
Sylivia Nakalema , nnyina w'omwana Racheal Kagere eyattiddwa. EBIFAANANYI BYONNA BYA PADDY BUKENYA
Poliisi eyigga omukazi eyakkakkanye ku mwana wa muggya we eyabadde agenze okuwummulira ewa kitaawe n’amunyoola ensingo n’amutta oluvannyuma ne yeekobana ne bba okuziika omulambo mu kimugunyu e Butambala.
Poliisi y’e Butambala ebakaganye n’ogwokuyigga Sarah Wanyana eyakkakkanye ku Recheal Kagere (8 )omuyizi mu P2 ku Gombe Preparatory n’amulirika emigonte gattako okumunyoola ensingo n’amuta.
Bino byonna byabaddewo nga kitaawe wa Kagere , Tonny Lukenge taliiwo kyokka oluvannyuma baakoze ekkobaani ne basima entaana okuziika omwana (Kagere) mu kimugunyu nga nnyina tamanyi kyokka Poliisi n’erinnya ku nteekateeka z’okuziika Lukenge n’akwatibwa wadde nga Wanyana kazaalabulwa yasazeewo omusango kumumaza mbiro!
Lukenge omutuuze w’e Sseguku yaggaliddwa ku poliisi y’e Kibibi era nga kati poliisi eri kumuyiggo gwa mukaziwe (Sarah) agambibwa okuba nga yeekukumye mu bitundu by’e Busega mu kiseera kino.
Lukenge okukwatibwa ne mutabani we omukulu Godfrey Ssuuna ne baggalirwa kyaddiridde Ssuuna okuleeta omulambo gw’omwana abadde yaakagenda ewa kitaawe (Lukenge) okuwummula nga tebalina n’omu gwe babagulizza ku nnyina amuzaala Sylivia Nakalema ku ki ekyasse omwana wabula okumuziika mu nkukutu!
Bano poliisi y’e Kibibi ng’ekulembeddwaamu omuduumizi waayo, Ben Igama yatemezeddwaako omu ku batuuze n’ebasalako kyokka yasanze bamaze okusima entaana y’okuziikamu omwana, kitaawe Lukenge yasobodde okukwatibwa wadde nga mukyala we Wanyana yabadde amazeemu omusulo!
Poliisi yeetegerezza omulambo ne balaba enkwagulo n’ebiwundu mu bulago ekyabawalirizza okugutwala mu ddwaliro e Gombe okwekebejjebwa era omusawo n’akakasa nga bwe yanyooleddwa ensigo n’afa.
Kigambibwa nti Sarah Wanyana (muka Lukenge) yabazizza bba ngabaze agenze mu mirimu gye okukola n’akuba omwana ono nga bw’amutuga kyokka ne bwe yagenze okwebaka n’amulumbayo mu buliri n’amunyoola ensingo era kitaawe yagenze okukomawo ng’omwana ali mu mbeera mbi n’agezaako okumuddusa mu kalwaliro kyokka n’abafaako nga yaakatuusibwayo.
Oluvannyuma Poliisi yabaggyeeko omulambo ne gutwalibwa ku poliisi y’e Kibibi era bangi ku bakungubazi bakira tebamanyi kigenda mu maaso wadde nga baabadde bamaze enteekateeka z’okuziika zonna era wano ne maama w’omwana Slyvia Nakalema watuukidde ng’ayaziraana era nga anenya taata womwana okumumma omwana nga amumusabye okuwummulira ewuwe kumbe ngamutwalira mukaziwe kumutta.
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango mu disitulikiti y’e Butambala Sulaiman Mukooli, yategeezezza nti poliisi etandise okunoonya amayitire ga Wanyana agiyambeko okuzuula ebigambibwa yatuze omwana n’amutta wabula abakwate baakutwalibwa ku poliisi y’e Sseguku baggulweko emisango.