
Bya Martin Ndijjo
OMUYIMBI Eddy Kenzo atuukidde mu maanyi, abantu bwe beeyiye ku kisaawe e Ntebe okumwaniriza nga bamuyozaayoza okuwangula engule ya BET eri ku ddaala ly’ensi yonna.
Yatuuse ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa 8.00 ez’olweggulo. Yayaniriziddwa minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku byobulimi Vincent Ssempijja.
Kenzo amanyiganye ne minisita kubanga yabeerako mu maka ge nga wa myaka mwenda.
Wabweru waabadde wakubyeko abawagizi ba Kenzo nga bawaga nga bwe bayimba ennyimba ezimutadde ku maapu omuli ‘Sitya loosi’, ‘Sitamina’ n’endala ng’ate embuutu bwe zisindogoma.
Ebyana nga byefunzizza Kenzo (wakati mu gaalubindi)
Mukazi wattu Rema Namakula (mukyala wa Kenzo) eyabadde ne bbebi waabwe ng’akutte n’ekimuli abawagizi baamulemesezza okutuuka ku mwagalwa we ng’eteekateeka bwe yabadde. Yakanze kuleekaana nti “Kenzo..., Taata Aamaal...” nga tamuwulira.
Mu kavuuvuung’ano kano waliwo abavubuka abaasikambudde engule ku Kenzo, eyabadde mu ssanyu n’atandika okukaaba nga bw’aginoonya. Wano abamu kwe kugamba nti, “Kenzo takaabidde buwagizi, wabula kumubbako ngule”.
Oluvannyuma engule baagimuddizza ne boolekera Kampala.
Poliisi yawaliriziddwa okugoba abawagizi olw’effujjo.
Rema (ku ddyo) ng’ayaayaana okutuuka awali ekyebbeeyi kye ki Eddy Kenzo. Ku kkono, Evelyne Namulondo ng’akuba enduulu.
Emu ku mmotoka ezaakimye Kenzo ng’erimu abawagizi be, yalemeredde omugoba waayo e Kawuku n’etomera ekikomera abamu ku baabaddemu ne bafuna ebisago.
Minisita Ssempijja yagambye, “Uganda ogitadde ku mutindo gwa nsi yonna. Abayimbi batono nnyo abatuuka ku buwanguzi buno. Ku lwa Gavumenti ya Uganda njagala okukuyoozaayoza Kenzo.”
Kenzo (ku kkono) ng’akwasa minisita Vincent Ssempijja engule ku kisaawe e Ntebe ku Lwokubiri
Andrew Benon Kibuuka, akulira abayimbi ne bannakatemba yagambye nti, “ffe baatutegeezezza nti ajja Lwakuna wiiki eno. Twawulidde buwulizi nti ate atuuse, bwe butabaayo kumwaniriza”.
Eddy Kenzo ayaniriziddwa nga muzira ku kisaawe Entebbe ng'adda okuva mu America gye yawangulira engule ya BET. Ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo.
Posted by Bukedde on Tuesday, July 7, 2015
Kenzo asimattuse okubbibwako engule ye ku kisaawe e ntebe-Ayozezza ku mmunye