TOP

Bassenga bawadde Nantume eby'omu kisenge

Added 10th April 2015

BASSENGA ba Bukedde babuuliridde Maureen Nantume ne bamukwasa n’akasawo akalimu kalonda yenna gwe yeetaaga mu kisenge okusanyusa bba.

 Bya STEVEN MUSOKE

BASSENGA ba Bukedde babuuliridde Maureen Nantume ne bamukwasa n’akasawo akalimu kalonda yenna gwe yeetaaga mu kisenge okusanyusa bba.

Bino bibadde mu lukiiko lwe oluteekateeka okwanjula kwe olwasembyeyo mu Hotel Africana ku Lwokusatu nga April 8,2015. Okwajula kwa wiiki ejja nga April 16, 2015 e Bukanagga, Mityana mu Singo mu maka ga bakadde be, Omwami n’Omukyala Dennis Ssekiziyivu.

Ssentebe w’olukiiko luno, Mw. Isa Musoke, bwe yabadde amaliriza n’asaba Bassenga ba Bukedde Halima Namakula ne Annet Nandujja abaweereza pulogulaamu Akasale ku Bukedde Tv ku Ssande ekiro okubuulirira Nantume.

“Nantume oli mwana Muganda ensonga za balo ezisinga ozimaliranga mu kisenge. Era nkukwasa akasawo kano mwe muli kalonda yenna gwe weetaaga ku nsonga eno,” Namakula bwe yamufalaasidde.

Halimah Namakula ne Annet Nandujja mga babuulirira Nantume

Nantume yayitiddwa n’atuuzibwa mu maaso g’abaabadde mu lukiiko ku katebe olwo abakulu bano ne batuula nga bamwebunguludde era nga wano we baakoledde emikolo. Kyokka obubaka obusinga bwabadde mu luyimba Halima lwe yayimbwe.

Mu lukiiko luno abawagizi ba Nantume baasonze ssente ezisoba mu bukadde 10. Stecia Mayanja Mubiru eyaakamala embaga yawaddeyo akakadde kamu mu kaasi, Julie Angume emitwalo kkumi mu kaasi n’abalala.

Wiiki ewedde Nantume yatutte bba Ronnie Muganzi mu bassenga be e Mityana.

Omu ku badayirekita ba Golden Production, Maureen mw’ayimbira, Measach Ssemakula yeebazizza abantu olw’obuwagizi bwe babalaze.

Haruna Mubiru ng’azina ne Nantume mu lukiiko. Ku ddyo ye mukyala Ssemakula, Sarah Nakaayi.

Stecia yasesezza abantu bwe yakutte akazindaalo ne yeegayirira Maureen okugumira ku musajja ono nga naye bw’agenda okukola ku Abas Mubiru basobole okuswaza ababadde baboogerera amafuukule nti tebasobola bufumbo. Julie Angume ye yaggaddewo olukiiko n’oluyimba olupya olw’engoma enganda lwe yamuyiiyirizza.

Olukiiko kaabuzeeko katono okufuuka ekivvulu abayimbi okuli Angela Kalule, Evelyn Laggu, Stecia Mayanja, Haruna Mubiru Kitooke, Fifi Da Queen n’abalala bwe baakutte obuzindaalo ne bayimba.

Bassenga bawadde Nantume eby’omu kisenge

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...