TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Njagala kubeera jjajja wa Bannakampala - Ragga Dee

Njagala kubeera jjajja wa Bannakampala - Ragga Dee

Added 7th February 2016

Njagala kubeera jjajja wa Bannakampala - Ragga Dee

 Raga Dee e Nateete ng’asaba obulululu.

Raga Dee e Nateete ng’asaba obulululu.

OMUYIMBI Daniel Kazibwe amanyiddwa nga ‘Ragga Dee’ asabye abantu b’e Nateete okulonda ye n’agamba nti, akooye obwajjajja w’abayimbi ayagala kubeerako jjajja wa Kampala.

Bino yabyogeredde mu lukuhhaana ggaggadde lwe yakubye e Nateete ku Comprehensive ku Lwokutano n’ategeeza nti, waliwo abakulembeze ababasibye akatambaala ku maaso nga babasuubiza ebitasoboka.

Ayongeddeko nti, Lukwago ababuzaabuza era talina kyabalumirirwamu yadde yali musaale okugoba ekibiina ekyali kiddukanya takisi mu ggwanga ekya UTODA. Asuubizza okuteeka amaanyi mu masomo g’ebyemikono n’amakolero okulaba ng’abavubuka bafuna emirimu, okukola enguudo n’emyala n’obutale okwongera amaanyi mu byobulamu n’obuyonjo.

Yeewuunyizza abakulembeze abasuubiza okusitula embeera z’abantu nga tebamanyi bulamu bwe bayitamu nti ye okuva lwe yamaliriza okusoma abadde mu bantu ng’ayimba n’okusuubula era ategeera ebiruma abantu.

Agambye nti, abavubuka bangi abatalina mirimu mu Kampala kyokka nga balina ebitone eby’enjawulo bye bayinza okukozesa okwetandikirawo emirimu wabula olw’abakulembeze abatabalumirirwa tebasobodde kubayamba wabula ye alina enteekateeka ennungi eri abalina ebitone.

Kazibwe yawerekeddwaako ayagala obwameeya wa Lubaga, Wilson Kabugo, Faridah Mayanja Mpiima ayagala okukiikirira aba Lubaga South.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...