TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Nnamwandu w'omusuubuzi eyatemuddwa alaajanye: 'Munsumulule nziike baze'

Nnamwandu w'omusuubuzi eyatemuddwa alaajanye: 'Munsumulule nziike baze'

Added 4th March 2016

Munsumulule nziike baze. Katonda alaba sirina musango. Abaana bange mbaleka ntya okuziika kitaabwe nga nze siriiwo?

NNAMWANDU w’omusuubuzi eyatemuddwa e Busega alaajanidde mu kaduukulu ka poliisi: Munsumulule nziike baze. Katonda alaba sirina musango. Abaana bange mbaleka ntya okuziika kitaabwe nga nze siriiwo?

Okulaajana kuno tekwamuyambye era omuserikale eyabadde okumpi bakira amutunuulira kyamuli era abantu bwe baamubuuzizza lwaki taba wa kisa eri omukyala n’agamba nti akolera ku biragiro bya bakama be.

Kaitesi baamugguddeko gwa butemu nga poliisi emuteebereza okwekobaana n’abantu abalala ne batta bba.

Avunaanibwa ne Asafu Majanti, akulira ebyokwerinda ku kyalo mu Kibumbiro Zooni B,e Busega, ng’ono naye poliisi eteebereza nti bwe baabadde mu lukwe lw’okutemula Didas

Tukundane, abatemu gwe baasindiridde amasasi 8 ne bamutta wamu n’abakozi be babiri ku geeti y’amaka ge e Busega ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ku Lwokubiri.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe, Benon Ayebare, yagambye nti nnamwandu Kaitesi ne Majanti, abaakwatiddwa ku Lwokusatu, bagguddwaako omusango gwa butemu ku ffayiro eyatuumiddwa ‘Nateete CRB320/2016’.

Yagambye nti bye baakazuula ku butemu buno biraga nti nnamwandu yandiba n’akakwate kanene ku kutemula bba bw’oba ogoberedde entambula ye ku Lwokubiri ng’ava ku dduuka mwe baabadde bakola ne bba, bwe yamwawukanyeeko ye n’amusooka awaka ate oluvannyuma lw’okukubibwa amasasi n’afuna obuvumu obugezaako okumutwala mu ddwaaliro.

“Tukyanoonyereza ku butemu buno era tusuubira nti nnamwandu n’owadifensi baali mu lukwe. Bajja kutuyamba okufuna abeenyigira mu ttemu lino era essaawa yonna bano tubasindika mu kkooti bavunaanibwe,” Ayebare bwe yategeezezza.

Tukundane, abadde nnyini dduuka lya Tina Traders ku kizimbe kya Kasajja ku Kafumbe Mukasa Road mu Kisenyi, yattiddwa wamu n’abakozi be, Lauben Niwamanya ne Justus Muhereza bwe baabadde batuuse ku ggeeti nga tebannava mu mmotoka ye (Tukundane) Noah UAT 210H.

Oluvannyuma lw’abatemu okumukuba amasasi, kigambibwa nti baliraanwa baawulidde pikipiki esimbula kyokka nga tewali kintu kyonna kye baatutte ekirowoozesa nti abatemu tebaalina kigendererwa kya kubba wabula bajjirira bulamu bwe.

Nnamwandu Christine Keitesi (ku kkono) eyakwatiddwa ku kufa kwa bba Didas Tukundane.

 

FAAZA AVUMIRIDDE POLIISI:

Mu Mmisa eyasomeddwa mu Klezia ya Mt. Carmel mu kigo ky’e Busega eggulo (Lwakuna), Fr. Joseph Kimbugwe yavumiridde poliisi olw’okukwata n’okuggalira nnamwandu mu kaseera mpawekaaga nga bba yaakatemulwa.

Yagambye nti okukwata nnamwandu kyakoleddwa mu kupapa wakati mu nfa ey’entiisa eyabaddewo n’atya nti kiyinza n’o kwongera okukutulakutula mu famire. “Poliisi yapapye naye kye mbasaba mmwe abooluganda n’emikwano gya famire eno, obutayanguyiriza kwogera bigambo bireetawo njawukana na njatika mu baana nammwe kennyini,” bwe yabakubirizza.

Yasabye abooluganda n’abeemikwano okwekwasa Katonda. “Mulina okumanya nti buli muntu Omukama yamutegekera enfa ye n’akaseera ak’okufa,” Fr. Kimbugwe nga ye Bwanamukulu w’ekigo kino bwe yategeezezza abantu abangi abazze mu mmisa.

Yayongeddeko nti, “Abatemu bwe baba basse Tukundane olwa ssente, balina okumanya nti ssente eziva mu kuyiwa omusaayi zibeerako ekikolimo. N’ebizimbe by’abagagga ebimu ebigwira abantu ne bibatta, ebiseera ebimu ssente zaabwe ziba zaava mu makubo ga kuyiwa musaayi.”

Ye Apollo Turyaheebwa, muganda w’omugenzi, yasabye poliisi ekkirize nnamwandu okugenda okuziika ku bba n’agattako nti, “Twagenze e Katwe ne tugisaba emuyimbule n’egaana kyokka yandibuulirizza oluvannyuma ng’amaze okuziika bba.”

Yagasseeko nti, “Ebbanga Christine ly’amaze ne muganda waffe ddene era tetuyinza kukimussaako nti yabadde mu lukwe olumutemula. Nsaba bonna abalina kye bamanyi ku butemu buno banneegatteko okuzuula abatemu.”

Yagambye nti yawulidde n’aboogera nti osanga omugenzi yattiddwa lwa mabanja n’amuyita wolokoso.

Yasabye bakoddomi be (abooludda lwa nnamwandu) okuba abagumu era basigale bumu mu kukuza abaana n’okunoonya abatemu.

Tukundane, eyalese abaana abana ng’abasatu ba Christine, aziikibwa leero (Lwakutaano) e Kyehande-Ndeije mu disitulikiti y’e Rwampara.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserwadda n'ekifaananyi kya Ssengendo.

Omuyizi eyabuze atadde abaz...

Omuvubuka ow’emyaka 17 eyavudde e Mukono okunona densite ye ku ssomero n’abulira mu kkubo atadde bazadde be ku...

Wanyoto (atudde) n'abamu ku balooya be.

Munna NRM Wanyoto akubye ak...

Munna NRM eyawangulwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa Mbale City, Lydia Wanyoto addukidde mu kkooti Enkulu e Mbale...

Edward Mulyanga akulira bassentebe mu Kasangati nga bamukwasa sitampu.

Bassentebe mulemere ku mazi...

Bassentebe b’ebyalo ku mitendera gya LC1 ne LC11 mu Town Council y’e Kasangati mu Wakiso Disitulikiti bakubiriziddwa...

Ssemakula eyakiikiridde SSLOA  ng'avumirira ekikolwa kya KCCA okubawamba.

Abakulembeze ba Owino bavum...

ABAKULEMBEZE b'ebibiina ebikulira abasuubuzi eby’enjawulo mu katale ka St.Balikuddembe bivumiridde ekikolwa ky'okuwamba...

Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ng’awa ssanduuko ya Msgr. Kato omukisa.

Okuziika Msgr. Katongole ka...

BANNADDIINI ne bannabyabufuzi bavumiridde eby'okukwata abantu ne bakuumirwa mu bifo ebitamanyiddwa. Baalaze okutya...