
Omuyimbi Bobi Wine ng'alya esswaga
EKITONGOLE ky’ebyemisolo ekya URA kiwadde omuyimbi Bobi Wine nsalessale wa nnaku musanvu asasule emisolo gya bukadde 54.
Ekitongole, kyawandiikira Bobi Wine ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi ebbaluwa eraga okubanjibwa nga December 18, 2015 n’alagirwa asasule ssente ezo mu nnaku musanvu oba si kyo essente zino zikubisibwemu emirundi ebiri.
Emisolo egyalagiddwa gwe gugibwa okusinziira ku nnyingiza ya bizinensi yo (Income tax) ekitongole ekyo gye kigamba nti azze tagisasula nga ssente ezibanjibwa ziri wakati wa July1, 2008 okutuuka nga June 30, 2015 nga ziwera 54,147,183/- Wabula ebbaluwa eraga nti Bobi azze agezaako okusasula ng’omugatte mu bbanga eryo yasasulayo obukadde 12.
BOBI WINE ABAANUKUDDE;
Bobi Wine yategeezezza Bukedde nti ebbaluwa yamutabudde kuba azze asasula emisolo gye gyonna era bayinza n’okuba nga si gwe bategeeza oba ng’eyagikoze teyagenderedde.
“Nze muyimbi asinga okusasula emisolo emingi mu ggwanga naye kyewuunyisa okundalaasa nti, sisasula. Ekirala ekyansobedde kwe kubeera nti ate nze muyimbi yekka eyalondeddwaamu okulaalaasibwa ” Bobi bwe yategeezezza ku ssimu ku Lwokusatu.
Yannyonyodde nti agenda kugenda mu URA ku Mmande annyonnyolwe bwe gwajja naye abannyonyole ku nsasula ye.