TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kanyama Kamyuka eyasse omusuubuzi mukambwe ku batunuulira mukazi we!

Kanyama Kamyuka eyasse omusuubuzi mukambwe ku batunuulira mukazi we!

Added 4th August 2015

KANYAMA eyaggaliddwa olw’okufumita omusuubuzi mu bbaala, abadde alwana na buli musajja gw’ateebereza okumwagalira omukazi.

 Bya MARTIN NDIJJO, JOSEPH MAKUMBI NE SHAMIM NABUNYA

KANYAMA eyaggaliddwa olw’okufumita omusuubuzi mu bbaala, abadde alwana na buli musajja gw’ateebereza okumwagalira omukazi.

Abamumanyi obulungi baategeezezza nti bwe kakutanda n’otunuuliza Nina oluuso olw’omukwano, Ivan Kamyuka ng’ayogera kimu n’azzaako oluyi!

Nti abadde awera lunye nti: Ku Nina nja kutta omuntu – era yakituukirizza.

Bambega ba poliisi nga bakulemberwa Rebecca Namugenyi eggulo beekenneenyezza akatambi akaakwatiddwa mu bbaala y’ekigagga eya Guvnor (abamu bakyayitawo ku Angenoir) mu Kampala.

Beetegerezza engeri Kamyuka (olumu yeeyita Denzel Iyvo Kanakulya) gye yasozze omusuubuzi John Ahimbisibwe (mikwano gye babadde bamuyita Johnnie) eccupa mu bulago, omusaayi ne gusaasaanira ekifo kyonna.

Oluvannyuma baakulembeddwa omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano omuggya Benjamin Namanya ne John Bosco Ozelle aduumira poliisi mu buvanjuba bwa Kampala ne baddayo ku bbaala y’omugagga Charlie Lubega awaabadde obutemu ne bongera okukung’aanya obujulizi.

ABADDE YAAKALWANA N’OMUSUUBUZI ENFUNDA BBIRI

Guno gwabadde mulundi gwakusatu nga Kamyuka alwana ne John kyokka ku luno musajjawattu teyasobodde kusimattuka.

Fredrick Kakande abadde mukwano gwa Johnnie yategeezezza nti: Omugenzi aludde nga yeemulugunya nti Ivan amumazeeko emirembe ng’amulumiriza okukwana Nina ate nga ‘chapter’ eyo Johnnie abadde yagiggala dda!

Johnnie ye yasooka okwagalana ne Nina Lyanuak ne bazaala omwana Crisper Mukisa ow’emyaka etaano; wabula baafuna obutakkaanya ne baawukana olwo Nina n’afuna Kamyuka. Kino Johnnie tekyamuyisa bulungi kubanga yali atwala Kamyuka nga mukwano gwe ow’okulusegere; era okuva olwo embiranye n’ekula.

Abaana ba Johnnie Ahimbisibwe nga bakaabira kitaabwe eyattiddwa e Nyanama.

Kamyuka y’abadde akulira abakozi mu kkampuni ya Bouy Ltd kyokka ebiseera ebimu ng’akola mu jjiimu e Bukoto ng’atendeka kusitula buzito ate Johnnie nga musuubuzi wa ngoye e China. Kamyuka abadde abeera Kisaasi ne Nina kyokka kati bombi bakuumirwa ku poliisi ya Jinja road.

Kakande yagambye nti baakubaganirako ku bbaala yeemu ku nkomerero y’omwaka oguwedde era ne baddamu ne balwana mu February w’omwaka guno.

Nti entabwe ebadde eva ku Nina nga Kamyuka ateebereza John nti akyayagala okusigula omuwala ono amweddize. Wabula Kakande yagambye nti John abadde takyalina nkolagana ya njawulo ne Nina era ekibadde kibagatta ye mwana; kubanga Johnnie abadde yafuna n’omukazi omulala Marjorine ow’e Kyengera.

Yagasseeko nti obutakkaanya John bw’azze afuna ne Kamyuka bubadde buva ku kanyama ono obutamukkiriza kulaba mwana we gwe yazaala mu mukazi ono mu 2010; ng’agamba nti agezaako kukozesa luwenda lwa mwana yeddize Nina. Kamyuka yakuba Nina embaga mu 2013.

Jeff Aguma mukwano gwa Johnnie yagambye nti Kamyuka abadde n’ebbuba erisusse nti era abasajja abawerako balozezza ku bukambwe bwe. Nti buli gw’abadde asanga nga yeesesa ne Nina oba okumukuba eriiso, ng’asooka kukubuuza; “ggwe ffala, ddeemu wange omwagaza ki?” era bw’oddamu ebitakwatagana, owulira luyi – be ppya! 

EYALI MANEJA WA  CHAMELEONE NAYE  AYOGEDDE BYE YALABYE

Sam Mukasa eyali Maneja wa Jose Chameleone yabaddewo nga Johnnie afumitibwa ekitundu ky’eccupa mu bulago, era mwetegefu okuwa obujulizi okukakasa nti omusango teguvulugibwa.

Charlie Lubega ng’alambuza abakungu ba poliisi okuli Benjamin Namanya, Rebecca Namugenyi  ne John Bosco Ozelle n’abaserikale abalala ku Guvnor eggulo.

Mukasa nga kati ye Maneja w’omuyimbi King Saha, yagambye nti waasooseewo kanyoolagano era tewaabaddewo mbeera ewaliriza Kamyuka kufumita John kubanga omugenzi yabadde amaze okugwa ku ttaka; nga Kamyuka asinzizza amaanyi.

Brian Ahumuza abadde asuubula ne John e China yagambye nti obujulizi obuli ku katambi ka CCTV akaakwatiddwa kkamera z’ebbaala, bumala okulaga engeri obutemu gye bwakoleddwa.

Mikwano gya Johnnie abasukka mu 500 baaweerezza obubaka obukubagiza nga bayita ku mikutu gya yintaneti era ne basaba bbaala okussa mu nkola eky’okuteeranga abantu eby’okunywa mu bugiraasi obwa pulasitika n’obutatundira mwenge mu macupa wamu n’okubaaza okukakasa nti tebayingira na biso, okwewala obutemu obw’ekika kino.

Rev. Jackson Ssedengeya ow’Ekkanisa y’e Nyanama bwe yabadde akulembeddemu okusaba okwategekeddwa e Nyanama awaakumiddwa olumbe, yakubirizza abavubuka okwewala ebitamiiza kubanga by’ebivaako effujjo eritaliimu kulowooza erivaako okuyiwa omusaayi.

Bamulekwa ababiri okuli Michelle Ahimbisibwe 10, ne Mukisa baakaabizza abakungubazi kuba yabalese ku myaka mito nnyo. Mukazi we, Marjorine gw’abadde yaakafuna abadde tamulinaamu mwana.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Kamyuka yabategeezezza nti teyagenderedde kutta John wabula yabadde agezaako okwetaasa.  Yagambye nti siteetimenti ezaakoleddwa wamu n’akatambi akalaga ebyabaddewo bigenda kusindikibwa ew’omuwaabi wa gavumenti asalewo oba baggulwako butemu oba kutta mu butanwa.

Mu mateeka ga Uganda, okusingisibwa ogw’obutemu kisobola okukutwaza ku kalabba sso ng’okutta mu butanwa, Omulamuzi asobola okukusiba emyaka egitandikira ku musanvu okutuuka ku kusibwa amayisa.

 

Kanyama Kamyuka eyasse omusuubuzi mukambwe ku batunuulira mukazi we!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...