TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okufumita omusuubuzi eccupa n'afa asindikiddwa Luzira

Agambibwa okufumita omusuubuzi eccupa n'afa asindikiddwa Luzira

Added 5th August 2015

KANYAMA Ivan Kamyuka agambibwa okufumita omusuubuzi ekiso mu bbaala n’afa, baamusimbye mu kkooti ne bamusomera ogw’obutemu omulamuzi n’amusindika ku limanda.

Bya LAWRENCE KITATTA, EDWARD LUYIMBAAZI NE MARTIN NDIJJO

KANYAMA Ivan Kamyuka agambibwa okufumita omusuubuzi ekiso mu bbaala n’afa, baamusimbye mu kkooti ne bamusomera ogw’obutemu omulamuzi n’amusindika ku limanda.

Kamyuka, ku kkooti baamutwalidde mu mmotoka ntono eya buyonjo okuva ku poliisi ya Jinja Road n’esimba ku mulyango gw’akaduukulu ka kkooti mwe baamuggye ku ssaawa 9:15 okumutwala mu kaguli ng’akuumibwa abaserikale bataano.

Omulamuzi Christine Nantege ye yamusomedde ogw’obutemu n’amutegeeza nti mu kiro ekyakeesezza Ssande nga August 02,  2015 nga bali ku bbaala ya Guvnor, kigambibwa nti yasse Johnnie Ahimbisibwe. Teyamukkirizza kwogera kubanga omusango gwa nnaggomola n’amusindika ku limanda e Luzira.

Omuwaabi wa Gavumenti,  Julius Atuhaire yategeezezza Omulamuzi nti bakyakola okunoonyereza okufuna obujulizi obulumiriza Kamyuka nti ye yafumise Ahimbisibwe eggiraasi ku bulago mu kiro ekyakeesezza Ssande mu bbaala ya Guvnor ng’amulanga okumwagalira omukazi Nina Lyanuak.

Ahimbisibwe yafudde nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro lya Case Clinic ku Buganda Road mu Kampala n’aziikibwa e Ibanda eggulo. 

Nina yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga eyategeezezza nti okusinziira ku kye bazudde mu kunoonyereza kwabwe kulaga nti nina talina we yeetabira mu kuttibwa kwa Ahimbisibwe.

JJAJJA W’OMUGENZI ATONDOSE N’AFA NGA BAZIIKA MUZZUKULUWE:

Esteri Kairangara, jjajja wa Ahimbisibwe yagenze okufuna amawulire g’okufa kwa muzzukulu we nga mugonvu era gaamukubye wala. Ekiseera eky’okuziika nga kituuse teyasobodde kufuluma mu nnyumba.

Okusinziira ku Sam Katungi, kojja wa Ahimbisibwe, baabadde mu luggya  nga basabira omugenzi, abaabadde mu nnyumba ne babategeeza nti Kairanga akutuse. Yategeezezza nti bagenda kumuziika ku Lwakuna engeri gy’abadde muntu mukulu mu luggya.

 

Agambibwa okufumita omusuubuzi eccupa n’afa asindikiddwa Luzira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...