuuka awo.
Kati nze mmaze ebbanga nga ndi waggulu era waliwo abagezezzaako okunnwanyisa bansuule naye balemeddwa era omuntu kino ayinza okukiyita kyonna ky’ayagala oba bw’alowooza.
EBIRALA.................
.................................................................................................................................................................
Chameleon ayatuukiriza amannya g'akabinja k'abayimbi abakka mu nnyanja
Akabinja akatwala abayimbi mu nnyanja keewaanye okutta AK47
Mzee Mayanja atandikiddewo okumaliriza ennyumba ya AK47
Ab'e Busaato- Kalangaalo bakyevuma bayaaye abeetabye mu kuziika AK47
Abantu balondodde Chameleon ne bamulesa okuziika mutoowe AK47
Effujjo lisusse mu kuziika omuyimbi AK47
Luuluno oluyimba 'Ndi Mulokole' AK47 lwe yalese afulumizza
We baaziise AK47 wali mu mbeera mbi!!
AK47 aziikiddwa: Kitaawe alaajanidde Gavt.'Muntaase enjaga emmalirawo abaana'
Abooluganda boogedde ku mugenzi AK47
Omuvubuka eyabaddewo nga AK47 attibwa abuze
Basabidde omwoyo gw’omugenzi AK47 mu Klezia ya St. Joseph e Lweza
Ebyabadde mu kusabira omugenzi AK47 ku Klezia e Lweza
‘AK47 yafudde njala nga n’oluyimba lwe tebalukubye mu bbaala’
Lwaki Emmanuel Hummertone Mayanja abadde yeetuuma AK47
Ebibuuzo 4 ebikyebuuzibwa ku nfa ya AK47
Omuyimbi AK47 baasoose kumukuba nga tannafa - Poliisi
..................................................................................................................................................................
Basereebu bawadde obujulizi ku kabiina ka ‘Illuminati'': ‘Gye bali era bali mu ffe’