TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluvannyuma lw'omukago gwa TDA okusasika Besigye ne Mbabazi balangiridde ekiddako

Oluvannyuma lw'omukago gwa TDA okusasika Besigye ne Mbabazi balangiridde ekiddako

Added 25th September 2015

MBABAZI ne Besigye bombi bagenze mu lwokaano lwa Pulezidenti zaabike emipiira! Polof. Gilbert Bukenya naye alangiridde enkung’aana ezisaba akalulu ng’atandikidde Masaka azzeeko Busoga.

 Bya BASASI BAFFE

MBABAZI ne Besigye bombi bagenze mu lwokaano lwa Pulezidenti zaabike emipiira!
Polof. Gilbert Bukenya naye alangiridde enkung’aana ezisaba akalulu ng’atandikidde Masaka azzeeko Busoga.

Bino biddiridde okuyiika kw’omukago gwa The Democratic Alliance (TDA) ogumaze emyezi kkumi nga guzimba enteekateeka y’okusimbawo omuntu omu attunke ne Museveni mu 2016.

Ku Lwokusatu, Besigye yazzeemu okwekandagga mu lukiiko lw’abomukago e Naguru. 
Yabadde yaakafuluma ate ekibinja ekyakulembeddwa omubaka Geoffrey Ekanya ne kiyingirawo n’ekiwandiiko ekitegeeza ab’omukago nti tebeetantala ne balangirira Mbabazi kubanga Besigye takkaanya na bigenda mu maaso ate ng’ebiwandiiko by’omukago biraga nti okulangirira omuntu, abantu bonna balina okuba nga bakkaanyizza ne beeyama mu lwatu okumuwagira.

Wano Mbabazi naye we yafulumidde n’agamba nti akooye okuteesa ebitaggwa era abawadde olunaku lumu basalewo, bwe batakikola alangirire ekiddako

Omwogezi w’omukago Wafula Oguttu yalangiridde: Tulemeddwa okukkaanya ku muntu omu gwe tulina okusimbawo; kyokka tusazeewo buli muntu avuganyize mu kibiina kye era akozese obubonero bw’ekibiina kye. Twetemyemu ng’abamu bawagira

Mbabazi ate abalala Besigye ne tusalawo bonna bagende mu kalulu.
Oguttu yagambye nti mu kibalo kyabwe, waliwo abawagizi ba NRM ebitundu 38 ku 100 abaagala ekibiina kyokka nga si beetegefu kuwa Museveni kalulu era balowooza nti abo bajja kukawa Mbabazi. Kino kijja kulemesa Museveni okufuna obululu obusussa ebitundu 50 ku 100 olwo baddemu okulonda envuunulabibya.

Bakkaanyizza nti ekyo bwe kibeerawo, Mbabazi bw’anaaba y’addiridde Museveni, Besigye ajja kwegatta ku Mbabazi; kyokka era Besigye bw’anaaba y’akutte ekyokubiri, Mbabazi waakuwagira Besigye.
Baasazeewo okunoonya akalulu nga tekuli alumba munne, amaanyi bagamalire ku kulemesa Museveni buwanguzi.

Enkambi ya Besigye ne Mbabazi boogedde ekiddako

Hope Mwesigye (mulamu wa Mbabazi): Okulemwa okutuuka ku nzikkiriziganya mu mukago, Katonda y’akireese era alina ensonga. Tekitumazeemu maanyi era tulina essuubi nti Katonda ajja kutuyamba okutuukiriza ekigendererwa ky’okukyusa gavumenti eno.

Mugisha Muntu (Pulezidenti wa FDC): Ffe nga Banna FDC tumanyi abantu baffe bonna kye bayitamu wabula si kweyagaliza nga ffe abali mu kibiina. Tulina okuggyawo okwekubagiza n’okulwanagana kubanga ekisinga obukulu eri ffenna abali mu nkambi ez’enjawulo kwekulaba nga tetuwugulwa. Tugenda kunoonya akalulu mu nkambi zaffe nga teri anafuya nkambi ya munne kubanga omulabe waffe ali omu!

EKIBALO EKIKUBA MUSEVENI 
Abavuganya obuwanguzi bwabwe bwesigamye ku kibalo. Emikisa gya Bukenya, Mbabazi oba Besigye okuwangula Museveni mitono, naddala ng’obululu bwabwe babugabanyizza.

Ekirala bonna gye balina amaanyi, ate ne Museveni gy’atadde amaanyi. Okugeza Bukenya alina amaanyi mu Buganda ne mu Eklezia kyokka yonna Museveni yamwetoloola naddala bwe yatereeza enkolagana ne Mmengo ate mu Eklezia ali ku mwanjo y’akulembedde n’enteekateeka z’okukyaza Paapa.

Mu Bugwanjuba Mu bitundu bya Ankole, Kigezi, Kasese eyo Besigye ne Mbabazi gye basibuka kyokka Museveni yalondayo abasajja emmekete mu kunoonya akalulu n’abawa ebifo. Abakoledde ku bizibu byabwe ate n’abasuubiza okubawa ebirala ng’akalulu kawedde ng’alinga abaza baleme kuwuguka.

Amaanyi g’omu bukiikakkono Mao ge yalina bwe yawangula Museveni mu kalulu ka 2011 mu Amuru. Ne Besigye n’afuna obululu bungi. Eno Museveni abakoleredde okubasiguukulula okuva mu 2011 ate yayongeddemu amaanyi NRM bwe yawanguddwa mu kujjuza ekifo Amuru.

Omwogezi wa TDA Wafula Ogutu nga annyonnyola biki ebyasaliddwawo

EMIKISA GY’ABAVUGANYA
Mu kulonda kwa 2011, Besigye yafuna obululu obukadde bubiri. Eno y’enkizo kwe yagendedde mu mukago kubanga ku balala b’abadde avuganya nabo Mao yekka ye yafuna obululu 147,000, Mbabazi ne Bukenya baali mu NRM.

Ekirala Besigye yekka ye yabadde alondeddwa mu kalulu mu kibiina kye (yawangudde Mugisha Muntu), abalala baagenze kubanga bakulembeze ba bibiina byabawe.

Mu 2011, Museveni yafuna obululu 5,400,000. Kitegeeza nti abalonzi 5,800,000 tebaakuba kalulu. Okuva olwo omuwendo gw’abalonzi gweyongeddeko.

Kati abavuganya Museveni balina kulwana kufuna ttundutundu ku bataalonda mu 2011, balonde bo.
Ekirala kisuubirwa nti Mbabazi ne Bukenya baliko abantu mu NRM be bajja okusikiriza babawe akalulu kubanga ekkumi terikyawa omu.

Mbabazi kampeyini ye agissa nnyo mu bavubuka abaagala ennyo emikutu gya yintaneti (social media) ng’abamu tebasikirizibwa Museveni ne Besigye. Ekirala abavubuka bangi abatalina mirimu n’abo abakuze nga balaba omuntu omu Museveni, bangu baakumatiza enjiri y’okukyusaako.

Kirowoozebwa nti abavuganya bwe banaafuna ogutundutundu gw’abalonzi ababadde balaba ebyokulonda ng’ebitabakwatako oba abalaba Museveni ng’atawangulwa, basobola okwabuluzaamu obululu ne balemesa Museveni okufuna ebitundu ebisukka ku 50 ku 100 ebyetaagisa.

Ekizibu kye balina, kampeyini zitambulira ku nsimbi. Bajeti y’abeesimbyewo ng’ogigasse, katundu butundu ku nsimbi NRM z’etadde mu kalulu.

Ekirala Museveni alina enkizo y’okubeera mu buyinza, ajja kusigala ng’akozesa emmotoka, ennyonyi n’ebintu ebirala ebimuweebwa nga Pulezidenti. Era ajja kusigala ng’awa ebitongole ebikuumaddembe ebiragiro mu bukulu bwe ng’omuduumizi w’oku tikko.

Bukenya ayogedde ekyabalemesezza okukkaanya

Polof. Bukenya yagambye nti ku Mmande lwe yasazeewo okuva ku by’omukago kubanga obubonero bwe yalabye mu lukiiko olwatudde kw’olwo bwabadde bumumala okukakasa nti omukago tegulina lugendo.

Yagambye nti yalabye okweyagaliza nga kubuutikira omulamwa gw’okwegatta kubanga ye ne Mao ne bwe baatuuse ne basalawo okudda ebbali, Besigye ne Mbabazi baalemeddwa okusalawo ani alekera munne, okukkakkana ng’omukago guyiise.
Bukenya yagambye nti bwe yavudde mu lukiiko lwa Mmande yasazeewo obutatawaana na kuddayo mu lukiiko ku Lwokusatu kubanga yabadde amaze okulaba nti waliwo abantu be baasindise mu lukiiko okulemesa omukago.

Abantu abo be yagaanye okwatuukiriza yabeetegerezza nga balina ekigendererwa eky’okumanya ekiri mu buli nkambi ya byabufuzi, abaagala okwesimbawo kye balowooza, amaanyi gaabwe we gali, enteekateeka ze balina, ababakolera kakuyege mu bitundu ebyenjawulo, ssente mmeka ze balina ne gye basuubira okufuna ensimbi endala ne kalonda omulala.

Bukenya yagambye nti enteesa y’abantu abo yabadde eyongera kussaawo lukonko okusinga okuzimba obumu. Awo we yasaliddewo okwesimbawo ng’akozesa amaanyi g’omugendo gwe yatandika ogulwanirira obumu ogwa Pressure for National Unity (PNU).

Yagambye nti atandikira Masaka ku Lwokutaano luno, azzeeko disitulikiti za Busoga, agende e Karamoja ne Acholi.
Ensonda mu nkiiko ezibadde zituula zaategeezezza nti abaabadde beesimbyewo baababuuzizza ssente ze balinawo olwo Mao n’agamba nti talinaawo asuubira busuubizi, Bukenya n’agamba nti alinawo ddoola emitwalo 30 (obukadde 1,100); Besigye n’ayogera obukadde bwa ddoola bubiri n’ekitundu (obuwumbi 9) ate Mbabazi n’ayogera obukadde bwa ddoola 7 (obuwumbi 25 n’ekitundu).

Ensonda zaategeezezza nti omukago abamu baagulabyemu omukisa gw’okukola ssente era ne batandika okuperereza abeesimbyewo babawe ensimbi babawagire.

Abalala baabadde bazisaba kuva mu nkambi emu batabule enkambi endala era byonna ne bikaluubiriza abaabadde bakubiriza omukago okuli Omulabirizi eyawummula Zac Niringiye, Okello Okello, Dr. Dick Odur, Miria Matembe ne bannaabwe.

Charles Kalule Ssebunnya omukugu mu by’okunoonyereza e Makerere yagambye nti abaategeka TDA baakola ensobi bbiri:
• Okulowooza nti abantu abasukka mu 20 basobola okutuula ne bakkaanya ku kintu ekiyaayaanirwa buli muntu ate ng’abamu balina ebigendererwa eby’obuntu. Mu biwandiiko ebyassibwako omukono baalemwa okussaamu akawaayiro ak’okukubisa akalulu ssinga wabeerawo enkalu ez’amaanyi.

• Baali basobola n’okuleka abantu bonna abaagala entebe ne bayingira olwokaano ne beegera eryanyi, olwo wakati mu kampeyini nga bamaze okugezesa amaanyi ga buli omu ne batandika enteeseganya nga bamanyi buli omu ky’asobola ne ky’atasobola. Kino kyandyanguyirizza Besigye ne Mbabazi okusalawo ani alekera munne.

Ssebunnya yagambye nti okulemwa okusalawo kiyinza okumalamu abantu amaanyi naddala ababadde batannasalawo gwe banaalonda ne bamaliriza nga tebalonze; nga tebalabawo ssuubi.

Wabula yagasseeko nti kirinamu akalungi kamu; ak’abalonzi abakkiririza ennyo mu Besigye abatasobola kuwa Mbabazi kalulu; n’abo abakkiririza mu nkyukakyuka mu NRM abasobola okulonda Mbabazi kyokka nga tebayinza kuwa Besigye kalulu kuba bamulabamu obwa nnalukalala.

Ow’Ebyamawulire ku kitebe kya NRM, Rogers Mulindwa yagambye nti omukago gwabadde gulina okusasika kubanga gwazimbirwa ku kigambo kimu; kya kulwanyisa Museveni ate bonna abagulimu nga balina ebigendererwa byabwe eby’obuntu okweyagaliza entebe ya Pulezidenti.

Byonna ebyabaddewo byongera kulaga nti NRM y’erina ebigendererwa by’eggwanga.
Norbert Mao owa DP yabadde asoose kulaga nga naye bw’ayinza okwesogga olwokaano lwa Pulezidenti singa Besigye ne Mbabazi balemwa okukkaanya; kyokka ku nkomerero yagambye nti bagenda kutambulira wakati okukakasa nti Besigye ne Mbabazi bakola kampeyini nga tebalumbagana kubanga akaseera kayinza okutuuka ng’omu alina okwegatta ku mulala.
 

Olunnyuma lw''omukago gwa TDA okusasika Besigye ne Mbabazi balangiridde ekiddako

More From The Author

Ab

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...