TOP

Engeri omusuubuzi gy'apasudde Titie ku Katongole Omutongole

“Sijja kuleka Titie kuntwalako musajja. Tuvudde wala ne Deo. Titie ejjoogo alitwale ku balala”, Carol Babirye eyeeyita Trisha Carol Tina bwe yategeezezza.

 Titie ne Katongole ku siteegi. Kati basigadde kuyimba bombi naye ebya laavu tewakyali. Wakati ye musuubuzi Deo eyapasudde Titie

Titie ne Katongole ku siteegi. Kati basigadde kuyimba bombi naye ebya laavu tewakyali. Wakati ye musuubuzi Deo eyapasudde Titie

Katongole Omutongole kati ye yeefumbira! Mukazi we Titie Tendo Tabel bamupasudde. Titie ali mu bufumbo bupya ewa Deo Sserunjogi Kiddawalime.

Mukazi wa Sserunjogi abadde ku kyeyo akomyewo kipayoppayo n’asitula olutalo okweddiza omwami we.

“Sijja kuleka Titie kuntwalako musajja. Tuvudde wala ne Deo. Titie ejjoogo alitwale ku balala”, Carol Babirye eyeeyita Trisha Carol Tina bwe yategeezezza.

Kyokka Katongole yategeezezza nti bamaze ekiseera nga tebakyali na Titie mu nkolagana y’omwami n’omukyala.

Wabula baasigala nga baamukwano mu by’emirimu era olw’okuba tewali kakuubagano wakati waabwe, batono abakimanyi nti tebakyabeera bombi.

“Titie nnamuwasa mpeta ew’Omusumba Kayiwa. Temwewuunya nga tuddihhanye kubanga tetugattululwanga”, bwe yategeezezza Bukedde ku Mmande.

Sserunjogi musuubuzi wa byannyanja by’atunda ku kkolero eribirongoosa e Kanyanya ku lw’e Gayaza. Akola emirimu emirala okuli okutegeka ebivvulu n’okussa ssente mu bayimbi. Babeera ne Titie e Mpererwe kyokka wiikendi babeera mu maka ga Sserunjogi e Kalwanga, mu muluka gw’e Matale e Kalisizo mu Rakai.

Kigambibwa nti okwagalana ne Titie, Sserunjogi yasooka kumussaamu ssente. Kino Sserunjogi yakikkirizza bwe yategeezezza Bukedde: Oyo Titie nze ndi maneja we. Ebya laavu sibimanyi.

Baludde nga bapepeya era mu myezi omusanvu egiyise batera okulabibwa bombi. Nga bali e Kalisizo babeera ku Nabisere Hotel n’ebbaala ya Ziriddamu oluusi bawummulirako mu Maria-Flo e Masaka.

Wiikendi eyise baabadde Kakuuto mu kifo awalundibwa maaya ekya Drake Lubega (atali omugagga w’omu Kampala).

Carol (Muka Sserunjogi) yasoose kutegeeza Bukedde nti yakomyewo okuva e Bungereza kulwana lutalo kugoba Titie ku musajja we.

Babirye agamba nti Titie yamubbidde omusajja.

 

“Mbadde nkola nga mpeereza Deo ssente era ezimu yanguliramu emmotoka. Kyokka nnasanze yagiwandiisa mu mannya ge era ennaku zino Titie y’agivuga”, bwe yategeezezza ku nkomerero ya wiiki.

N’agamba nti bwe nnakomyewo nnakubidde Titie essimu ambuulire ekimwagaza omusajja wange. Titie yanzizeemu ng’abalaata nti bambi olabye. Nange owange baamubba.

Kyokka bwe twamaze okwogera ne Sserunjogi yakubidde Carol essimu n’akimuteekako nti ebintu bino y’abitutte mu mawulire.

Mu kumukkakkanya yamusuubizza okumuwa emmotoka ye. N’amulabula n’okwogera ebyama bye omuli okwogera ekituufu nti tabadde ku kyeyo Bungereza wabula akolera Malaysia ayogere ne by’akolayo.

Carol eggulo yatutegeezezza: Ntegeeraganye ne Sserunjogi era agenda kunziriza emmotoka yange.

Kyokka abamanyi Sserunjogi baategeezezza nti eby’okuwaayo emmotoka yabyogedde kukkakkanya mukazi. Carol abeera Bweya-Kajjansi ku lw’e Ntebe.

Ekyayawukanya Katongole ne Titie

Katongole ne Titie baazimba amaka e Kireka- Bulenga ku lw’e Mityana kyokka bwe baatabuka Titie n’adda e Kiwanga-Namanve. Katongole asula mu bifo ebyenjawulo okuli e Bulenga n’e Lungujja gy’alina omukazi.

Katongole by’anenya Titie

Amunenya okucanga abasajja

  • Yakola ne bbandi gye yatuuma Mellow Vybz ekubira ku Joggies e Bbira ku mayiro mwenda n’olumu e Luwero.
  • Titie ebbanga ly’amaze ne Katongole babuliddwa omwana so nga baayagalana buli omu alinayo omwana. Kyokka Titie yassa nnatti ku Katongole obutazaala mwana bbali w’akikolera nga baawukana.
  • Famire ya Katongole emumazeeko emirembe nga buli kiseera bamubanja baana, kyokka nga Titie akyalemeddwa okuzaala.
  • Mu December omwaka oguwedde Katongole yali e Kavumba kyokka Titie n’ajjira mu mmotoka ng’avugibwa Deo Sserunjogi. Titie yeekanga Katongole n’abuuka mu mmotoka n’agenda agwa Katongole mu kifuba nga bw’amuwaana nti; ogamba ki swiiti wange? Bino yabikola ne Sserunjogi alaba. Katongole yasoberwa eky’okukola n’aguma.

Katongole ne Titie baagenda ku siteegi ne beeraga omukwano nga bayimba, omusiguze yasigala akiise ensingo era kigambibwa nti yaleka Titie ng’ekivvulu tekinnaggwa n’adda eka.

Enju ya Deo ey’omu kyalo Kalwanga mu Kaliisizo gy’abeera ku wiikendi.

 

Kyokka nga tannagenda yasooka kwecanga ng’ayagala alinnye ku siteegi akole akavuyo wabula abayimbi abaaliwo ne bamulemesa nga bwe bamulangira okubba omukazi w’omusajja.
Wano Katongole we yatabukira n’ayogera bwe batakyabeera na Titie wabula basisinkana mu bivvulu kukola ssente.

Katongole ayogedde

Twasisinkana ne Titie nga tukola ku leediyo Simba ne tuba bamukwano ne tuddamu okusisinkana ku Beat FM ne twagalana.

Oyo Titie ne bwe tuba twawukanye tusigala tukolagana. Era twakkaanya tusigale nga tuli baamukwano ate nga tukkaanya mu bya bizinensi omuli n’okuyimba ffenna.

Wabula abalaba Titie n’omusajja bamanye nti alina emikwano mingi. Abagamba nti twayawukana naye ate bwe munaamusanga ewange ng’afumba munaagamba ki?

Ekikulu sirina mwana mu Titie kyokka nnina omwana ebbali ate naye alina. Tuli ba mpeta baatugattira wa Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship. Bwe mulabanga Titie ng’alaze omusajja omulala mumanya nti nange hhenda kubalaga omukazi omulala.

Titie yeevuma Katongole gw’ayita omwenzi nti era ye akooye okumuyitanga agende anunule Katongole nga poliisi emukwatidde mu bwenzi n’ebirala ng’ebyo.

Mu January wa 2015 Titie yeeyimirira Katongole ku poliisi e Bweyogerere nga kigambibwa nti yaganza omwana atanneetuuka.
Titie ayogedde

Bukedde yasisinkanye Titie ku Bulange e Mmengo gy’akolera. Yasoose kugaana kwogera ng’alowoolereza oluvannyuma lw’okubuuzibwa engeri gye yatwalamu omusajja wa Carol.

N’agamba oyo Sserunjogi simumanyi. Ku ky’okwawukana ne Katongole yagambye nti tebaawukananga. Yabadde ayogera ali mu mmotoka, n’asimbula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...