TOP

Enkiiko za Mbabazi zinakkirizibwa?

Added 6th July 2015

AMAMA Mbabazi akyagenda mu maaso n'okugulumbya ekibiina kya NRM, akakiiko k'ebyokulonda ne Poliisi okuva lwe yalangiridde nga June 15, nti ategeka okwesimbawo ku bwapulezidenti.

Bya AHMED MUKIIBI


AMAMA Mbabazi akyagenda mu maaso n'okugulumbya ekibiina kya NRM, akakiiko k'ebyokulonda ne Poliisi okuva lwe yalangiridde nga June 15, nti ategeka okwesimbawo ku bwapulezidenti.

Mbabazi agamba nti waakusooka kuvuganya mu NRM bamuwe omukisa okukwata omumuli gw'ekibiina eri abanaavuganya ku bwapulezidenti mu 2016.

Mbabazi yawandiikidde akakiiko k'ebyokulonda ne Poliisi ng'abategeeza nti waakutalaaga eggwanga okwebuuza ku bantu ku by'akalulu. Yalaze nti waakusooka mu disitulikiti 25 okuva enkya nga July 7 lw'asuubirwa e Mbale okutuuka nga August 1, 2015 lw'anaamalira ku butaka bwe e Kanungu.

Mbabazi yalaze nti akikoze ng'ayita mu tteeka ly'okulonda Pulezidenti erya Presidential Elections Act 2005 n'anokolayo akatunda 3, (3) nti mw'asinziira okukuba enkung'aana okwebuuza ku balonzi nga yeetegekera okuvuganya ku bwapulezidenti.

Etteeka lino likkiriza abantu abaagala okuvuganya ku bwapulezidenti okwebuuza ku bantu mu myezi 12 egisooka ng'okwewandiisa tekunnabaawo.

Akatundu 3 (3) kagamba nti omuntu ateekateeka okuvuganya ku bwapulezidenti ajja kweyanjulira akakiiko k'ebyokulonda era ategeeze ne ku Poliisi n'abakulembeze aba gavumenti ez'ebitundu mu bitundu gy'abeera agenda.

SSAABAWOLEREZA WA GAVUMENTI AGAANYI
Wabula Ssaabawolereza wa Gavumenti, Fred Ruhindi mu kutaputa amateeka agamba nti Mbabazi alina emitego gy'amateeka mingi gy'alina okubuuka bw'ababa w'akukuba nkung'aana ze okwebuuza ku bantu.

Ruhindi agamba nti wadde ng'etteeka ly'okulonda Pulezidenti liwa omuntu nga Mbabazi ebbeetu okwebuuza ku bantu, Poliisi erina obuyinza okulung'amya enkung'aana ezo ng'eyita mu tteeka erifuga enkung'aana erya Public Order Management Act (POMA).

Ruhindi era yawandiikidde omuduumizi wa Poliisi, Gen Kale Kayihura nga June 18, ng'amugamba nti obuyinza obw'enkomeredde buli eri poliisi okusalawo ku nkung'aana za Mbabazi.

Ruhindi yanokoddeyo akatundu 3 ak'etteeka ly'enkung'aana akawa omuduumizi wa Poliisi oba omukungu wa Poliisi obuyinza okulung'amya enkung'aana ez'olukale n'agamba nti wano Mbabazi ateekwa okugondera amateeka.

Ruhindi yanokoddeyo n'akatundu nnamba 5 akalagira abateegeka enkung'aana okutegeeza ku Poliisi ng'ebula ennaku nga ssatu olukung'aana okubaawo nga balambika omuwendo gw'abantu abasuubirwa mu lukung'aana, ekifo, essaawa z'olukung'aana ne kalonda omulala.

"Singa Poliisi ekizuula nti ekifo olukung'aana we lutegekeddwa luyinza okutaataaganya entambula z'ebidduka oba okubeera oluzibu eri Poliisi okuwa obukuumi abantu abagenda okulwetabamu, olwo Poliisi esobola okulagira alutegeka okukyusa ekifo", Ruhindi bwe yagambye.

Ruhindi ayongerako nti n'akatundu nnamba 9 ak'etteeka ly'enkung'aana, kalagira Poliisi okukakasa nti waliwo okugoberera amateeka n'obutebenkevu ng'enkung'aana ng'eza Mbabazi tezinnabaawo.

Ng'oggyeeko obukwakkulizo obuli mu tteeka erifuga enkung'aana, Ruhindi yagambye nti Poliisi eteekwa okusooka okuzuula oba Mbabazi agenda kukuba nkung'aana nga mmemba w'ekibiina kya NRM oba ng'atalina kibiina.

Enkiiko za Mbabazi zinakkirizibwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...