TOP

Omukuumi akwatiddwa ku by'okutta Faaza

Added 4th May 2015

POLIISI ekutte omuntu owookusatu ku by’okufa kwa Faaza Kisomose n’ekunya n’abawala ababiri abaasoose okukwatibwa ne boogera bye bamanyi.

Bya SHAMIM NABUNYA NE FAHAMI WASSWA

POLIISI ekutte omuntu owookusatu ku by’okufa kwa Faaza Kisomose n’ekunya n’abawala ababiri abaasoose okukwatibwa ne boogera bye bamanyi.

Lilian Mbabazi 26, ne Vicky Nakato abakolera ku bbaala ya Big Ways e Zzana be baasoose okukwatibwa n’ebbaala n’eggalwa oluvannyuma lw’okukizuula nti ensawo essatu Rev. Fr. Faustinus Kisomose ze yavudde nazo ku kigo e Lweza, ziri mu bbaala eyo.

Nakato ne Mbabazi baategeezezza nti Faaza abadde abatwala nga bawala be era yazze ekiro ky’Olwokuna n’abasaba okubalekera ensawo zino omwabadde ebikozesebwa mu Klezia nga ‘Ostia’ n’Evviini, amasimu wamu ne kompyuta y’omu ngalo (Laptop).

Baategeezezza nti yabagambye nti babitereke bulungi kubanga ayinza obutakomawo. Bwe baamubuuzizza gy’alaga n’abategeeza nga bwe waliwo omuntu aludde ng’amwezinzeeko ng’amutiisatiisa okumutuusaako obulabe, kwe kumalirira amusisinkane ekiro ekyo.

OMUKUUMI W’EDDWAALIRO AKWATIDDWA

Omuntu owookusatu eyakwatiddwa ku by’okufa kwa Faaza Kisomose ye mukuumi ku ddwaaliro lya Mirembe Medical Centre e Najjanankumbi. 

Omulambo gwa Faaza Kisomose gwasangiddwa okuliraana eddwaaliro era poliisi yategeezezza nti obubonero mu kifo kino bwalaze nti omulambo gwaleeteddwaawo mmotoka kubanga waasangiddwa emipiira gy’emmotoka eyakyukiddewo.  

Jennifer  Namukasa eyabadde ajjanjabirwa mu  ddwaaliro lino eririraanye Nyondo Pub, yagambye nti yabadde afulumyeko wabweru ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya g’Olwokutaano n’alaba omulambo gwa Faaza.

Yayise omukuumi w’oku kalwaliro Gerald Mutakira eyeetegerezza omulambo era n’ayita omusawo ku kalwaliro kano Dr. Marvin Wamala eyakakasizza nti omuntu yabadde yafudde dda era ne bakubira poliisi y’e Katwe n’ejjirawo amangu ago n’eggyawo omulambo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti baakutte omukuumi w’eddwaaliro okuyambako mu kunoonyereza.

Onyango yagambye nti Nakato ne Mbabazi baakoze ‘siteetimenti’ ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi era baalagiddwa okusigala nga beeyanjula ku poliisi e Katwe.

FAAZA Y’ASOOSE OKUZIIKIBWA KU KIGO E LWEZA

Fr. Kisomose yaziikiddwa ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo lw’Olwomukaaga ku kigo e Lweza gy’abadde akola ng’omumyuka wa Bwanamukulu. Ye munnaddiini asoose okuziikibwa mu kigo kino era mu kumuziika Basaserodooti banne be baatuuse ku ntaana.

Abadde yaakakolera e Lweza omwaka gumu nga yasooka Ggombe, n’adda e Bbiina, Naggulu, Ndeeba era n’aweerezebwa Eldoret mu Kenya okwongera okusoma okubudaabuda n’okubuulirira abantu. Olwava e Kenya n’asindikibwa e Lweza mu April 2014.

Kalidinaali Emmanuel Wamala yakulembedemu ekitambiro ky’emmisa ey’okusabira omwoyo gw’omugenzi ng’ayambibwaako Vicar General ow’essaza lya Kampala Msgr. Charles Kasibante.

Kalidinaali yakuutidde abantu obutatya kufa wabula bafube okukwetegekera nga bakyali balamu era bakwagale kubanga ly’ekkubo eribatuusa mu ggulu.

Bwanamukulu w’e Lweza, Fr. Vianney Mugabo yagambye nti Fr. Kisomose abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa Puleesa ne ssukaali ate olumu ng’anywa ku mwenge, wabula tebannamanya ngeri ntuufu gye yafuddemu era baagala poliisi eyambeko okuzuula ekituufu.

Omulambo gwa Fr. Kisomose gwasangiddwa gwevuunise ng’ali mu byambalo by’Ekisaserodooti era ng’akubye bulungi ekikalu. Tegwabaddeko kiwundu, era kiteeberezebwa nti bw’aba yattiddwa buttibwa, baatuze mutuge.

Omukuumi akwatiddwa ku by’okutta Faaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?