
Dr. Kiiza Besigye ng’ayogerako eri abaamawulire
Besigye agaanyi ebyavudde mu kulonda n’agamba nti embeera yonna ebaddewo eraga lwatu nti obululu bwabbiddwa.
Buno bwe bululu obukyasinze okubbibwa mu byafaayo bya Uganda. Okulonda tekwabaddemu mazima na bwenkanya.
Yafulumizza ekiwandiiko ng’ebyavudde mu kulonda byakalangirirwa n’agamba: we njogerera nga nsibiddwa waka.
Twetaba mu kalulu kulaga nsi bye tubadde twogera nti, eggwanga litambulira ku bunyazi. Akakiiko k’ebyokulonda kazinira ku ntoli za Gavumenti. Akakiiko tekasobola mirimu ate kawagira abali mu buyinza. “Ebikozesebwa mu kulonda byatuuse kikeerezi, abantu bangi baasanze amannya gaabwe tegali ku nkalala z’abalonzi ate amannya agatamanyiddwa ne gayingizibwa mu nkalala. Eddembe lyaffe okukuba kampeyini lirinnyiriddwa.
Tubadde tutiisibwatiisibwa n’okusibwa mu makomera”, bwe yagambye mu kiwandiiko eri Bannayuganda n’amawanga g’ebweru. Ku lunaku lw’okulonda, yagambye nti emikutu gy’empuliziganya gyaggyiddwaako, mobile money n’eggalwa okulemesa abantu okuweereza n’okufuna ensimbi.
N’agamba nti ye ne banne baasobeddwa ku Lwokutaano, akakiiko k’ebyokulonda bwe kaatandise okulangirira ebivudde mu kubala obululu nga byawuka ku byalangiriddwa ne bissibwako n’emikono mu bifo obululu gye bwakubiddwa. “Twasazeewo okutegeeza abantu ebituufu ebyavudde mu kulonda ebyabaliddwa ng’ababaka baffe weebali.
Poliisi yatukutte nze, Mugisha Muntu ne Ingrid Turinawe ne batuggalira e Nagalama gye baatuggye mu ttumbi ne batusibira awaka”, bwe yagambye. N’agattako: kati nsi mu busibe. Ekkubo erijja ewange basuddemu emisanvu. Bansazeeko empuliziganya yonna ne yintanenti. Kye tubaddemu si kalulu wabula okulaga amaanyi g’amagye agawambye dimokulaase.
Yasabye amawanga g’ebweru n’abatunuulizi ababaddewo nga tulonda bagaane ebyakuvuddemu baleme n’okutulyamu olukwe nga bagamba nti okulonda kwabaddemu amazima. Yeebazizza abaamuwagidde ye n’oludda oluvuganya. N’agamba nti dimokulaase ly’ekkubo lyokka erissaawo obufuzi bw’amateeka n’okukulaakulana okwannamaddala. Twongere okukolera awamu okuwakanya effugabbi.