
Bya MOSES NSUBUGA
Abayimbi ba Fire Base Crew ekya Bobi Wine basiiwuuse empisa ne bakuba omuwala eyabalumirizza okubba essimu ye.
Olutalo luno lwatandikidde mu bbaala ya Amnesia ku Lwokuna ekiro.Abayimbi ba Fire Base okwabadde Dr. Mo ng’ono ali mu kiwayi kya Sulubada High School( kino kikulemberwa muto wa Bobi Wine Mickie Wine) era nga kiri wansi wa Fire Base ne munne Kidima owa Team no Sleep n’abalala abaabadde bazze okulya obulamu mu kiro ekyatuumibwa Campus Night.
Omuwala ono yabadde omu ku bazze okulya obulamu era essimu ye bwe yabuze n’akalira mu bavubuka bano ng’abalumiriza okugibba.
Kino kyabaggye mu mbeera ne batandika okumuyisaamu empi, ekyawalirizza abakulira ebbaala eno okubafulumya.
Bwe baafulumye olutalo lwagenze mu maaso nga Dr. Mo owa Fire Base akuba omuwala nga bw’amulangira okubaswazaswaza, naye nga n’omuwala tagenda.
Omuwala ono eyategeerekese nga Monica Kaitesi muyizi mu ttendekero lya YMCA.
Mu kiro kye kimu mu Amnesia omuyimbi Van Data mwe yatongolezza vidiyo y’oluyimba lwe olupya olwa ‘China.’
Oluvannyuma lw’olutalo okukkakkana, Dr. Mo bwe yabuuziddwa ku by’okubba essimu y’omuwala yazzeemu kimu nti; “Oyo muganzi waffe era ezo nsonga za maka....”
Bino we bibeereddewo ng’abayimbi ab’enjawulo bazze balwanira mu bbaala nga n’eyaakasembayo ye Jose Chameleone eyalwanye n’omusajja Vincent Luyinda mu bbaala ya Venom e Kabalagala, era ensonga ziri ku poliisi.
ABAYIMBI ABALALA ABAZZE BALWANA:
1 Mu January 2015, abawala Tracy ne Margie abayimbira mu bbandi ya Mathias Walukagga baalwanira ku Mamerito Hotel e Bweyogere. Mu kusooka abantu baali balowooza balwanira Walukagga kyokka mu bulumi, Margie yategeezezza nti Tracy okumukuba yabadde nsaalwa olwa mukama waabwe Walukagga, okumusuula n’alonda ye (Margie) y’aba amuyambako ng’ayimbira emabega wa siteegi (backing), omulimu bulijjo Tracy gw’akola.
2 Mu June wa 2014, Jeff Kiwanuka akulira Team No Sleep ne muganda we Allan Kiwanuka baweerebwa okumala ebbanga lya myezi esatu nga tebalinnya mu bbaala ya Silk oluvannyuma lw’okulwaniramu n’omuvubuka gwe baali bateebereza okuba ow’amawulire
3 Mu May wa 2014, ku bbaala ya Casablanca e Kololo waabalukawo olutalo wakati w’abavubuka ba Goodlyfe (Moze Radio ne Weasel) n’aba Team no sleep abakulirwa Jeff Kiwanuka ne bakubagana bubi nnyo era abamu baatuuka okuvaayo nga batiiriika musaayi.
4 Mu May 2011, omuyimbi Rabadaba yatabuka n’omugenzi Thadius Bayego eyali owa Good Lyfe ku bbaala ya Deposh e Kabalagala wakati mu lutalo olwaliwo, Bayego yafumitibwa ekiso ekigambibwa okumuviirako okufa. Rabadaba yayimirizibwa okugenda mu bbaala eno.
5 Jose Chameleone n’aba Goodlyfe baalwanira ku Club Silk mu 2010.
Okulwana kwatandikira munda era bano baacankalanya ebbaala yonna.
Abayimbi ba Bobi Wine bakubye omuwala mu bbaala