TOP

Omuyimbi Maureen Nantume azadde mwana muwala

Added 7th July 2015

OMUYIMBI Maureen Nantume oluzadde ‘bbebi gaalo’, bbaawe Ronnie Muganza n’amukubira akasimu akamuyozaayoza mw’amukubidde akaama nti, ‘noonya nnyumba ya kukugulira.’

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUYIMBI Maureen Nantume oluzadde ‘bbebi gaalo’, bbaawe Ronnie Muganza n’amukubira akasimu akamuyozaayoza mw’amukubidde akaama nti, ‘noonya nnyumba ya kukugulira.’

Nantume yazaalidde mu ddwaaliro lya International hospital e Namuwongo eggulo mu kalasamayanzi.

Mikwano gya Nantume abaakulembeddwaamu eyali ‘metulooni we’ amanyiddwa nga Maureen Namara bwe yali ayanjula Ronnie Muganza e Bukanaga-Mityana mu April omwaka guno, baagenze mu ddwaaliro ne bamukulisa.

Nantume mu ddwaliro nga banne bamuyozayoza

Omwana mweru ttuku nga mikwano gya Nantume bamufaananya Muganza ate abalala Nantume abalala nga bagamba nti, tannatuuka kumufaananya muntu. Ono ye mwana wa Nantume owokubiri ng’eyasooka, naye muwala, Whitney alina emyaka 16.

Nantume yayanjula Muganza ewa kitaawe, Dennis Ssekiziyivu ku mukolo ogwakulemberwa omukyala omulala, Charlotte Kiggundu okukaayana nti Muganza yamulekawo n’abaana be yamuzaalamu n’agenda ne Nantume.

Ssekamatte ng'akutte ku lubuto lwa Nantume gye buvuddeko

Kyokka ku mukolo gw’okwanjula, Nantume eyali olubuto olukulu, yayimba oluyimba lwe yatuuma Kakibalume oluwaana Muganza ng’agamba nti, ye (Nantume) si malayika eyandisoose okumanya nti omusajja yazaalako dda ebbali amuleke kyokka n’awa Charlotte amagezi nti abaana be n’aba Nantume bonna baana baabwe ne yeeyama n’okubakuza.

Ebirala ku Nantume

Bakoledde Maureen akabaga akaaniriza bbebi

Nantume olumuteebye peneti, bba n’akyala

Eyeeyise muninkini wa Nantume yeesowoddeyo: ‘Nange nnamussaamu kaasi’

Bukedde ezudde omusajja Maureen Nantume gwagenda okwanjula

Ebyabadde mu kwanjula kw'omuyimbi Nantume

Muggya wa Nantume asitudde enkundi: Akolimidde bba olw'okumusuulawo mu kazigo n'abaana

Kitange mmutegedde mu 2010 -Maureen Nantume


Omuyimbi Maureen Nantume azadde mwana muwala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...