TOP

Engeri Sheikh Kirya gyeyattiddwa

Added 1st July 2015

ABATEMU abasse Sheikh Ibrahim Hassan Kirya baamulondodde kuva Nakifuma gyeyeetabye mu kuziika ow''oluganda lwe ne bamulinnya kagere okutuuka e Bweyogere ku ttaawo we baamukubidde amasasi agamuggye mu budde.

 

Bya Ahmed Mukiibi

ABATEMU abasse Sheikh Ibrahim Hassan Kirya baamulondodde kuva Nakifuma gyeyeetabye mu kuziika ow'oluganda lwe ne bamulinnya kagere okutuuka e Bweyogere ku ttaawo we baamukubidde amasasi agamuggye mu budde.

Olukwe olw'okutta Sheikh Kirya, abatemu bano bamaze emyezi mukaaga baluluka ga baalutandika mu December 2014 amangu ddala nga baakamala okutemula mukwano enfa nfe Sheikh Mustafa Bahiga eyatemulwa nga December 27, 2014 e Bwebajja ku lw'e Ntebe.

 

Okuziika Sheikh Kirya e Nkoowe mu Wakiso

Ebifaananyi bya Rogers Kibirige

Posted by Bukedde on Wednesday, July 1, 2015

Okuva e Nakifuma, baatukidde mu maka g'abazadde be (Kirya) mu Katuba zooni e Bweyogerere kubanga baabadde bakoze entegeka y'okulongoosa ennyumba ezaabadde zivuddemu abapangisa era awo we yavudde ye yeekonako e Kampala mu ofiisi ye. 

Zaabadde saawa nga 3:00 Sheik Kirya natuuka mu Bweyogerere mu motoka ye eyekika kya kabangali emyufu nnamba UAE 628X , n'alambula ku mayumbage ag'abapangisa agasangibwa e Bweyogerere ku Katuba zooni mu LC1 ya Ntebettebe okuliraana ewa Sentebe wa Kira Mamerito Mugerwa. Yabanjizzaawo ku ssente kubanga omwezi gwabadde gwaweddeko. 

Embeera y'amaziga na bunkenke ku muzikiti e Kibuli oluvannyuma lw'okufa kwa Sheikh Kirya, Ebifaananyi bya Eddie Ssejjoba. #

Posted by Bukedde on Wednesday, July 1, 2015

Bwe yavuddeyo kwe kugenda ku okusaala ku muzikiti gwa Masgid Noor oguliraanye ekigo kya Our Lady of Consolata e Bweyogerere weyavudde ku saawa nga zigenda mu 4:00 ez'ekiro okusinziira ku mugandawe eyategeerekeseeko erya Hajj Amiru Amil.

Okuva ku muzikiti yavuze emmotokaye eyabaddeko enkota z'aamatooke 3 nagisimba mu lujja lw'ebizimbe bya mwami Ddungu navaamu nabuuza ku bantu abaabaddewo era bweyamaze okubabuuzaako n'okunyumyamu kwe kugenda ku mudaala agule ogumu obutunda

Husein Kakooza eyalabye Sheik Kirya ng'atuuka mu Bweyogerere ku saawa nga 4:15 ez'ekiro yagambye nti abasajja abaamukubye baabadde ku bodaboda eyazze ng’emuvaako emabega kirabika baabadde baagala ku mukuba nga yakava mu motokaye wabula ekyabalemesezza waliwo abasirikale ba Traffic abaabadde bayimiridde ku kkubo nga waliwo omuntu gwebakutte.

Laba ne bino;

Sheikh Kirya akubiddwa amasasi nafiirawo

ABATEMU BASOOKA KUMWEZZAAMU MU MAY
Francis Wasswa ng'ono atwala eby'okwerinda mu kitundu ky'e Kito yategeezezza nti gye buvuddeko, Kirya yalumbibwako ababbi, nebawalampa ekikomerakye, olwabakanga nebadduka era poliisi ye Kirinnya n'ekola okunoonyereza nekwata abaali bateeberezebwa, nebabasiba era kati bali Luzira.

Omwogezi wa Poliisi, mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyangoyategeezezza nti bazze bafuna okutiisibwa kwokutibwa kw'abasiraamu, era nga poliisi ne basalawo okubawa obukuumi era Kirya abadde alina omukuumi kyokka yabadde asoose kumuzzaayo ku Poliisi e Kireka nga bw'abadde akola bulijjo olwo ye agende eka.

 

Ebifaananyi byonna bya Steven Musoke

Posted by Bukedde on Wednesday, July 1, 2015

Ebifaananyi bya Rogers Kibirige

Posted by Bukedde on Wednesday, July 1, 2015

Engeri Sheikh Kirya gyeyattiddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...