TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omuwendo gw'Abasiraamu n'Abalokole mu ggwanga gweyongedde: Abakatoliki bakendedde - Lipooti

Omuwendo gw'Abasiraamu n'Abalokole mu ggwanga gweyongedde: Abakatoliki bakendedde - Lipooti

Added 24th March 2016

Abakristaayo n'Abakatoliki be bakyasinga obungi kyokka tebeeyongeddeko bagoberezi nga bwe bwongeragera mu bungi bw'abantu nga bwe buzze bulinnya mu myaka egiyise.

EBYAVUDDE mu kubala bifulumiziddwa mu butongole nga biraga eddiini y'Obusiraamu  nti y'ensinze okweyongerako abagoberezi mu myaka egiyise n'eddirirwa Abalokole.

Abakristaayo n'Abakatoliki be bakyasinga obungi kyokka tebeeyongeddeko bagoberezi  nga bwe bwongeragera  mu bungi bw'abantu nga bwe buzze bulinnya mu myaka egiyise.

Abaganda be basinga obungi ne baddirirwa Abanyankole , Abasoga n'Abakiga.

Abagwiira abasinga mu Uganda Bakongo okuva mu DR Congo ne kuddako Abasudan , Abanyarwanda  ne Bannakenya

Bino bye bimu ku  biri mu Lipoota entongole ey'ebyavudde mu kubala abantu  mu Uganda okwabaddewo wakati wa  August 28, 2014 ne September 7, 2014. Lipoota yafulumiziddwa Pulezidenti Museveni ku mukolo ogwategekeddwa mu Kampala Serena Hotel

Lipoota  yalaze nti Uganda erimu abantu 34,634,650 ng'omuwendo guno gwakendeddeko okuva ku bantu 34,856,813 ab'ekitongole ky'emiwendo mu ggwanga ekya Uganda bureau of Statistic (UBOS)  gwe basooka okufulumya mu November 2014.

Ku bantu abaabaliddwa mu ggwanga, abakyala  basingako katono ku basajja nga bali  17,573,818  so nga abasajja bali 17,060,832.

Eklezia ya Lubaga Cathederal mu Kampala

ABAKATOLIKI BAKENDEDDE

Abakatoliki be  bakyasinga obungi mu Uganda nga bali 13,407,764 wabula Lipoota yalaze nti bakendedde okuva mu bitundu 41.6 ku 100 mu 2001 ne badda mu bitundu  39.3 ku 100 mu 2014

Abakristaayo bali  mu kyakubiri nga bawera  10,941,268 kyokka nabo bakendedde okuva mu bitundu  36.7 ku 100 ne badda mu bitundu  32 ku 100 mu 2016.

Abasiraamu  bakwata kyakusatu nga bali 4,663,204. Lipoota eraga nti beeyongeddeko okuva mu bitundu 12.4  ku 100 mu 2002 ne badda mu bitundu 13.7 ku 100 mu 2016

Abalokole 3,790,564 be basinze okwoyongerako nga bavudde mu bitundu  4.7 ku 100 mu 2002 ne badda mu bitundu  11.1 ku 100.

Abadivent  590,257 nabo beeyongeddeko okuva ku bitundu 1.5 ku 100 ne badda mu bitundu 1.7 ku 100. Abasodokisi 48,421 nga bano tebeeyongedde,  basigadde bali ebitunu 1.1 ku 100 nga bwe baali mu 2002.

Abatalina ddiini gye bakkiririzaamu 78,254 ate  Abakkiriziza mu ddiini ey'ekinnannsi 33,805.

Omuzikiti gwa Gadafi e Kampalamukadde

ABAGANDA BEEYONGEDDE OBUNGI

Abaganda be bakyasinga obungi nga bawera 5,555,319 ne baddirirwa Abanyankole abali 3,216,332.

Abasoga bali mu kifo kyakusatu mu bungi nga 2,960,890 ne baddirirwa Abakiga abawera   2,390,446.

Abateso bali mu kyakutaano nga bawera 2,364,569 ne kuddako Abagisu nga bali 1,646,904 ate Abalango bali 2,131,495 ne kuddako Abacholi abawera 1,470,554 n'Abalugwala bali 1,099,733.

Abanyara bali 47,699 ate Abaruli bali 190,122, Abanyolo bali 966,976, Abanyarwanda ab'omu Uganda  bali 524,098 ate Abarundi ab'omu Uganda  bali 92,570

 ABAGWIIRA

Abagwiira abasangiddwa mu Uganda mu kubala abantu, abasinga obungi ba DR Congo nga bawera 135,505.

Abasudan bakwata kyakubiri nga bali 118,836 ne kuddako Abanyarwanda ab'e Rwanda  abawera 91,231. Abatanzania bali 45,541 ate Bannakenya bawera 34,120. Abasomaali bali 13,804 ate Abayindi bawera 13,794. 

WAKISO Y'ENSINGAMU ABANTU

Disitulikiti y'e Wakiso y'esingamu abantu ng'erina  1,997,418 n'eddirirwa Kampala n'abantu 1,507,080, Kable n'ekwata ekyokusatu n'abantu 1,507,080

Kalangala ye disitulikiti esinga abantu abatono ng'erina 54,293 ne kuddako Ntoroko n'abantu 67,005,  Bukwo bali 89,356 ate Buvuma erina 89,890.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...