TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera y'ebisulo bya yunivasite e Makerere yennyamiza; byavunda dda!

Embeera y'ebisulo bya yunivasite e Makerere yennyamiza; byavunda dda!

Added 9th June 2015

EMBEERA y’ebisulo ebimu ebya Yunivasite y’e Makerere yennyamiza era tebikyasulikamu kuba bitonnya ate ne kaabuyonjo ziri mu mbeera mbi.

Bya GEORGE BUKENYA

EMBEERA y’ebisulo ebimu ebya Yunivasite y’e Makerere yennyamiza era tebikyasulikamu kuba bitonnya ate ne kaabuyonjo ziri mu mbeera mbi.

Ekisulo ekya Lumumba ekisinga obunene era ekyasuzanga abayizi abangi kati kye kisembayo okusuza abayizi abatono bw’ogeraageranya n’ebisulo by’abalenzi ebirala.

Ekimu ku bizimbe by’ekisulo kya CCE byakubwako amabaati waggulu okukitangira okutonnya.

Akulira okulabirira abayizi mu Yunivasite eno, Cyriaco Kabagambe agamba nti bali mu nteekateeka y’okuddaabiriza ebisulo bino era baddaabirizaako ebimu nga basiiga langi n’okutereeza kaabuyonjo naye ssente ze bafuna ntono nga kino kye ky’okusoomooza kye balina.

Mu 2009 baatandika okuzimba olukomera nga baali baagala kulwetoolooza ettendekero lyonna naye baali baakatandika ekisenge ekyasooka ne kigwa.

Kaabuyonjo ezimu zaakuukamu enzigi

Kaabuyonjo nvundu ddala era zisaasanya ndwadde

Omwogezi w’ettendekero lino, Ritah Namisango agamba nti mu 2014 omumyuka wa cansala wa Yunivasite, Polof. Ddumba Sentamu ng’awerekeddwaako abakulembeze abalala baasisinkana pulezidenti ne bamunnyonnyola ebizibu bye basanga ng’ekimu ku byo kyali kya kuzimba lukomera n’abasuubiza okubawa ssente.

Gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yakyaddeko e Makerere n’ayogera eri abakulembeze b’abayizi n’alagira babawe obuwumbi butaano batandike okuzimba olukomera amangu ddala.

Ekisulo kya Lumumba kijjudde enkonge ku madirisa ate kitonnya. (laba waggulu ne wansi)

 

Embeera y’ebisulo bya yunivasite e Makerere yennyamiza; byavunda dda!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...