TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi egudde mu lukwe lw'abakazi ba FDC okweyambula

Poliisi egudde mu lukwe lw'abakazi ba FDC okweyambula

Added 20th October 2015

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yagambye nti bagudde mu lukwe lw’abakazi abawagira FDC okweyambula bavumaganye poliisi.

 
Ebyabaddewo nga poliisi yeezooba n'aba FDC

http://www.bukedde.co.ug/news/87116-aba-fdc-bavumiridde-poliisi-ku-by-omukazi-eyayambuddwa-ng-akwatibwa.html

Posted by Bukedde on Monday, October 12, 2015

Bya Eria Luyimbazi

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yagambye nti bagudde mu lukwe lw’abakazi abawagira FDC okweyambula bavumaganye poliisi.

Bino Kayihura yabyogedde ku Lwokusatu wiiki ewedde ku kitebe kya poliisi n’agamba nti bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti batandise okuteekateeka ebintu ebisoomooza abaserikale abali ku mirimu gyabwe  basobole okubasuula mu nsobi erabibwe ng’ebatulugunya so nga si kituufu.

“Tukizudde nti bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya balina ebintu bye bakola akagenderere okusobola okulumba poliisi n’ekigendererwa eky’okukozesa aba poliisi ensobi omuli okweyambula wabula bino tubisalidde amagezi,” Kayihura bwe yagambye.

Yagambye nti  mu bikwekweto eby’okugumbulula abeekalakaasa, abaserikale obutakola nsobi obuvunaanyizibwa bwonna bwaweereddwa ba RPC (Regional police Commander) okusobola okulondoola enkola y’emirimu gy’abapoliisi mu kaseera ako waleme kubeerawo nsobi zikolebwa  okugeza okukwata obubi abantu kuba abaserikale bafuna okutendekebwa ku ngeri gye bakwatamu abantu.

Yagambye nti poliisi ekizudde nga buli mukazi akwatibwa yeeyambula kwe kusalawo okulagira abaserikale bonna abakyala abagumbulula abeekalakaasa okubeera ne leesu n’ebitengi okubikka kw’abo abeeyambula n’okubakwata obulungi kireme kuleetawo buzibu ng’obwabaddewo nga bakwata Fatuma Zaina Nayigaga e Sanga. Nayigaga agamba nti abaserikale baamwambudde engoye.

Yagambye nti tagenda kukkiriza muserikale kuddamu kukwata bubi bantu ng’anaakikola waakunoonyerezebwako avunaanibwe.

Yagambye nti waliwo n’abatandise okujingirira kaadi za NRM ne batambula nazo okulaga nti si ba ludda oluvuganya NRM bokka be beekalakaasa wabula n’aba NRM mwebali.  

Yagambye nti poliisi ekizudde nti abali ku ludda oluvuganya akakodyo k’okweyambula ke bakozesa baakatandika mu April 20, 2012 abakazi Barbara Alimadi ne Happy Twinomugisha bwe beeyambulira ku poliisi ya CPS nga bawakanya ekya poliisi okutigaatika Ingrid Tirinawe gwe bagamba nti abaserikale baamusika ebbeere. Omukazi Hamida Nassimbwa naye yeeyambula ng’agezaako okulemesa okukwata Ingrid Turinawe.

 

Poliisi egudde mu lukwe lw’abakazi ba FDC okweyambula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.