TOP

Abazigu balumbye Famire ne bagitemaatema

Added 12th September 2015

ABAZIGU balumbye amaka e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi ne bakuba omukazi n’omwana ennyondo ne babanyagako ensimbi.

Bya PADDY BUKENYA

ABAZIGU balumbye amaka e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi ne bakuba omukazi n’omwana ennyondo ne babanyagako ensimbi.

Anitah Nakyanzi, atunda enkoko mu kabuga k’e Kammengo ng’asula Muyenga mu ggombolola y’e Kammengo mu Mpigi yalumbiddwa abasajja bataano abatannategeerekeka.

Baabadde n’ennyondo n’ebiso ne bamukuba ennyondo n’omwana gw’abadde naye mu nju, Jessica Nampijja, 12, ne babaleka nga bataawa. Emitwalo 30 ze baabadde nazo mu nju, nazo ababbi baazitutte mu kiro ekyakeesezza eggulo.

Ababbi bano baasoose kugezaako kumenya dduuka lya muliraanwa waabwe amanyiddwa nga Maama Edigar kyokka bwe baabakubidde enduulu ne badduka oluvannyuma ne bakuba oluggi lw’enyumba ya Nakyanzi ne bayingira era ne batandikirawo okumukuba nga bwe bamusaba ssente.

Wabula nga bamaze okufuna ssente 300,000/- ze yabadde akwese, olwo ne bamukuba ennyondo ku mutwe n’agwa n’azirika. bwe baalabye omwana Nampijja ng’abalabye, naye ne bamukuba ennyondo emirundi ebiri ku mutwe n’okumumenya omukono ne babaleka nga batiiriika musaayi.

Abatuuze baabasanze ku makya mu nnyumba nga bataawa ne babatwala mu ddwaaliro lya Golola Medical Centre e Kammengo, gye bajjanjabira kati. Abatuuze basabye poliisi ebayambe kubanga ababbi basusse mu kitundu kyabwe.

 

Abazigu balumbye Famire ne bagitemaatema

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...