TOP

Gavt. enunudde abawala 26 mu buwambe e Saudi Arabia

Added 26th January 2016

Poliisi ya Saudi Arabia ng’ekolaganira wamu n’abakessi ba Uganda ye yakoze olulumba luno, oluvannyuma lw’okutuukirirwa Gavumenti ya Uganda ng’eyita mu mubaka waayo Dr. Rashid Yahaya Ssemuddu.

 Yahaya Ssemuddu omubaka wa Uganda e Saudi Arabia ng’ali n’abawala abaanunuddwa.

Yahaya Ssemuddu omubaka wa Uganda e Saudi Arabia ng’ali n’abawala abaanunuddwa.

GAVUMENTI ya Uganda ekolaganye n’eya Saudi Arabia ne bazinda enfo omubadde mukuumirwa abawala Bannayuganda ababadde batulugunyizibwa nga bakola ng’abaddu n’enunulayo 26 ababadde baasibirwa mu buwambe e Saudi.

Poliisi ya Saudi Arabia ng’ekolaganira wamu n’abakessi ba Uganda ye yakoze olulumba luno, oluvannyuma lw’okutuukirirwa Gavumenti ya Uganda ng’eyita mu mubaka waayo Dr. Rashid Yahaya Ssemuddu.

Poliisi okukola kino, kiddiridde abawala musanvu okwekubira enduulu mu kitongole kya Special Investigations Unit (SIU) e Kireka oluvannyuma lw’okutwalibwa ku kyeyo ne bayita mu mbeera enzibu nga batulugunyizibwa mu ngeri etegambika.

Dr. Ssemuddu yagambye nti Poliisi y’e Saudi bwe yazinduukirizza ebifo abawala bano mwe baabadde, agasajja agaabadde gabakwese gaabunye emiwabo, kyokka yo poliisi n’esinga kwemalira ku kununula bawambe.

Abawambe oluvannyuma baatwaliddwa ku kitebe kya Uganda mu Saudi Arabia era olwalabye ku Dr. Ssemuddu ne bamubanjulira nti ye mubaka wa Uganda, baaleekaanidde waggulu nga bagamba nti Katonda wa buyinza ate abalala ng’amaziga agajjulujjulu gabayitamu.

Baasoose kuyimba luyimba lwa ggwanga n’Ekitiibwa kya Buganda oluvannyuma ne bamulombojjera ennaku gye baayiseemu.

Baamutegeezezza nti abaabatwala baabasuubiza emirimu emirungi kyokka baasibira mu kiyumba kino gye babadde babakuumira nga baggyayo omu kw’omu okubagabanya mu Bawalabu okukola obwayaaya n’emirimu emirala.

Baategeezezza nti baatwalibwayo nga bayita mu kkampuni ezeeranga nti zitwala abantu ku kyeyo era nti bannaabwe abamu baafa oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa era tebaliiko malaalo. Ssemuddu yasuubizza nti gavumenti ekoze enteekateeka zonna ezisoboka okulaba ng’abawala bano bakomezebwawo okwa boobwe.

Abawala baategeezezza nti bwe bamala okukola emirimu ate ne batasasulwa. Abeera asasuddwa afuna busammambiro. Rehemah Babirye yategeezezza nti baamuggya ku Mukwano Arcade kyokka abadde yeetamiddwa ng’atuuse n’okulowooza ku kwekola ekintu ave mu bulamu.

POLIISI EYISE ABAAFUNIRA EBIZIBU E SAUDI ARABIA

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza nti waliwo abawala bangi abazze batulugunyizibwa n’ayita bonna abayise mu bizibu e Saudi Arabia bagende ku poliisi baggulewo emisango.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okukwata omukazi Khalima Abdalla owa kkampuni ya Supreme Security Limited poliisi eri mu kunoonya banne abalala b’abadde akolagana nabo okuli Moses ne Charity nga poliisi yaggudewo fayiro GEF 001/2015, GEF276/2015, GEF 288/ 2015, GEF 289/2015, GEF 294/2015 ne GEF 305/2015.

Enanga era yagambye nti poliisi yazudde omusajja akolagana ne Khalima Abdalla e Saudi Arabia nga ye Mutab Pasha Al Summery abeera mu kibuga Hall ng’ono kyazuuliddwa asinga kutumya bawala nga bwe batuukira ewuwe asooka kubakozesa bibye ekitali mu ndagaano gye bakola n’abantu ababatwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...