TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekivvulu kya Chameleon kimugasse ne baganda be bwe baludde nga tebalima kambugu

Ekivvulu kya Chameleon kimugasse ne baganda be bwe baludde nga tebalima kambugu

Added 3rd May 2015

Ekivvulu ky’omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Dr. Jose Chameleone ng’atongoza oluyimba lwa ‘Wale Wale’ kimugasse ne baganda be, bwe baludde nga tebalima kambugu.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE KIZITO MUSOKE 

Ekivvulu ky’omuyimbi  Joseph Mayanja amanyiddwa nga Dr.  Jose Chameleone  ng’atongoza oluyimba lwa ‘Wale Wale’ kimugasse ne baganda be,  bwe baludde nga tebalima kambugu.

Ekivvulu kino kyabadde ku Kyadondo Rugby Grounds,  mu kiro ky’Olwokutaano era ng’abadigize baakijjumbidde.  We zaaweredde essaawa 3.30 ez’ekiro nga kikubyeko.  Wadde Chameleone abadde akola ebivvulu kyokka obutafaanana nga bulijjo, ku luno baganda be, abaamwekutulako baamwegasseeko, ng’ajaguza okuweza emyaka 15 mu kisaawe ky’okuyimba.

Pius Mayanja (Pallaso) ye yasoose okutuuka ku siteegi abantu ne bamwaniriza n’emizira. Ng’alinga ayagala okujjukiza abantu, yayogedde ku mukuluwe nga bw’ali omuyimbi asinga mu mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika. Oluvannyuma Weasel (Douglas Seguya) naye yatuuse  naye n’ayimba. 

EKIVVULU KYATANDISE KIMPOOWOOZE

 Ekivvulu kyatandise ssaawa 1.00 ey’akawungeezi mu butongole,  naye we zaaweredde essaawa 2.00 ng’abantu bakyali batono ekyatiisizza abamu ku bawagizi obwedda abawulirwa nga bagamba nti, “owange abantu nga tebawera, mutabani tabeera nga yabatutte bonna!” Baabadde  boogera ku King Saha eyatongozza ku lunaku lwe lumu. Kyokka oluvannyuma abantu baayiise era ku ssaawa 3.30 nga kikubyeko.

Kyokka n’ekivvulu kyennyini kyaluddewo okucamuka, ng’abayimbi  ab’amannya tebalabika ku siteegi, okutuusa Nince Henry bwe yalinnye ku siteegi ku ssaawa 2:50, olwo ne kifunamu ku bulamu. Oluvannyuma abayimbi okuli; Big Eye, King Michael, Ragga Dee,  Ziza Bafana, Bobi Wine ne Pr. Wilson Bugembe baasanyusizza abantu era abadigize ne batandika okuzina.

BAAKAABIDDE AK 47

Baataddemu vidiyo y’oluyimba lwa  AK47 “Tugende Tukikolemu”, abawagizi ne basiriikirira, era abamu nga Judith Heard ne Daniella (muka Chameleone) baalabiddwa nga bakulukusa amaziga.

Pasita Wilson Bugembe bwe yalinnye ku siteegi, yategeezezza nga Chameleone bwe yamusabye obutava ku siteegi nga tasabidde bayimbi ba Uganda abasusse okufa, ekintu naye kye yakoze. 

 “Okuva olwaleero kinajjukirwa nti abantu ba Katonda baamusaba, era okufa ne kukoma mu basereebu, abayimbi, bassita, bannabyabufuzi ne bannaddiini. Teri kuddamu kufa,” Bugembe bwe yasabye.

 

Ebifaananyi byonna bya Josephat Sseguya

Posted by Bukedde on Saturday, May 2, 2015

Ekivvulu kya Chameleon kimugasse ne baganda be bwe baludde nga tebalima kambugu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...