TOP

Ab'e Kayunga babanjizza Pulezidenti Museveni Nantaba

Added 9th February 2016

Minisita Nantaba teyeetabye mu lukuηηaana luno olwakubiddwa ku ssomero lya Kayonza C/U. Nantaba avuganya ne Juliet Nalunga eyayitamu mu kamyufu ka NRM oluvannyuma lwa Nantaba okugaana okukeetabamu ng’agamba nti kaalimu okubbira.

 Abawagizi ba Pulezidenti Museveni mu lukuηηaana e Busaana mu Kayunga.

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni mu lukuηηaana e Busaana mu Kayunga.

OLUKUNG’AANA lwa Museveni e Kayunga lwabaddeko katemba abamu ku balonzi bwe baamubanjizza minisita Nantaba gye yabadde amulese.

Minisita Nantaba teyeetabye mu lukuηηaana luno olwakubiddwa ku ssomero lya Kayonza C/U. Nantaba avuganya ne Juliet Nalunga eyayitamu mu kamyufu ka NRM oluvannyuma lwa Nantaba okugaana okukeetabamu ng’agamba nti kaalimu okubbira.

Katemba we yatandikidde, ye kalabaalaba w’omukolo Hassan Kirunda okuyita omuntu eyabadde alinayo akayimba okusanyusa ku bantu.

Wano omukazi omu yavudde mu bantu n’alinnya akadaala n’amukwasa akazindaalo okuyimba.

Oluyimba lwe yasuddemu lwawaanye Nantaba ate ng’obwedda buli mwogezi avaayo okwogera akubiriza bantu kulonda abo bokka abaayitamu mu kamyufu k’ekibiina.

Kino kyawalirizza Kirunda okusika ku mukazi ono akazindaalo olwo abantu naddala abawagizi ba Nantaba ne batandika okuleekaanira waggulu nti ‘twagala Nantaba, Nantaba ali ludda wa?.

Oluvannyuma lwa bino byonna, Pulezidenti yatandise okwogera n’ategeeza nti ensonga za Nantaba ne Moses Kalangwa azimanyi kyokka ensonga z’eggwanga zibadde zimumalawo nga tannafuna budde bubatuuza.

Museveni ng’atuuka e Ntenjeru mu disitulikiti y’e Kayunga eggulo.

 

Pulezidenti yasabye abantu b’omu kitundu kino okumulonda n’abasuubiza nti ajja kukuba oluguudo kolaasi oluva e Kayunga okugenda e Galiraya oluweza kilomita 85, n’okubunyisa amasannyalaze mu bitundu nga Nsotoka, Nawandagala, Nakaseeta, Nabigasa, Lugasa, Nkokonjeru,Kyerima, Kyakonye, Kawolokota, ne Makukuulu.

Yabanjulidde ensawo ez’enjawulo gavumenti mwegenda okussa ssente okuli NAADS, y’abavubuka gy’agenda okuteekamu obuwumbi 234, ey’abakyala obuwumbi 234, ey’okwewola obuwumbi 180, n’awa eky’okulabirako nti ensimbi z’okwewola zakukka wansi mu byalo ng’omuntu azifune nga tataddeeyo musingo gwonna.

Abatuuze baalajanidde Pulezidenti Museveni nti waliwo abantu abasulirira okusengulwa ku ttaka ku byalo bisatu okuli Makufulu, Kasolokamponye, ne Bujwaya ebisangibwa mu Gombolola y’e Kayonza.

Olunaku lw’eggulo, Pulezidenti yaluwunzikidde mu Disitulikiti y’e Buikwe mu kabuga k’e Njeru gye yatuuse ng’obudde buziba.

Yagambye nti yabadde musanyufu okuyita mu bubuga obw’enjawulo obuzimbiddwa akabonero akalaga enkulaakulana.

Yasuubizza okukola enguudo mu kitundu kino era n’alaga n’abantu abaayitamu mu kamyufu n’asaba abantu babalonde naye bamuyiire obululu. Pulezidenti yayogeredde ekiseera kitono nnyo olw’obudde obwabadde buzibye n’asiibula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...