TOP

SK Mbuga awadde Cameron ennaku 7 amuddize ssente ze

Added 14th January 2016

OMUGAGGA SK. Mbuga ng’amannya ge amatuufu ye Sulaiman Kabangala awadde nkubakyeyo, Cameron Gitawo nsalessale wa nnaku musanvu amuddize ssenteze obukadde 77 oba okumuwa emmotoka gye yamuguza n’atagimuwa bw’alemererwa amusseeko akazito k’alifa teyeerabidde.

 SK Mbuga, ate ku ddyo ye Cameroon Gitawo

SK Mbuga, ate ku ddyo ye Cameroon Gitawo

OMUGAGGA SK. Mbuga ng’amannya ge amatuufu ye Sulaiman Kabangala awadde nkubakyeyo, Cameron Gitawo nsalessale wa nnaku musanvu amuddize ssenteze obukadde 77 oba okumuwa emmotoka gye yamuguza n’atagimuwa bw’alemererwa amusseeko akazito k’alifa teyeerabidde.

Mbuga ng’ayita mu Bannamateeka be aba Caleb Alaka and company Advocates nga bakolagana ne bannaabwe aba Hilal and Company, yawandiikidde Cameron Gitawo ebbaluwa ebanja ng’emutegeeza nga bw’agenda okumuwaabira mu kkooti singa ennaku musanvu ziyita nga talonzeeko kimu ku ebyo ky’aba amuwa kwe kumulabula nti, ebinaddirira ng’enaku ezo ziweddeko tamunenya.

Mbuga agamba nti alina bwiino yenna alaga nga Gitawo amuguza mmotoka ey’ekika kya BMW 6X 640d ku bukadde 77 nga ku zo, obukadde 50 yazimuweera ku woteri ya Serena gye yali asula mu December w’omwaka oguwedde ate ezaali zisigadde n’azimuweera ku Sheraton.

Agattako nti wabula enkeera, agenda okutuuka ku Serena amuwe emmotoka ye wabula nga yasibyeemu dda ebyanguwa n’addayo e South Afrika gy’akolera ate nga n’emmotoka yagiguza muntu mulala.

Gitawo yategeeza nga bw’ajja okumuwaamu emmotoka endala wabula Mbuga n’abigaana.

Banamateeka balabudde Gitawo nti omuntu waabwe amulabudde ogusembayo ku nsonga zino nti era ekinaddirira takyejjusa ng’amateeka weegali kubanga bye banaakola n’okumuswaza bijja kumukola bubi.

Ekiwandiiko kya balooya kiraga nti, Gitawo alina kusasula obukadde 87 ng’agasseeko n’obukadde 10 obwa balooya bwe baakoledde omulimu gwe baliko asasule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...