TOP

Gen Kayihura awadde Mbabazi obukwakkulizo

Added 25th June 2015

GEN. Kale Kayihura awandiikidde Amama Mbabazi ng’amugaana okukuba enkung’aana z’ategese okutalaaga eggwanga okutegeeza abantu nga bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2016.

Bya AHMED MUKIIBI

GEN. Kale Kayihura awandiikidde Amama Mbabazi ng’amugaana okukuba enkung’aana z’ategese okutalaaga eggwanga okutegeeza abantu nga bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2016.

Ekyo Kayihura akikoze kubanga ekibiina kya Mbabazi ekya NRM tekinnamuwa lukusa.

Mu kiseera kye kimu enkung’aana za Mbabazi zimenya mateeka era Poliisi tegenda kuzikkiriza.

Mu bbaluwa Kayihura gye yawandiise nga June 23, yawabudde Mbabazi asooke akkaanye n’aba NRM n’akakiiko k’Ebyokulonda olwo, Poliisi eryoke esalewo oba emukkiriza okukuba enkung’aana ze.

Kyokka Bannamateeka ba Mbabazi okuva mu kkampuni nnya okuli Muwema & Co Advoactes, Mugisha & Company Advocates, Akampulira & Patners ne Twinobusigye Severino & Co. Advocates bambalidde Kayihura nti by’akola tebiri mu mateeka.

Era bityoboola dimukulaase ne bagamba nti Mbabazi ali mu mateeka era ajja kukuba enkung’aana ze.
Kino kiddiridde Ssaabawandisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba okuwandiikira Kayihura ng’amutegeeza nti Mbabazi takkirizibwa mu mateeka ga NRM ne mu tteeka ly’okulonda Pulezidenti okukuba enkung’aana kubanga NRM tennamukakasa nga Kandideeti waayo.

“Amama Mbabazi okweteekawo ng’omuntu agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2016 tekinnayisibwa kibiina kya NRM n’olwekyo amenya mateeka,”

Lumumba bwe yategeezezza mu bbaluwa gye yawandiise nga June 20.
Ebbuluwa ya Lumumba yabadde eyanukula eya Kayihura gye yamuwandikira nga June 19, nga yeebuuza ku nteekateeka za Mbabazi okutalaaga eggwanga nga kandideeti wa NRM ku Bwassentebe bw’ekibiina ne ku Bwapulezidenti wa Uganda.

Mbabazi mu kiseera kino ali mu Amerika, gye yayitidde ng’ava e London mu Bungereza ye yasooka okuwandiikira akakiiko k’Ebyokulonda nga June 16, ng’akategeeza nti ateekateeka okwebuuza ku bantu mu disitulikiti 25 okuva nga July 9, ng’asookera Mbale amalire ewaabwe Kanungu.

Waliwo n’ebbaluwa endala Mbabazi gye yawandiikira Kayihura nga June 16, 2015 ng’awa Poliisi notisi nti ateekateeka okutalaaga eggwanga nga yeeyanjulira abantu era yamuwa ne pulogulaamu eraga ebitundu n’ennaku z’omwezi lw’agendayo.

Kayihura yajulizza etteeka erifuga enkung’aana erya Public Order Management Act, Mbabazi lye yalinamu omukono omunene nga liyisibwa mu palamenti mu 2013 ng’akyali Katikkiro wa Uganda.

Kayihura yagambye Mbabazi nti etteeka lya Public Order Management Act lirambika nti enkung’aana ng’ezo z’ateekateeka zirina kukkirizibwa Poliisi.

Ekiragiro kya Kayihura kikontanye n’ebbaluwa ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda Ying. Badru Kiggundu gye yasoose okuwandiikira Mbabazi nga June 18 nga bamukkiriza okukuba enkung’aana.

Kyokka nga bamussaako obukwakkulizo obuteeyambisa nkung’aana ezo okukuba kampeyini n’okugaba ebintu bya kampeyini kubanga ekiseera kyabyo tekinnatuuka.

Wabula waliwo ebbaluwa endala Ying. Kiggundu gye yawandikiidde Mbabazi nga June 22, ng’amulagira okusooka okukkaanya n’ekibina kye ekya NRM kubanga Ssaabawandisi waakyo Lumumba yabadde amwegaanyi nti by’agenda okweyanjula mu bantu NRM tebimanyi.

Bannamateeka ba Mbabazi, mu kiwandiiko ekyawamu kye baataddeko emikono baanokoddeyo obuwaayiro mu Konsitityusoni ya NRM, n’etteeka ly’okulonda kwa Pulezidenti ne bagamba nti Mbabazi mw’asinziira okukuba enkung’aana era talina tteeka ly’amenye.

Baalumbye Lumumba ne Kayihura nti Konsitityusoni ya NRM n’etteeka ly’okulonda kwa Pulezidenti balitaputa kifuula-nnenge era Mbabazi tajja kubawuliriza.

Baanokoddeyo akatundu 13 (3) mu Konsitityusoni ya NRM n’obutundu 3(1),(2) ne (3) mu tteeka ly’okulonda Pulezidenti nti bulambika bulungi nti omuntu ayagala okwesimbawo asobola okwebuuza ku bantu nga tanneewandiisa kufuuka kandideti wa kibiina mu kulonda.

Mbabazi eggulo yayogeredde ku Ttivi ya Voice of America (VOA) ku pulogulaamu ya Straight Talk Africa ekubirizibwa munnayuganda Shaka Ssali n’agamba nti NRM ekoze ebintu bingi mu myaka 30, kyokka ekiseera kituuse Museveni awummule.

N’agamba nti ye ne Museveni bakkaanya nti enkyukakyuka zonna mu Uganda zirina kubeera za mirembe kyokka ky’atakakasa kwe kuba nga Museveni mwetegefu okussaawo enkyukakyuka ezo ng’ayita mu kuwaayo obuyinza.

N’ategeeza nti yeeraba nga y’asaanidde okukulembera enkyukakyuka ezo mu dimokulaase, eddembe ly’obuntu n’enkulaakulana.

Mu mwoyo ogwo ky’ava asisinkana n’abooludda oluvuganya kubanga alowooza nti Uganda yaffe ffenna era tewali asaana kubeera mulabe wa munne. Kubanga enkyukakyuka zeetaaga buli Munnayuganda okuzeenyigiramu 

Gen Kayihura awadde Mbabazi obukwakkulizo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...