TOP
  • Home
  • Amawulire
  • NRM ewadde abayimbi obukadde 300 okuyimba oluyimba lwa kampeyini

NRM ewadde abayimbi obukadde 300 okuyimba oluyimba lwa kampeyini

Added 4th October 2015

KAMPEYINI zisembedde, abaanaaba olweza batandise okuyoola ssente. NRM eyiye mu bayimbi omudidi bw’ebasasudde obukadde 300 okukola oluyimba olunaanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu.

Bya Martin Ndijjo  ne Lawrence Kitatta

KAMPEYINI zisembedde, abaanaaba olweza batandise okuyoola ssente. NRM eyiye mu bayimbi omudidi bw’ebasasudde obukadde 300 okukola oluyimba olunaanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu.

Ku Lwokuna, abayimbi abalondemu baalumaze mu kisaawe e Namboole nga bakwata vidiyo y’oluyimba luno lwe batuumye ‘Tubonge ne Pulezidenti Museveni’. Oluyimba luno lusuusuuta Museveni n’ekibiina kya NRM olw’ebirungi bye bakoledde eggwanga. Mu luyimba luno, Museveni alinamu ekitundu ky’ayimba.

Lawrence Labejja, maneja wa Goodlyfe akulembeddemu enteekateeka eno ku ludda lw’abayimbi agamba nti kino bakikoze okulaga omukwano n’obuwagizi bwe balina eri Pulezidenti Museveni.

“Guno omulembe kwe tukulidde era tufuniddemu ebirungi bingi...” Labejja bwe yategeezezza ku Lwokutaano era n’akakasa nti ssente zaabaweebwa.

Abayimbi abali mu luyimba luno bali 11. Kuliko Jose Chameleone, Bebe Cool, Moze Radio ne Weasel, Judith Babirye, Rema Namakula, Haruna Mubiru, Iryn Namubiru, Paasita Wilson Bugembe, King Saha ne Mun G.

Labejja yagaanye okwogera omuwendo gwa ssente buli omu ze yafunye. Naye ensonda zitutegeezezza nti buli omu yasasuddwa okusinziira ku bunene bwe. 

NRM ewadde abayimbi obukadde 300 okuyimba oluyimba lwa kampeyini

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Biden ng’alayira ate mukyala we Jil y’akutte Babiyibuli ewezezza emyaka 127.

Okulayiza Pulezidenti wa Am...

PULEZIDENTI Joe Biden alayidde n'aggyawo amateeka mangi abadde Pulezidenti, Donald Trump ge yateekawo mu myaka...

Engeri Judith gye yatengula...

Lwe baasisinkana mu wooteeri Judith olumu yapangisa ekisenge mu wooteeri emu e Mbarara ku mwaliiro gwe gumu...

Emisanvu abaserikale gye baatadde mu kkubo erigenda ewa Kyagulanyi ali mu katono.

Poliisi erabudde ababaka ba...

POLIISI erabudde ababaka b'ekibiina kya NUP abakoze enteekateeka okutwalira mukama waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu...

Ntagali ne mukazi we maama Beatrice.

Engeri omukazi gye yatega N...

OMUKAZI ayasudde mu bizibu Dr. Stanley Ntagali yasooka kugonza maama muka Ssaabalabirizi Ntagali gwe yabuulira...

Omugenzi Bp.Kaggwa

Bp. Kaggwa nga tannafa poli...

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona naye nga tannafa poliisi...