TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omugagga Samona alwadde ekigere n'aliyita ettalo: 'Banzita lwa mukazi'

Omugagga Samona alwadde ekigere n'aliyita ettalo: 'Banzita lwa mukazi'

Added 1st March 2016

MU lunaku lumu, ekigere kya Samona kyabadde kimaze okuzimba era ng’atandise okweraliikirira nti olumbe lwandimutwala mu by’olusaago.

 Ssaalongo Kasawuli (Samona) ng’alaga ekigere ky’agamba nti yalwala ttalo. Wakati ye mukazi we Nnaalongo Lillian Nafunya bwe bagugulana ne Samona.

Ssaalongo Kasawuli (Samona) ng’alaga ekigere ky’agamba nti yalwala ttalo. Wakati ye mukazi we Nnaalongo Lillian Nafunya bwe bagugulana ne Samona.

MU lunaku lumu, ekigere kya Samona kyabadde kimaze okuzimba era ng’atandise okweraliikirira nti olumbe lwandimutwala mu by’olusaago.

Yaddukidde ewa nnyina ku kyalo Kibanga mu Mpigi ne batandika okukissaako eddagala erya buli kika, kyokka ng’ekiri ku mimwa gya Samona kya bantu abaagala okumulesa obulamu bw’ensi nti nga bamulanga mukazi!

Engeri ekigere ky’omugagga Ssaalongo Micheal Mukasa Kasawuli (SAMONA) gye kyazimbye efaananira ddala n’engeri ekigere ky’omuyimbi Mesach Ssemakula gye kyazimbamu omwezi oguwedde.

SAMONA ALIYISE TTALO

Samona yategeezezza Bukedde eggulo nti yabadde ava Lugogo ku mwoleso ogwabaddeyo gye buvuddeko n’afuna essimu ng’eva wa mukwano gwe Kakembo n’amutegeeza nti: Owange, Nnaalongo ankubidde essimu ng’akulaalika nti mu nnaku ntono ogenda kulaba ekinaakutuukako!

Nnaalongo Lillian Nafuna ayogerwako, nti ku lunaku lwe lumu yakubira ne maama wa Samona ow’e Kibanga essimu ng’amulaalika nti mutabaniwe alinde ekinaamutuukako kuba alemedde ku baana.

Samona ne Lillian baludde nga balina obutakkaanya era Kasawuli yagezaako okutwala abaana ababiri be yazaala mu Lillian kyokka omukazi n’abalemera era ekyaddirira kwe kuwulira nti bayinza okubeera ab’abasajja abalala olwo n’akendeeza sipiidi kwe yali abasabira.

Samona agamba nti oluvannyuma lw’okufuna essimu ezimulaalika, ekigere kyatandikirawo enkeera era n’emirimu ne gimulema era kw’ebyo kw’asinziira okuliyita ettalo.

Eyali yeetambuza, yali takyasobola kulinnya era kwe kuddukira ewa nnyina ne batandika okukozesa eddagala ly’ekinnansi okuli n’emmumbwa.

Yagambye nti okuva lwe baatandise okussaako eddagala, ekigere kitandise okutoowolokoka era ne mu kyalo yavuddeyo n’akomawo mu Kampala.

Nnaalongo Lillian Nafunya bwe bagugulana ne Samona. Wano yali akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okwokya ebimu ku bintu bya Samona.

 

BANZITA LWA MUKAZI – SAMONA

Samona yagambye nti wadde omukazi ono yamwesonyiwa mu April 2014 era n’amulekera ennyumba y’e Najjanankumbi mw’aba akuliza abaana ababiri be balina, ekimunyiiza kwe kuwulira abasajja abafunvubidde okumutuusaako obulabe olw’omukazi oyo.

Yannyonnyodde nti: Sirina kubuusabuusa nti lino ttalo, ate abaliri emabega be basajja abalowooza nti nnina kumala kufa balyoke beegazaanye.

Yayongeddeko nti: Njagala abasajja abo bakitegeere nti gigenda kuwera myaka ebiri bukya njawukana ne Lillian era ba ddembe okugenda naye mu maaso, sirina kye nkyamwagaza.

Kino kijjidde mu kiseera nga Lillian yaakamala okutwala omusango ku poliisi ya CPS ng’avunaana Samona obutamuwa buyambi bw’abaana.

Kyokka Samona yagambye nti yakwasa Lillian ‘bizinensi’ ya ddipo ya bbiya e Makindye nga buli lunaku evaamu amagoba ga 150,000/- era n’amutegeeza nti ssente ezo zimala okulabirira abaana.

Samona ne Lillian (omu ku bakazi abasatu be yazaalamu abalongo) baludde mu ntalo era omwaka oguwedde Lillian yalumba ekisenge kya Samona ekiri ku wooteeri ye eya Pacify e Wakaliga n’asalaasala engoye z’omusajja n’azikumako omuliro era poliisi n’emukwata n’emuggalira.

Mu kiseera ekyo Samona yalumiriza Lillian nti alina abasajja 11 b’azze apepeya nabo okuli n’omusuubuzi wa sipeeya e Katwe. Kigambibwa nti Lillian alina omusajja gw’ategeka okwanjula mu bazadde omwaka guno, wabula yagaanye okubaako by’annyonnyola ku bimwogerwako.

Mikwano gya Lillian abataayagadde kwatuukirizibwa baategeezezza Bukedde nti ekyongedde embiranye ye Samona okulowooza nti ssente zonna z’awa Lillian azeeyagaliramu n’abasajja b’amuteebereza okuganza.

Samona y’omu ku bagagga b’omu Kampala era alina ebizimbe ebiwerako e Nateete.

DOKITA AYOGEDDE KU TTALO

Dr. Charles Kasozi aludde ng’akola e Mulago yannyonnyodde nti obulwadde bwe bayita ettalo bukwata ekitundu ku magulu oba emikono era bulina obubonero okuli okutujja, okumyukirira n’okuzimba okw’embagirawo.

Yagambye nti wadde abantu bangi balowooza nti liba ddogo naye bugwa mu biti bina okuli:

  • Obukwata ku kinywa nga buyitibwa “Tyomyocitis” nga buva ku kinywa kukoowa ne bisaka amazzi agavaamu amasira era ne bizimbya ekigere kyonna. Kino kitera kuva ku kukozesa bigere ekisusse, ebinywa ne bitendewalirwa.
  • Obuva ku magumba obuyitibwa “Osteomylitis” nga kiva ku kirungo kya “Calcium” ekibeera mu mubiri okukendeera ne kivaako ebigere oba omukono okuzimba. Yagambye nti erimu ku ddagala erissibwa mu mmumbwa nti liwonya abantu abamu kye bayita ettalo libeeramu ekirungo kino kyokka okunnyonnyola kuno abakozesa emmumbwa baba tebakumanyi.
  • Obuva ku musaayi okwekwata mu misuwa obumanyiddwa nga “DVT” era omusaayi olwekwata nga guzimbya emisuwa era ekika kino kiba kitujja nnyo.
  • Waliwo Kkansa w’oku lususu ayitibwa “Capos Sakoma” ng’ono olumu y’avaako ekigere oba omukono okuzimba era abantu abalwadde kye bayita ettalo balina okugenda mu malwaliro beekebeze ssi kulwa nga balumbiddwa kkookolo w’olususu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.