TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala atuuyanidde mu kakiiko k''eby''okulonda

Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala atuuyanidde mu kakiiko k''eby''okulonda

Added 28th September 2015

EYALIKO meeya wa Kampala Al Haji Nasser Sebaggala atuuyanidde ku kakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga bw''abadde azzaayo empapula ezaamuweebwa okwetolola eggwanga ng’akung''aanye emikono gy’abalonzi mu disitulikiti ekitono ennyo 75.

 BYA JOSEPH MUTEBI

EYALIKO meeya wa Kampala Al Haji Nasser Sebaggala atuuyanidde ku kakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga bw'abadde azzaayo empapula ezaamuweebwa okwetolola eggwanga ng’akung'aanye emikono gy’abalonzi mu disitulikiti ekitono ennyo 75.

Sebaggala eyasoose okujja mu kakiiko k’eby’okulonda ku ssaawa 6:00 ez'emisana kyokka n’agaana okusooka okuwaayo empapula okuli emikono gy’abawagizi be ng’agamba nti alina kugiwaayo ku ssaawa 8:00!

Bwe yakomyewo mu mmotoka empya ekika kya “Range Rover Sport” nnamba UAX 338R, n’agamba nti yaleese bweziti endala ttaano zimuyambeko okunoonya obululu, n'agamba nti bw'anaaba awangudde Obwapulezidenti, Museveni tagenda kumusiba olw’ezimu ku nsobi z’akoze kubanga buli omu asobya.

“Nze ng’omuntu amanyi eby’obufuzi nkimanyi nti bw’obeera mu buyinza waliwo ebiyinza okusobako era nze Museveni ng'enda kumuteerawo n'ensawo omuva ssente asigale mu mbeera ennungi nga Mandela bwe yali,” bw'atyo Sebaggala bwe yategeezezza.

Yagambye nti mu mbeera eno alina ebiruubirirwa bitaano okutumbula eggwanga okuli; okutumbula eby'amasomo g’eby’emikono, eby’obulimi, okuteekawo etteeka nga buli mugwiira ssente z'akola mu ggwanga alina okulekako mu Uganda ebitundu 50 ku buli 100 n'ebirala.

Yavumiridde banne abaagenda mu mukago gwa TDA okululunkanira Obwapulezidenti bwokka ne batatunulako mu bifo birala nga Bukenya okumuwa obw’obumyuka bwapulezidenti, Mao ssaabawolereza wa gavumenti ate Besigye minisita wa byakwerinda nga Mbabazi ye Pulezidenti.

Wabula mu kaseera ky’okuwaayo empapula, yazze n’emikono gy’abalonzi okuva mu disitulikiti 80 kyokka nga teyasoose kuleeta lupapula lulaga nti azizzaayo empapula ezaamuweebwa nga kuliko nnamba ya disitulikiti gy’akung'aanyizza emikono n'ennamba y’abantu okuva buli mu disitulikiti.

Akulira okukung'aanya empapula zino mu kakiiko k’eby’okulonda, Charles Lubwama yamulagidde addeyo amale okukola ebbaluwa eyo. Oluvannyuma yakomyewo n’ebbaluwa eno.

Mu kiseera kye kimu akulira balooya ba Mbabazi, Fred Muwema naye yazzizzaayo empapula za mukama we ne bamukakasa.

Abeegwanyiza entebe y'Obwapulezidenti abalala 17, abaali baggyayo empapula zaabwe beegasse mu mukago gwabwe gwe baatuumye “Independents Coalition” nga bano baasazeewo bonna bawagire munnaabwe Joseph Mabirizi.

 

Al Hajji Nasser Ntege Ssebaggala atuuyanidde mu kakiiko k''eby''okulonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...